Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Solomon said, "Our Father has said that he would dwell in thick darkness. Mu kiseera ekyo Sulemaani n’ayogera nti, “Mukama eyagamba nti Alituula mu kizikiza ekikutte;
2 But I have built you an exalted house, a place for you to dwell in forever." nkuzimbidde yeekaalu ey’ekitiibwa, ekifo ky’onoobeerangamu emirembe gyonna.”
3 Then the king turned and blessed the whole assembly of Israel as they all stood. Awo kabaka n’akyuka n’atunuulira ekibiina kyonna ekya Isirayiri ekyali kiyimiridde awo, n’abasabira omukisa.
4 He said, "Praise our Father, the God of Israel, whose hand has fulfilled what his mouth promised my father David, saying, N’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wa Isirayiri, atuukiriza n’omukono gwe ekyo kye yasuubiza n’akamwa ke eri Dawudi kitange, ng’agamba nti,
5 'Since the day I brought my people out of Egypt, I chose no city from all the tribes of Israel to build a house for my name to be there, nor any man to rule my people Israel. “ ‘Okuva ku lunaku lwe naggya abantu bange mu nsi y’e Misiri, tewali kibuga kye nnalonda mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimba mu eyeekaalu olw’erinnya lyange, wadde omuntu yenna okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.
6 But I chose Jerusalem for my name to be there, and I chose David to lead my people Israel.' Naye kaakano nnonze Yerusaalemi okubeeramu Erinnya lyange, era nnonze Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’
7 David my father had it in his heart to build a house for the name of our Father, the God of Israel. “Kitange Dawudi yali akiteeseteese mu mutima gwe okuzimbira Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
8 But our Father told David my father, 'Because building a house for my name was in your heart, you did well to intend this. Naye Mukama n’agamba kitange Dawudi nti, ‘Newaakubadde nga kyali mu mutima gwo okuzimbira Erinnya lyange eyeekaalu, era wakola bulungi okuba nakyo mu mutima gwo,
9 But you will not build the house; your son, from your own body—he will build the house for my name.' naye si ggwe olizimba yeekaalu eyo, wabula mutabani wo, ow’omubiri gwo n’omusaayi gwo; y’alizimbira Erinnya lyange eyeekaalu.’
10 Now our Father has fulfilled the word he spoke: I have succeeded David my father and sit on Israel's throne, as he promised, and I have built the house for the name of our Father, the God of Israel. “Kaakano, Mukama atuukirizza kye yasuubiza. Nsikidde Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
11 There I placed the ark, holding the covenant our Father made with the people of Israel." Era omwo mwe ntadde essanduuko, omuli endagaano eya Mukama ggye yakola n’abantu ba Isirayiri.”
12 Then Solomon stood before our Father's altar in the presence of the whole assembly of Israel and spread out his hands. Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye.
13 Solomon had made a bronze platform about seven and a half feet long, seven and a half feet wide, four and a half feet high, and set it in the middle of the court. He stood on it, knelt before the whole assembly of Israel, and spread his hands toward heaven. Yali akoze ekituuti eky’ekikomo, ekyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu n’obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu, n’obugulumivu mita emu ne desimoolo ssatu, era ng’akitadde wakati mu luggya olw’ebweru era kye yali ayimiriddeko. N’afukamira mu maaso g’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, n’ayimusa emikono gye eri eggulu.
14 He said, O my Father, God of Israel, no Father is like you in heaven or on earth, keeping covenant and showing loyal love to your servants who walk before you wholeheartedly. N’ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna.
15 You kept your promise to your servant David my father; what you spoke with your mouth you fulfilled with your hand today. Otuukirizza ekyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, kubanga wasuubiza n’akamwa ko, era okituukirizza n’omukono gwo leero.
16 So now, my Father, God of Israel, keep for your servant David my father what you promised: "You will never lack a man before me on Israel's throne, if only your sons watch their way to walk in my law, as you have walked before me." “Kaakano Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tuukiriza ebyo bye wasuubiza Dawudi kitange bwe wayogera nti, ‘Tolirema kufuna musika mu maaso gange kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, ab’ezzadde lyo bwe baneegenderezanga okutambuliranga mu maaso gange ng’etteeka lyange bwe liri, nga ggwe bw’otambulidde mu maaso gange.’
