Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At spring, when kings march out to war, David sent Joab, his men, and all Israel. They destroyed the Ammonites and besieged Rabbah. But David stayed in Jerusalem. Awo mu biro ebyo, ekiseera bakabaka mwe bagendera okutabaala, Dawudi n’asindika Yowaabu n’abasajja be n’eggye lyonna erya Isirayiri. Ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza n’ekibuga kya Labba. Naye Dawudi n’asigala mu Yerusaalemi.
2 One evening David got up from his bed and walked on the roof of the king's house. From there he saw a woman bathing; she was very beautiful. Olunaku olumu, mu ssaawa ez’olweggulo, Dawudi n’agolokoka, n’atambulatambula ku kasolya ak’olubiri lwe. N’asinziira waggulu eyo n’alengera omukazi ng’anaaba, era omukyala yali mulungi omubalagavu.
3 David sent to ask about the woman. Someone said, "Isn't this Bathsheba, daughter of Eliam, wife of Uriah the Hittite?" Dawudi n’atuma omuntu okugenda okumunoonyerezaako. Ne bakomawo ne bamutegeeza nti, “Oyo ye Basuseba muwala wa Eriyaamu mukyala wa Uliya Omukiiti.”
4 David sent messengers and took her. She came to him, and he slept with her—she had just purified herself from her uncleanness—and she returned home. Awo Dawudi n’amutumya, n’ajja gy’ali, ne yeebaka naye. Yali mu kiseera eky’okwelongoosa obutali bulongoofu bwe. Oluvannyuma n’addayo ewuwe.
5 The woman conceived, and she sent word to David: "I am pregnant." Omukyala n’aba olubuto, n’atumira Dawudi nti, “Ndi lubuto.”
6 David sent word to Joab: "Send me Uriah the Hittite." Joab sent Uriah to David. Awo Dawudi n’atumira Yowaabu nti, “Mpeereza Uliya Omukiiti.” Yowaabu n’aweereza Uliya eri Dawudi.
7 When Uriah came to him, David asked about Joab, the troops, and how the war was going. Uliya bwe yagenda gy’ali, Dawudi n’abuuza Yowaabu n’abaserikale bwe baali, n’olutalo bwe lwali.
8 David told Uriah, "Go down to your house and wash your feet." Uriah left the palace, and the king sent a gift after him. Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Serengeta mu nnyumba yo, onaabe ku bigere.” Uliya n’afuluma olubiri, kabaka n’amuweereza ekirabo.
9 Uriah slept at the entrance of the king's house with all his lord's servants, and did not go down to his house. Naye Uliya n’ataserengeta wuwe, n’asula ku mulyango gw’olubiri n’abaddu ba mukama we, Dawudi.
10 Told that Uriah had not gone home, David asked him, "Haven't you come from a journey? Why didn't you go home?" Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Uliya teyazeeyo waka we,” n’abuuza Uliya nti, “Waakava olugendo, kiki ekikulobedde okuddayo eka ewuwo?”
11 Uriah said to David, "The ark, Israel, and Judah are staying in tents, and my lord Joab and my lord's men are camped in the open field. Should I go home to eat, drink, and sleep with my wife? As you live, and as your soul lives, I won't do this." Uliya n’addamu Dawudi nti, “Essanduuko ne Isirayiri ne Yuda baasigadde mu weema, ne mukama wange Yowaabu n’abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya n’okunywa, n’okwebaka ne mukyala wange? Mazima nga bw’oli omulamu, sijja kukola kigambo bwe kityo.”
12 David told Uriah, "Stay here today too, and tomorrow I'll send you back." So Uriah stayed in Jerusalem that day and the next. Awo Dawudi n’agamba Uliya nti, “Sigalawo olunaku olulala olabe obanga enkya siikusindike kuddayo.” Bwatyo Uliya n’asigalawo olunaku olwo n’olw’enkya.
13 David invited him, and he ate and drank with him, and David got him drunk. But that evening Uriah went out to sleep on his mat with his lord's servants; he did not go home. Dawudi n’ayita Uliya alye naye ekyekiro, n’amutamiiza akawungeezi ak’olunaku olwo, Uliya n’agenda n’agalamira ku mukeeka gwe n’abaddu ba mukama we, n’ataddayo wuwe.
