Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Corinthians 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So I made up my mind not to make another painful visit to you. Kino nakimalirira munda mu nze obutakomawo nate eyo nneme okubanakuwaza.
2 For if I hurt you, who is left to cheer me but the one I hurt? Kubanga bwe nnaabanakuwaza, ani anansanyusa wabula oyo gwe nnaanakuwaza?
3 I wrote this so that when I came those who should make me rejoice would not pain me, confident in all of you that my joy is the joy of you all. Kyennava mbawandiikira ebyo byennyini bwe ndijja nneme kunakuwazibwa abo abandinsanyusizza, nga nnesiga nti essanyu lyange lye lyammwe mwenna.
4 Out of deep distress and anguish of heart I wrote to you with many tears, not to grieve you but to show you the overflowing love I have for you. Nabawandiikira wakati mu kubonaabona okungi n’okunyolwa mu mutima, era nga nkaaba amaziga mangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala okungi ennyo kwe nnina gye muli.
5 But if anyone has caused pain, he has not so much pained me as, in part, all of you—I don't want to be too hard on him. Bwe wabaawo eyanakuwaza munne, teyanakuwaza nze, si kulwa nga mbazitoowerera mwenna.
6 For such a person, this punishment by the majority is enough. Omuntu ng’oyo ekibonerezo ekyamuweebwa abangi kimumala;
7 So now instead you should forgive and comfort him, or he may be overwhelmed by excessive sorrow. kyekiva kisaana mmwe okumusonyiwa n’okumuzzaamu amaanyi si kulwa ng’ennaku emuyitirirako n’emuyinga obungi.
8 So I urge you to reaffirm your love for him. Noolwekyo mbakuutira okwongera okumukakasa nti mumwagala.
9 This is also why I wrote: to test you and know whether you are obedient in everything. Kyennava mbawandiikira ndyoke ntegeere obanga muli bawulize mu nsonga zonna.
10 Anyone you forgive, I forgive too. What I have forgiven—if anything—I forgave for your sake before Christ, Bwe musonyiwa omuntu mu nsonga yonna, nange mmunsonyiwa, kubanga bwe mba nga nsonyiye, nsonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo.
11 so that we would not be outwitted by Satan—for we are not unaware of his schemes. Setaani alemenga okutuwangula, kubanga tumanyi enkwe ze.
12 When I came to Troas to preach the gospel of Christ, a door opened for me in the Lord, Bwe natuuka mu Tulowa olw’enjiri ya Kristo, Mukama n’anzigulirawo oluggi,
13 yet my spirit had no rest, for I did not find my brother Titus there. So I said goodbye and went on to Macedonia. saawumula mu mutima gwange, bwe ssaalaba owooluganda Tito. Bwe namala okubasiibula ne ndaga e Makedoniya.
14 But thanks to our Father, who always leads us in triumph in Christ and through us spreads everywhere the fragrance of knowing him. Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna.
15 For we are the aroma of Christ to our Father among those being saved and those perishing, Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa.
16 to one, a fragrance from death to death; to the other, a fragrance from life to life. And who is sufficient for this? Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola?
17 For we're not, like so many, peddlers of our Father's word, but in sincerity, as from him, in his sight, we speak in Christ. Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]