Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, Absalom son of David had a beautiful sister named Tamar, and David's son Amnon loved her. Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali, naye Amunoni omu ku batabani ba Dawudi omulala n’ayagala okwebaka naye.
2 Amnon was so distressed over his sister Tamar he made himself sick; she was a virgin, and he saw no way to get near her. Amunoni n’atawaana nnyo mu nsonga eyo n’okulwala n’alwala, kubanga Tamali yali mbeerera, Amunoni n’akisanga nga kizibu okumufuna.
3 Amnon had a friend named Jonadab, son of David's brother Shimeah; Jonadab was very shrewd. Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju.
4 He asked Amnon, "Why so haggard morning after morning, son of the king? Won't you tell me?" Amnon said, "I love Tamar, sister of my brother Absalom." N’abuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni n’amugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.”
5 "Lie in bed and act sick," Jonadab said. "When your father comes to see you, tell him, 'Please let my sister Tamar feed me. Let her make the meal where I can watch, so I eat from her hand.'" Yonadabu n’amugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako n’amaaso, n’oluvannyuma andiise.’ ”
6 Amnon lay down and faked illness. When the king came to see him, Amnon said, "Let my sister Tamar come make two cakes for me to watch, so I can eat from her hand." Awo Amunoni n’agenda n’agalamira ku kitanda kye ne yeefuula okuba omulwadde; kabaka bwe yagenda okumulaba n’okumusaasira, Amunoni n’amugamba nti, “Nkwegayiridde, kkiriza Tamali ajje anfumbire emigaati nga mulaba ku maaso, n’oluvannyuma andiise.”
7 David sent word to Tamar at the palace: "Go to your brother Amnon's house and make him food." Awo Dawudi n’atumya Tamali n’amugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.”
8 Tamar went to her brother Amnon's house, where he lay. She took dough, kneaded it, shaped cakes in front of him, and baked them. Tamali n’agenda ewa Amunoni n’amusanga ng’agalamidde ku kitanda kye. Tamali n’addira obuwunga n’abukanda, n’akola emigaati Amunoni ng’alaba, n’agifumba.
9 She took the pan and served him, but he refused to eat. "Send everyone out," Amnon said. So everyone left him. Tamali n’addira olukalango, n’aluggyako bye yafumbirako, Amunoni ng’alaba naye n’agaana okulya. Awo Amunoni n’alagira abaddu be nti, “Buli muntu afulume.” Buli muntu n’afuluma, n’asigalamu ne Tamali.
10 Amnon told Tamar, "Bring the food into the bedroom, so I may eat from your hand." Tamar took the cakes she had made and brought them to her brother Amnon in the bedroom. Amunoni n’agamba Tamali nti, “Ndeetera emmere eno mu kisenge kyange, ondiise.” Awo Tamali n’addira emigaati gy’afumbye, n’agitwalira Amunoni mwannyina mu kisenge kye.
11 As she brought them near to eat, he grabbed her: "Come, sleep with me, my sister." Naye bwe yagimusembereza okulya n’amukwata, n’amugamba nti, “Jjangu weebake nange, mwannyinaze.”
12 "No, my brother!" she said. "Don't force me. Such a thing is never done in Israel. Don't do this disgraceful thing. N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo.
13 And I—where could I take my shame? And you—you'd be like one of Israel's contemptible fools. Please, speak to the king; he won't keep me from you." Nsaasira, nnadda wa obuswavu? Ate ggwe, onoobeera ng’omu ku basajja abasirusiru mu Isirayiri. Nkwegayiridde yogera ne kabaka, tajja kukuziyiza nkufumbirwe.”
14 But he refused to listen; being stronger than she, he forced her and had relations with her. Naye n’agaana okumuwuliriza, n’amukwata olw’empaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.
15 Then Amnon hated her with intense hatred—greater than the love he had felt for her. "Get up and get out!" he said to her. Oluvannyuma Amunoni n’amukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, n’amulagira nti, “Golokoka ofulume.”
16 "No," she said, "sending me away is a worse wrong than what you already did to me." But he refused to listen. Tamali n’amuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa ky’onkoze.” Naye n’agaana okumuwuliriza.
17 He called his attendant and said, "Get this woman out of here, and bolt the door behind her." N’ayita omuddu ey’amuweerezanga n’amugamba nti, “Omukazi oyo muggye mu maaso gange, omuggalire ebweru.”
18 She wore a long decorated robe, the dress of the king's virgin daughters back then. His attendant put her out and bolted the door behind her. Awo omuddu we n’afulumya Tamali ebweru, n’aggalawo oluggi. Yali ayambadde ekyambalo ekiwanvu nga ky’amabala mangi, kubanga eyo ye yabeeranga ennyambala ey’abambejja embeerera.
19 Tamar put ashes on her head and tore the long ornamented robe she wore. She put her hand on her head and went off, crying aloud as she went. Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba.
20 Her brother Absalom said, "Has Amnon your brother been with you? Stay quiet now, my sister; he is your brother. Don't take this to heart." So Tamar lived as a desolate woman in her brother Absalom's house. Abusaalomu mwannyina n’amubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali n’abeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.
21 When King David heard all about this, he was furious. Kabaka Dawudi bwe yakiwulira, n’asunguwala nnyo.
22 Absalom said nothing to Amnon, good or bad, for he hated him for violating his sister Tamar. Naye Abusaalomu n’atabaako kigambo ky’ayogera ne Amunoni, ekirungi oba ekibi, kyokka n’akyawa Amunoni kubanga yayonoonyesa Tamali mwannyina.
23 Two full years later Absalom had sheepshearers at Baal-hazor near Ephraim, and invited all the king's sons. Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna.
24 Absalom went to the king: "Your servant has shearers. Will the king and his servants join me?" Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.”
25 "No, my son," the king told Absalom, "we shouldn't all go, or we'd burden you." Though Absalom urged him, he would not go but blessed him. Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa.
26 Absalom said, "If not, please let my brother Amnon come with us." "Why should he go with you?" the king asked. Awo Abusaalomu n’amugamba nti, “Ggwe bw’oba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka n’amubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?”
27 But Absalom pressed him, so he let Amnon and all the king's sons go with him. Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28 Absalom ordered his servants, "Watch carefully. When wine makes Amnon merry and I say, 'Strike Amnon down,' kill him. Don't be afraid. Haven't I commanded you myself? Be strong and brave." Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.”
29 Absalom's servants did to Amnon as Absalom had ordered. Then all the king's sons rose, each mounted his mule, and fled. Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
30 On the way, David heard: "Absalom has killed all the king's sons; not one is left." Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.”
31 The king stood, tore his clothes, and lay on the ground; all his servants stood by, clothes torn. Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.
32 But Jonadab son of Shimeah, David's brother, said: "My lord should not think they killed all the young men, the king's sons. Only Amnon is dead. Absalom intended this from the day Amnon violated his sister Tamar. Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.
33 My lord the king must not take it to heart, thinking all the king's sons are dead. Only Amnon is dead." Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.”
34 Meanwhile Absalom had fled. The young watchman looked up and saw many people coming down the road on the hillside behind him. Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi.
35 Jonadab said to the king, "Look, the king's sons have come. It's just as your servant said." Awo Yonadabu n’agamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.”
36 As he finished speaking, the king's sons arrived weeping loudly; the king and all his servants also wept very bitterly. Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.
37 Absalom fled and went to Talmai son of Ammihud, king of Geshur. David mourned for his son day after day. Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku.
38 After Absalom had fled and gone to Geshur, he stayed there three years. Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu.
39 And King David's heart longed to go to Absalom, for he had found comfort after Amnon's death. Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]