14 In the morning David wrote a letter to Joab and gave it to Uriah to deliver. Enkeera Dawudi n’awandiikira Yowaabu ebbaluwa n’agiwa Uliya agitwale.
15 He wrote in the letter: "Put Uriah at the front where the fighting is fiercest, then pull back from him, so he's struck down and dies." Yawandiika mu bbaluwa nti, “Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.”
16 While Joab besieged the city, he stationed Uriah where he knew the strongest defenders were. Awo Yowaabu bwe yali ng’ataayizza ekibuga, n’addira Uliya n’amuteeka mu kifo kye yamanya nga waaliyo abalabe ab’amaanyi.
17 The city's men came out and fought Joab, and some of David's servants fell. Uriah the Hittite also died. Abasajja ab’ekibuga bwe baafuluma okulwana ne Yowaabu, abamu ku basajja ba Dawudi ne battibwa, ne Uliya Omukiiti yali omu ku abo abattibwa.
18 Then Joab sent word and told David all the news of the battle. Awo Yowaabu n’aweereza Dawudi amawulire gonna agafudde mu lutalo,
19 He instructed the messenger, "When you have finished telling the king all the news of the battle, n’alagira gwe yatuma nti, “Bw’onoomala okutegeeza kabaka amawulire gonna agafudde mu lutalo,
20 if the king's anger flares up and he asks, 'Why did you fight so close to the city? Didn't you know they'd shoot from the wall? n’alabika nga munyiivu, n’abuuza nti, ‘Lwaki mwasemberedde nnyo ekibuga nga mulwana? Temwamanya nga bajja kulasa nga basinziira ku Bbugwe?
21 Who killed Abimelech son of Jerubbesheth? Didn't a woman throw an upper millstone on him from the wall so he died at Thebez? Why did you go so near the wall?'—then say, Your servant Uriah the Hittite is also dead." Ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? Teyali mukazi e Sebezi eyamukanyugako ejjinja eddene, kwe baseera emmere ey’empeke, ng’asinziira ku bbugwe, n’afiirawo? Lwaki mwasembedde okumpi ennyo ne bbugwe?’ Awo onoomutegeeza nti, ‘Omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.’ ”
22 So the messenger set out, arrived, and told David all Joab had sent him to say. Awo omubaka n’agenda n’ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma okwogera.
23 The messenger told David, "The men overpowered us and came out against us in the field, but we drove them back to the gate entrance. Omubaka n’agamba Dawudi nti, “Abasajja batusinzizza amaanyi ne batulumba ku ttale, naye ne tubagoba okutuusa ku wankaaki ow’ekibuga.
24 The archers shot at your servants from the wall, and some of the king's servants died. Your servant Uriah the Hittite is dead too." Naye abalasi basinzidde ku bbugwe ne balasa abaddu, era abamu ku baddu ba kabaka baafudde, n’omuddu wo Uliya Omukiiti naye mwe yafiiridde.”
25 David told the messenger, "Tell Joab: 'Don't let this trouble you, for the sword devours one as well as another. Attack the city harder and destroy it.' Encourage him." Dawudi n’agamba omubaka nti, “Ggamba Yowaabu nti, ‘Ekigambo ekyo kireme okukubuza emirembe, kubanga ekitala olumu kitta omu n’olulala ne kitta omulala. Munyiikirire okulumba ekibuga mukiwambe.’ Era Yowaabu mugambe agume omwoyo.”
26 When the wife of Uriah heard that Uriah her husband was dead, she mourned for her husband. Awo mukyala wa Uliya bwe yawulira nti bba afudde, n’amukungubagira.
27 When the mourning ended, David sent for her, brought her home, and she became his wife and bore him a son. But what David had done was evil in the eyes of our Father. Okukungubaga bwe kwaggwa, Dawudi n’amutumya, n’amuleeta mu nnyumba ye, n’afuuka mukyala we, n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Naye ekigambo ekyo Dawudi kye yakola ne kitasanyusa Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]