Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After the death of Saul, David returned from defeating the Amalekites and stayed in Ziklag two days. Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Dawudi n’agenda n’abeera e Zikulagi n’amalayo ennaku bbiri, ng’amaze okusaanyaawo Abamaleki.
2 On the third day a man came from Saul's camp, clothes torn, dirt on his head. Reaching David, he fell to the ground and bowed. Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, ne wajja omusajja ng’ava mu lusiisira lwa Sawulo, ng’ayuzizza ebyambalo bye, nga ne mu mutwe gwe mulimu enfuufu. Bwe yatuuka awali Dawudi, n’avuunama ng’amuwa ekitiibwa.
3 David asked him, "Where have you come from?" "I escaped from the camp of Israel," he replied. Dawudi n’amubuuza nti, “Ova wa?” N’amuddamu nti, “Ndi kaawonawo okuva mu lusiisira lwa Isirayiri.”
4 "What happened?" David asked. "Tell me." He said, "The people fled the battle. Many fell and died. Saul and his son Jonathan are dead too." Dawudi n’ayogera nti, “Ntegeeza ebyabaddewo.” N’ayogera nti, “Abantu badduse mu lutalo, era bangi ku bo bafudde. Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”
5 David asked the young man who brought the news, "How do you know Saul and his son Jonathan are dead?" Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne mutabani we Yonasaani nabo bafudde?”
6 The young man said, "I happened onto Mount Gilboa, and there was Saul, leaning on his spear, the chariots and horsemen bearing down on him. Omuvubuka n’amugamba nti, “Bwe nnali awo ku lusozi Girubowa, ne ndaba Sawulo nga yeesigamye ku ffumu lye era n’amagaali n’abeebagala embalaasi eby’omulabe nga bamucocca.
7 He turned around, saw me, and called to me. I said, 'Here I am.' Awo bwe yakyusa amaaso ge n’andaba, n’ankowoola, ne muddamu nti, ‘Nkukolere ki?’
8 He asked me, 'Who are you?' I told him, 'I am an Amalekite.' “N’ambuuza nti, ‘Ggwe ani?’ “Ne muddamu nti, ‘Ndi Mwamaleki.’
9 He said to me, 'Stand over me and kill me; anguish has seized me, but I'm still alive.' “N’alyoka aŋŋamba nti, ‘Nnyimirirako onzite! Ndi mu masaŋŋanzira ag’okufa newaakubadde nga ndabika ng’akyalimu obulamu.’
10 So I stood over him and killed him, since I knew he wouldn't survive his fall. Then I took the crown from his head and the band on his arm, and brought them here to my lord." “Kyennava muyimirirako ne mutta, kubanga n’ategeera nga takyalamye. Ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n’ekikomo ekyali ku mukono gwe, era biibino mbireetedde mukama wange.”
11 Then David grabbed his own clothes and tore them, and so did all the men with him. Awo Dawudi n’abasajja bonna be yali nabo, ne bayuza ebyambalo byabwe.
12 They mourned, wept, and fasted until evening for Saul, his son Jonathan, our Father's people, and the house of Israel, because they had fallen by the sword. Ne bakaaba, ne bakungubaga ne basiiba okutuusa akawungeezi ku lwa Sawulo ne Yonasaani mutabani we; ne ku lw’eggye lya Mukama, ne ku lw’ennyumba ya Isirayiri; kubanga bonna baali bafudde n’ekitala.
13 David asked the young man who brought the news, "Where are you from?" He said, "I'm the son of a foreigner, an Amalekite." Awo Dawudi n’agamba omuvubuka eyamutegeeza amawulire ago nti, “Ova wa?” N’addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwameleki.”
14 David said, "How were you not afraid to raise your hand to kill our Father's anointed?" Dawudi n’amugamba nti, “Lwaki tewatya kuzikiriza omuntu Mukama gwe yafukako amafuta?”
15 David called one of his young men and said, "Go, strike him down." He struck him, and he died. Awo Dawudi n’ayita omu ku basajja be, n’amugamba nti, “Mutte.” N’amufumita n’amutta.
16 David had said to him, "Your blood is on your own head, for your own mouth testified against you when you said, 'I killed our Father's anointed.'" Dawudi n’amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo, kubanga akamwa ko ye mujulirwa ng’oyogera nti, ‘Nnatta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”
17 Then David sang this lament over Saul and his son Jonathan, Dawudi n’akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we,
18 and ordered the people of Judah taught this lament, called The Bow; it is written in the Book of Jashar: n’alagira abantu ba Isirayiri bayigirizibwe oluyimba olw’omutego olw’okukungubaga olwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali. Olugamba nti,
19 "Your glory, Israel, lies slain on your heights. How the mighty have fallen! “Ekitiibwa kyo, ayi Isirayiri, kifiiridde ku nsozi zo! Ab’amaanyi nga bagudde!
20 Don't tell it in Gath, don't proclaim it in the streets of Ashkelon, or the daughters of the Philistines will rejoice, the daughters of the uncircumcised will exult. “Temukyogeranga mu Gaasi, temukyatuliranga mu nguudo za Asukulooni, abawala b’Abafirisuuti baleme okusanyuka, abawala b’abatali bakomole baleme okujaguza.
21 Mountains of Gilboa, may you have no dew or rain, no fields yielding offerings. For there the shield of the mighty was defiled, the shield of Saul, no longer rubbed with oil. “Mmwe ensozi za Girubowa, muleme okugwibwako omusulo newaakubadde enkuba, newaakubadde ennimiro okumeramu ensigo. Kubanga eyo engabo ey’ab’amaanyi gye yanyoomerwa n’engabo ya Sawulo, gye yafuukira ng’etafukibwangako mafuta.
22 From the blood of the slain, from the flesh of the mighty, the bow of Jonathan did not turn back, the sword of Saul did not return unsatisfied. Omutego gwa Yonasaani tegwaddanga mabega n’ekitala kya Sawulo tekyaddanga nga kikalu, olw’okubuna omusaayi gw’abattibwanga, n’amasavu g’ab’amaanyi.
23 Saul and Jonathan, beloved and cherished in life, in death they were not parted. They were swifter than eagles, stronger than lions. “Sawulo ne Yonasaani, mu bulamu bwabwe baali baagalwa nnyo era baali baakisa, ne mu kufa tebaayawukana. Baali bangu okusinga empungu, era baali b’amaanyi n’okusinga empologoma.
24 Daughters of Israel, weep for Saul, who clothed you in scarlet and finery, who adorned your garments with ornaments of gold. “Mmwe abawala ba Isirayiri, mukaabire Sawulo, eyabambaza engoye ezinekaaneka ez’okwesiima, eyabambaza ebyambalo ebyatonebwa ne zaabu.
25 How the mighty have fallen in the thick of battle! Jonathan lies slain on your heights. “Ab’amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku nsozi zammwe.
26 I grieve for you, my brother Jonathan; you were very dear to me. Your love for me was wonderful, surpassing the love of women. Nnumwa nnyo ku lwa muganda wange Yonasaani, kubanga wali mukwano gwange ddala. Okwagala kwe wanjagala kwali kwa kitalo, nga kwa kitalo n’okusinga okw’abakyala.
27 How the mighty have fallen! The weapons of war have perished." “Ab’amaanyi nga bagudde, n’ebyokulwanyisa nga bizikiridde!”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]