Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After twenty years, in which Solomon built the house of our Father and his own palace, Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe,
2 Solomon rebuilt the cities that Huram had given him, and settled the people of Israel in them. Sulemaani n’addaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, n’abiwa Abayisirayiri okubibeerangamu.
3 Then Solomon marched against Hamath-zobah and overpowered it. Sulemaani n’alumba Kamasuzoba n’akiwamba.
4 He built Tadmor in the wilderness, along with all the storage cities he built in Hamath. Era n’azimba ne Tadumoli mu ddungu, n’ebibuga byonna, eby’etterekero mu Kamasi.
5 He also rebuilt Upper Beth-horon and Lower Beth-horon as fortified cities, with walls, gates, and bars, N’addaabiriza Besukolooni ekya waggulu ne Besukolooni ekya wansi, n’abizimba nga bibuga ebiriko bbugwe, n’enkomera, ne wankaaki, n’ebisiba eby’empagi,
6 Baalath, all Solomon's supply cities, his chariot and horsemen cities, and all he desired to build in Jerusalem, Lebanon, and his whole realm. n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.
7 There were still people left from the Hittites, Amorites, Perizzites, Hivites, and Jebusites, who were not Israelites. Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri,
8 Their descendants still living in the land, whom Israel had not destroyed, Solomon conscripted for forced labor, as they still are today. be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani n’abafuula abaddu, ne leero.
9 Solomon enslaved no Israelites for his work; they were soldiers, commanders of his officers, and commanders of his chariots and horsemen. Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze.
10 These were King Solomon's chief officers: 250 who supervised the people. Waaliwo n’abakungu ba kabaka Sulemaani ab’oku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu.
11 Solomon brought Pharaoh's daughter from the City of David to the house he built her, saying, "No wife of mine will live in David king of Israel's house, for holy is wherever our Father's ark has entered." Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.”
12 Then Solomon offered burnt offerings to our Father on the altar he built before the portico, Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza,
13 daily as required, by Moses' command: Sabbaths, New Moons, and three yearly festivals—the Feast of Unleavened Bread, the Feast of Weeks, and the Feast of Tabernacles. nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira.
14 Following his father David's rules, he set priestly divisions for service, Levite divisions to praise and serve before the priests as each day required, and gatekeeper divisions at each gate, for David the man of our Father had commanded it. N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15 They followed the king's orders to the priests and Levites exactly, down to the storerooms. Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.
16 All Solomon's work was finished, from the day our Father's house was founded until its completion; our Father's house was complete. Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi.
17 Then Solomon went to Ezion-geber and Eloth on the seacoast in the land of Edom. Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba n’e Erosi ebibuga ebyali ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu.
18 Huram sent him ships by his servants, with sailors who knew the sea; they sailed with Solomon's servants to Ophir, took about seventeen tons of gold, and brought it to King Solomon. Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]