Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Later, the king of the Ammonites died, and his son Hanun became king in his place. Mu kiseera ekyo kabaka w’abaana ba Amoni n’afa, mutabani we Kamuni n’amusikira.
2 David said, "I'll show kindness to Hanun son of Nahash, as his father showed kindness to me." So he sent servants to console him over his father's death. But when David's servants reached Ammonite territory, Dawudi n’alowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi n’amutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olw’okufa kwa kitaawe. Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi ey’Abamoni,
3 the Ammonite commanders told Hanun their lord, "Do you really think David honors your father by sending you men to console you? Hasn't David sent his servants to you to explore the city, spy it out, and overthrow it?" abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna n’okuketta ekibuga n’okukiwamba?”
4 Hanun seized David's servants, shaved half of each man's beard, cut their garments off at the hips, and sent them away. Awo Kamuni n’akwata abasajja ba Dawudi n’abamwako ekitundu ky’ebirevu byabwe n’abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, n’abagoba baddeyo ewaabwe.
5 When David was told, he sent messengers to meet them, since the men were deeply ashamed. The king said, "Stay in Jericho till your beards regrow, then return." Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’atumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.”
6 Seeing they had become a stench to David, the Ammonites sent and hired the Arameans of Beth-rehob and the Arameans of Zobah—20,000 foot soldiers—the king of Maacah with 1,000 men, and the men of Tob with 12,000 men. Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.
7 On hearing this, David sent Joab with the entire army of fighting men. Dawudi olwawulira ebyo, n’asindika Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira.
8 The Ammonites came out and formed battle lines at the entrance to the city gate, while the Arameans of Zobah and Rehob and the men of Tob and Maacah stood apart in the open field. Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki w’ekibuga kyabwe, Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu, n’abasajja ab’e Tobu n’e Maaka bo ne babeera mu ttale.
9 Joab saw that the battle lines faced him on both front and back, so he chose some of Israel's best and lined them up against the Arameans. Awo Yowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumutaayizza mu maaso n’emabega, n’alondamu abasajja abazira mu Isirayiri, n’abasindika batabaale Abasuuli.
10 He put the rest under his brother Abishai's command, to line up against the Ammonites. Abaasigalawo n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, n’abasindika batabaale Abamoni.
11 Joab said, "If Aram overpowers me, rescue me; if the Ammonites overpower you, I'll rescue you. Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera.
12 Be strong, let's be courageous for our people and our Father's cities. May our Father do what seems good to him." Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw’asiima.”
13 Then Joab and the troops with him advanced to fight the Arameans, and they fled before him. Awo Yowaabu n’abasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
14 When the Ammonites saw the Arameans flee, they too fled before Abishai and entered the city. So Joab withdrew from the Ammonites and came to Jerusalem. Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu n’alekeraawo okulwana n’Abamoni, n’addayo e Yerusaalemi.
15 When the Arameans saw that they had been routed by Israel, they regrouped. Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beekuŋŋaanya.
16 Hadadezer summoned the Arameans beyond the Euphrates; they came to Helam, with Shobach, commander of Hadadezer's army, leading them. Kadadezeri n’atumya Abasuuli okuva emitala w’Omugga Fulaati, ne bagenda e Keramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w’eggye lya Kadadezeri.
17 When David heard, he gathered all Israel, crossed the Jordan, and reached Helam. The Arameans lined up against David and fought him. Awo Dawudi bwe yakiwulira, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna n’asomoka Yoludaani n’agenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi balwane naye.
18 But the Arameans fled before Israel. David killed 700 of their charioteers and 40,000 horsemen, then struck down Shobach, their army commander, who died there. Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi n’atta abasajja lusanvu ku bavuzi b’amagaali g’embalaasi, era n’emitwalo ena ku beebagala embalaasi, n’afumita ne Sobaki omuduumizi w’eggye lyabwe n’afiirawo.
19 When all Hadadezer's vassal kings saw they were defeated by Israel, they made peace with Israel and served them. So the Arameans were afraid to help the Ammonites again. Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga n’obusuulu. Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]