17 And now, my Father, God of Israel, let the word you spoke to your servant David be confirmed. Kale nno, Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri ekigambo kyo kye wasuubiza Dawudi omuddu wo kituukirire.
18 But will our Father really live with people on earth? The heavens and highest heavens can't hold you—how much less this house I built. “Naye ddala Katonda alituula n’abantu ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu erisinga okuba erya waggulu toligyamu, kale ate olwo yeekaalu gye nzimbye gy’oyinza okugyamu?
19 Yet hear the prayer of your servant and his plea, O my Father, and hear the cry and prayer your servant prays before you. Wuliriza okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange, owulire okusaba kw’omuddu wo kwasaba gy’oli.
20 May your eyes be open toward this house day and night, toward the place where you said you'd put your name, to hear the prayer your servant prays toward this place. Amaaso go gatunuulirenga eyeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kye wayogerako nti oliteeka omwo Erinnya lyo, era owulire okusaba kw’omuddu wo eri ekifo kino.
21 Hear your servant's and your people Israel's pleas when they pray toward this place. Hear from heaven, your dwelling; and when you hear, forgive. Wulira kaakano okwegayirira kw’omuddu wo n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banaabanga basaba nga batunuulidde ekifo kino; owulirenga okuva mu kifo eyo gy’obeera, era bw’owuliranga, osonyiwenga.
22 If a man sins against his neighbor and must swear an oath, and he comes and swears his oath before your altar in this house, “Omuntu bw’anaayonoonanga ku muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, era n’ajja n’alayira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno,
23 then hear from heaven and act. Judge your servants: pay back the guilty for their deeds, and clear the righteous, rewarding them by their righteousness. owulirenga okuva mu ggulu, obeeko ky’okola. Osalenga omusango wakati w’abaddu bo osasulenga gwe gusinze, ng’ebikolwa bye bwe bimusaanira. Oyatulenga atalina musango, era omusasulenga ng’obutuukirivu bwe, bwe bunaabanga.
24 If your people Israel, defeated by enemies for sinning against you, turn back to praise your name, pray, and plead with you in this house, “Abantu bo Isirayiri bwe banaabanga bawanguddwa omulabe olw’obutali butuukirivu bwabwe, naye ne bakyuka ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu yeekaalu eno,
25 then hear from heaven, forgive the sin of your people Israel, and bring them back to the land you gave to them and their ancestors. kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abantu bo Isirayiri era obakomyewo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.
26 When the sky is shut with no rain because they sinned against you, if they pray toward this place, praise your name, and turn from their sin when you make them suffer, “Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, kubanga boonoonye gy’oli, naye ne basaba nga batunuulidde ekifo kino, ne baatula erinnya lyo, ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe ekibaweezesezza ekibonerezo,
27 then hear from heaven, forgive your servants' sin, your people Israel, when you teach them the good path to walk, and send rain on your land, which you gave your people as their inheritance. kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu, osonyiwe ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri, obayigirize ekkubo eggolokofu, lye bateekwa okutambulirangamu, era obaweereze enkuba ku nsi gye wawa abantu bo, obusika bwo.
