Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Samuel 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Later, David inquired of our Father, "Should I go up to one of the cities of Judah?" Our Father said, "Go up." David said, "Where?" "Hebron," he said. Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?” Mukama n’amuddamu nti, “Yambuka.” N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?” Mukama n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.”
2 David went up there with his two wives, Ahinoam of Jezreel and Abigail, Nabal the Carmelite's widow. Awo Dawudi n’agenda eyo ne bakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali ow’e Kalumeeri.
3 David brought up his men who were with him, each with his household, and they settled in Hebron's towns. Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo.
4 Then Judah's men came and anointed David king over Judah's house there. They told David that Jabesh-gilead's men had buried Saul. Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda. Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo,
5 He sent messengers to the men of Jabesh-gilead: "May our Father bless you for this kindness to your lord Saul, burying him. n’abatumira ababaka okubagamba nti, “Mukama abawe omukisa olw’ekisa n’ekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika.
6 Now may our Father show you kindness and faithfulness; I too will treat you well for doing this. Mukama abalage ekisa n’okwagala, nange ndibalaga ky’ekimu olw’ekyo kye mukoze.
7 Be strong and take courage, for your master Saul is dead, and Judah's house has also anointed me king over them." Noolwekyo kyemunaava mubeera ab’amaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.”
8 But Abner son of Ner, Saul's army commander, took Ish-bosheth son of Saul and brought him across to Mahanaim. Mu biro ebyo, Abuneeri mutabani wa Neeri, omuduumizi w’eggye lya Sawulo, n’atwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu.
9 He made him king over Gilead, over the Ashurites, over Jezreel, over Ephraim, over Benjamin—over all Israel. N’amufuula kabaka w’e Gireyaadi, ow’Abasuuli, ow’e Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isirayiri yenna.
10 Ish-bosheth son of Saul was forty when he became king over Israel; he reigned two years. But Judah's house followed David. Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era n’afugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi.
11 David was king in Hebron over the house of Judah for seven years and six months. Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ng’afuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
12 Abner son of Ner, with Ish-bosheth son of Saul's servants, left Mahanaim for Gibeon. Abuneeri mutabani wa Neeri n’abasajja ba Isubosesi mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni.
13 Joab son of Zeruiah and David's servants also went out and met them together at Gibeon's pool—one side sitting on one bank, the other on the opposite bank. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala.
14 Abner said to Joab, "Let the young men get up and compete before us." Joab said, "Let them get up." Awo Abuneeri n’agamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Kale bagolokoke.”
15 So they got up and crossed over by count, twelve for Benjamin and Ish-bosheth son of Saul, twelve from David's servants. Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, n’ababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi.
16 Each man gripped his opponent's head and drove his sword into his side, and they fell together. So the place in Gibeon was named Helkath-hazzurim. Buli omu n’akwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-Kazzulimu.
17 The fighting that day was very fierce; Abner and Israel's men fell before David's servants. Olutalo ne lweyongerera ddala, Abuneeri n’abasajja be ne bawangulwa abasajja ba Dawudi.
18 Zeruiah's three sons were there: Joab, Abishai, and Asahel—Asahel as fast-footed as a wild gazelle. Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ng’empeewo ey’omu ttale.
19 He chased Abner, turning neither to the right nor to the left as he pursued him. Asakeri n’agoba Abuneeri emisinde, obutatunula ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono.
20 Abner looked back and said, "Is that you, Asahel?" "It is," he answered. Awo Abuneeri bwe yatunula emabega we, n’abuuza nti, “Ye ggwe Asakeri?” N’addamu nti, “Ye nze.”
21 Abner told him, "Turn right or left, seize one of the young men, take his gear." But Asahel refused to stop chasing him. Abuneeri n’amugamba nti, “Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku mukono gwo ogwa kkono ogye ku omu ku bavubuka akuli okumpi ekyokulwanyisa kye.” Naye Asakeri n’atalekaayo kumugoba.
22 Abner told Asahel again, "Turn back. Why force me to strike you down? How could I face your brother Joab?" Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?”
23 He refused to turn aside, so Abner struck him in the stomach with the butt of his spear; it came out through his back. He fell there and died on the spot. Everyone who came to where Asahel had fallen and died stood still. Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto n’omuwunda gw’effumu, effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa wansi era n’afiirawo.
24 Joab and Abishai pursued Abner; at sunset they reached the hill of Ammah, near Giah on the way to the wilderness of Gibeon. Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo ery’eddungu ery’e Gibyoni.
25 Benjamin's men gathered behind Abner, formed one band, and stood atop a hill. Awo abasajja b’e Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu.
26 Abner called to Joab: "Must the sword devour forever? Don't you know this will end bitterly? How long until you tell the people to turn back from chasing their brothers?" Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?”
27 Joab said, "As surely as our Father lives, if you had not spoken, the people would have kept pursuing their brothers until morning." Yowaabu n’addamu nti, “Katonda nga bw’ali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ng’abasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.”
28 Joab blew the trumpet; all the troops stopped, no longer pursuing Israel or fighting. Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era n’okubalwanyisa.
29 Abner and his men marched through the Arabah all that night, crossed the Jordan, went through all Bithron, and reached Mahanaim. Ekiro ekyo kyonna Abuneeri n’abasajja be ne batambula ne bayita mu Alaba, ne basomoka Yoludaani, ne batambula mu kiseera eky’oku makya kyonna ne batuuka e Makanayimu.
30 Joab turned back from chasing Abner, gathered all the troops, and found nineteen of David's men missing, besides Asahel. Awo Yowaabu n’addayo ng’alese okugoba Abuneeri, n’akuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ng’abasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri.
31 But David's servants struck down 360 of the men of Benjamin who were with Abner. Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri.
32 They carried Asahel, buried him in his father's tomb in Bethlehem; Joab and his men walked all night, reaching Hebron by dawn. Ne batwala omulambo gwa Asakeri ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Besirekemu. N’oluvannyuma Yowaabu n’abasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni enkeera.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]