Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Solomon finished praying, fire fell from heaven and consumed the burnt offering and sacrifices, and our Father's glory filled the house. Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu.
2 The priests couldn't enter our Father's house, because our Father's glory filled it. Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama.
3 When all the Israelites saw the fire fall and our Father's glory on the house, they knelt, faces to the ground on the pavement, worshiping and thanking our Father: "He is good; his faithful love endures forever." Awo Abayisirayiri bonna bwe baalaba omuliro nga gukka, n’ekitiibwa kya Mukama nga kiri ku yeekaalu, ne bavuunama ku lubalaza ng’amaaso gaabwe gatunudde wansi ne basinza era ne beebaza Mukama nga boogera nti, “Mulungi, era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4 Then the king and all the people offered sacrifices before our Father. Awo kabaka n’abantu bonna, ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
5 King Solomon sacrificed 22,000 oxen and 120,000 sheep; the king and all the people dedicated the house of our Father. Kabaka Sulemaani n’awaayo ssaddaaka ey’ente ezawera emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Awo kabaka n’abantu bonna ne bawonga eyeekaalu ya Mukama.
6 The priests stood at their posts; the Levites stood with the musical instruments for our Father that King David made for giving thanks to our Father—"for his faithful love endures forever"—whenever David praised through the instruments. Opposite them the priests blew the trumpets, and all Israel stood. Bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe, n’Abaleevi nabo mu bifo byabwe nga bakutte ebivuga bya Mukama, kabaka Dawudi bye yali akoze olw’okutenderezanga Mukama, buli lwe yeebazanga Mukama ng’agamba nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.” Ku luuyi olwaddirira Abaleevi, bakabona ne bafuuwa amakondeere, Isirayiri yenna n’ayimirira.
7 Solomon dedicated the courtyard's middle, in front of our Father's house, for there he offered the burnt offerings and fat of the peace offerings, since the bronze altar he had made could not hold the burnt offering, grain offering, and fat. Sulemaani n’atukuza oluggya olwa wakati olwali mu maaso ga yeekaalu ya Mukama, era eyo n’aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe kubanga ku kyoto eky’ekikomo kye yali akoze kwali tekugyako biweebwayo byokebwa n’ebiweebwayo ebyobutta, n’ebitundu n’amasavu.
8 At that time Solomon kept the feast seven days, and all Israel with him—a vast assembly—from Lebo-hamath to the Brook of Egypt. Era mu kiseera kyekimu Sulemaani n’akuuma embaga eyo okumala ennaku musanvu, ne Isirayiri yenna wamu naye, n’ekibiina ekinene ennyo okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak’e Misiri.
9 On the eighth day they held a closing assembly, having kept the altar's dedication seven days and the feast seven days. Ku lunaku olw’omunaana ne bakuba olukuŋŋaana, kubanga baali bajjagulizza okuwongebwa kw’ekyoto ennaku musanvu, n’embaga ennaku endala musanvu.
10 On the twenty-third day of the seventh month, he sent the people home, joyful and glad at heart for the goodness our Father showed to David, to Solomon, and to Israel his people. Ku lunaku olw’amakumi abiri mu esatu olw’omwezi ogw’omusanvu, Kabaka Sulemaani n’asindika abantu baddeyo ewaabwe, era ne bagenda nga basanyufu era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwa Mukama bwe yalaga Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.
11 Solomon finished the house of our Father and the royal palace. Everything Solomon set his heart to do in the house of our Father and his own house, he did successfully. Awo Sulemaani bwe yamaliriza eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, era ng’amalirizza n’ebyo byonna bye yali ateeseteese mu mutima gwe okukola mu yeekaalu ya Mukama ne mu lubiri lwa kabaka,
12 Then our Father appeared to Solomon at night and said to him: "I have heard your prayer and chosen this place for myself as a house of sacrifice. Mukama n’amulabikira mu kiro n’amugamba nti, “Mpulidde okusaba kwo, era neerobozza gye ndi ekifo kino okuba eyeekaalu ey’okuweerangamu ssaddaaka.
13 "If I shut the skies so no rain falls, or command locusts to devour the land, or send a plague among my children, “Bwe nnaggalangawo eggulu enkuba n’etatonnya, oba ne ndagira enzige okulya ensi oba ne nsindikira abantu bange kawumpuli,
14 if my children—who bear my name—humble themselves, pray, seek my face, and turn from their evil ways, I will hear from heaven, forgive their sin, and heal their land. abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.
15 Now my eyes will be open and my ears attentive to the prayer offered in this place. Era amaaso gange ganaazibukanga, n’amatu gange ganaawuliranga esaala ezinaawebwangayo mu kifo kino.
16 Now I have chosen and dedicated this house, so my name remains there forever; my eyes and heart will be there always. Nnonze era neewongedde yeekaalu eno, Erinnya lyange libeerenga omwo ennaku zonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo ekiseera kyonna.
17 As for you—if you walk before me as David your father walked, doing all I commanded you and keeping my statutes and judgments, “Bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola bye nkulagira byonna, n’okuuma ebiragiro byange n’amateeka gange,
18 then I will confirm your kingdom's throne, as I covenanted with David your father: "A man of yours will always rule over Israel." ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwo, nga bwe nalagaana ne Dawudi kitaawo bwe nayogera nti, ‘Tolirema kuba na musika alifuga Isirayiri.’
19 But if you turn away, abandon my statutes and commands I set before you, and go serve other gods and worship them, “Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza,
20 then I will uproot Israel from my land I gave them, cast from my sight this temple I set apart for my name, and make it an example and taunt among all peoples. ndisiguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna.
21 This house, once so exalted, will leave everyone who passes by appalled, saying, "Why did the LORD do this to this land and this house? Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikiridde nnyo, abaliyitawo bonna balyewuunya, nga boogera nti, ‘Lwaki Mukama akoze ekifaanana bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’
22 They will answer, "Because they abandoned the LORD, God of their ancestors, who brought them out of the land of Egypt, and clung to other gods, bowing and serving them—that's why he brought all this disaster on them." Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]