28 If famine, plague, blight, mildew, locust, or caterpillar strikes the land; if enemies besiege them in their towns—whatever plague or sickness comes, “Bwe wanaagwangawo enjala oba kawumpuli mu nsi, oba ne wabaawo okugengewala oba obukuku, oba enzige oba ebisaanyi, oba abalabe baabwe ne babazingiriza mu bibuga byabwe wadde ne bw’anaabanga kawumpuli ow’engeri etya, oba bulwadde bwa ngeri ki,
29 whatever prayer or plea anyone or all your people Israel makes, each knowing his own suffering and pain and spreading his hands toward this house, ne wabaawo okusaba oba okwegayirira okw’engeri zonna okukoleddwa omuntu yenna, oba abantu bo bonna Isirayiri, nga buli omu ategedde endwadde ye, n’obuyinike bwe, era ng’ayanjulurizza engalo ze eri yeekaalu eno,
30 then hear from heaven, your home, and forgive, and repay each according to all his ways, since you know his heart—for you alone know every human heart, kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera osonyiwe, era osasule buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka gw’omanyi emitima gy’abaana b’abantu;
31 so they may fear you and walk in your ways as long as they live on the land you gave our ancestors. balyoke bakutyenga, era batambulirenga mu makubo go ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32 Also, when a foreigner not of your people Israel comes from a distant land for your great name, your mighty hand, and your outstretched arm—when they come and pray toward this house, “Era mu ngeri y’emu, bwe wanaabangawo munnaggwanga atali wa ku bantu bo Isirayiri, ng’ava mu nsi ey’ewala, olw’erinnya lyo ekkulu, n’olw’omukono gwo ogw’amaanyi, n’omukono gwo ogugoloddwa, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde eyeekaalu eno,
33 then hear from heaven where you live, and do all the foreigner asks, so all the earth's peoples may know your name and fear you, as your people Israel do, and know this house I built bears your name. kale owulirenga ng’osinziira mu ggulu gy’obeera, okolere omunnaggwanga oyo kyonna ky’anaakusabanga; abantu bonna ab’omu nsi balyoke bamanye erinnya lyo era bakutye, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bategeere nti ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa Erinnya lyo.
34 If your people go to war against their enemies wherever you send them, and pray to you toward this city you have chosen and the house I built for your name, “Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gy’onoobasindikanga, ne basaba nga batunuulidde ekibuga kino ky’olonze ne yeekaalu gye nzimbidde Erinnya lyo,
35 then hear from heaven their prayer and their plea, and uphold their cause. kale owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, obaddiremu.
36 If they sin against you—for no one is without sin—and you are angry with them and hand them to an enemy who takes them captive to a land far or near, “Bwe banaakolanga ebisobyo, kubanga tewaliwo muntu atasobya, n’obasunguwalira, n’obawaayo eri omulabe, ne batwalibwa nga basibe mu nsi ey’ewala oba ey’okumpi,
37 yet if in the land of their captivity they take it to heart, and turn back and plead with you there, saying, "We have sinned, we did wrong, we acted evilly," oluvannyuma ne beenenya mu mutima nga bali mu nsi gye bali abasibe, ne bakwegayiririra mu nsi ey’okusibibwa kwabwe nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola eby’obubambavu, era twagira ekyejo,’
38 if they turn back to you with all their heart and soul in the land of their captivity where they were taken, and pray toward their land you gave their ancestors, the city you chose, and the house I built for your name, era bwe beenenyanga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’okusibibwa kwabwe gye baatwalibwa, ne basaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n’eri ekibuga kye walonda, n’eri eyeekaalu gye nazimba ku lw’Erinnya lyo,
39 then hear from heaven, your dwelling place, their prayer and pleas, uphold their cause, and forgive your people who sinned against you. kale, owulirenga okusaba kwabwe n’okwegayirira kwabwe, ng’osinziira mu ggulu, ekifo gy’obeera obaddiremu, era osonyiwe abantu bo abakwonoonye.
40 Now, my Father, let your eyes be open and your ears attentive to the prayer of this place. “Kaakano Katonda wange, amaaso go gazibukenga, n’amatu go gawulirenga okusaba okunaaweerwangayo mu kifo kino.
41 And now arise, my Father, and come to your resting place, you and the ark of your might. Let your priests, my Father, be clothed with salvation, and let your faithful ones rejoice in your goodness. “Era kaakano, Ayi Mukama Katonda golokoka, okke mu kifo kyo eky’okuwummulirangamu, ggwe n’essanduuko ey’amaanyi go. Bakabona bo Ayi Mukama Katonda, bambazibwe obulokozi, era n’abatukuvu bo basanyukire obulungi bwo.
42 My Father, do not reject your anointed one. Remember your covenant love for David your servant. Ayi Mukama Katonda, tokyusa maaso go okuva ku oyo gwe wafukako amafuta. Ojjukire ekisa kye walaga Dawudi omuddu wo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]