Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Corinthians 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Are we starting to recommend ourselves again? Or do we, like some, need letters of recommendation to you or from you? Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala?
2 You yourselves are our letter, written on our hearts, known and read by everyone. Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna,
3 You show yourselves to be a letter from Christ, delivered by us—written not with ink but with the Spirit of our living Father, not on stone tablets but on tablets of human hearts. ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.
4 Such is the confidence we have through Christ toward our Father. Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo.
5 Not that we're competent in ourselves to claim anything as our own, but our competence is from our Father. Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda,
6 He made us competent to serve a new covenant—not of the letter but of the Spirit. For the letter kills, but the Spirit gives life. oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.
7 If the ministry of death, carved in letters on stone, came with such glory that Israelites could not gaze at Moses' face because of its glory—a glory that was fading, Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako,
8 will not the ministry of the Spirit come with even greater glory? kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa?
9 For if the ministry of condemnation had glory, how much more does the ministry of righteousness overflow with glory! Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa.
10 What was glorious has no glory now, outshined by surpassing glory. Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino.
11 For if what was fading came with glory, how much greater is the glory of what endures! Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.
12 Since we have such a hope, we act with great boldness. Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi,
13 We are not like Moses, who put a veil over his face so the Israelites couldn't stare at the end of what was fading. so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako.
14 But their minds were hardened. To this day, the same veil remains when the old covenant is read—unlifted, since only in Christ is it removed. Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo.
15 Yes, to this day, whenever Moses is read, a veil lies over their hearts. Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka.
16 But whenever anyone turns to our Lord Jesus, the veil is taken away. Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo.
17 Our Lord Jesus is the Spirit, and where the Spirit of our Lord Jesus is, there is freedom. Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe.
18 We all, faces unveiled, gazing at the glory of our Lord Jesus, are transformed into that same image, from glory to glory, as from our Lord Jesus, the Spirit. Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]