Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Solomon completed all the work for the house of our Father. He then brought in his father David's dedicated things—silver, gold, all the vessels—and put them in the storerooms of the house of our Father. Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna ogwa yeekaalu ya Mukama. N’alyoka aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yawonga, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna ebyole, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Katonda.
2 Solomon then gathered Israel's elders, all tribal heads, and leaders of Israel's ancestral families in Jerusalem, to bring up the ark of the covenant of our Father from the City of David, also called Zion. Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika, n’abakulu b’ennyumba za bajjajja b’abantu ba Isirayiri bagende baleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama okuva mu Sayuuni, ekibuga kya Dawudi.
3 So all the men of Israel gathered before the king at the feast in the seventh month. Abasajja bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu.
4 When all the elders of Israel had come, the Levites took up the ark. Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, Abaleevi ne basitula essanduuko,
5 The priests and Levites brought up the ark, the tent of meeting, and all the holy vessels in it. ne bagireeta, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi be baabisitula.
6 King Solomon and all Israel's assembly who had gathered before him stood before the ark, sacrificing sheep and cattle too many to count or number. Awo kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri, abaali bakuŋŋaanye nga bamwetoolodde, nga bali mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ssaddaaka ez’endiga n’ente, ezitaabalibwa muwendo.
7 The priests brought our Father's covenant ark to its place, the house's inner sanctuary, the Most Holy Place, beneath the cherubim's wings. Awo bakabona ne baleeta essanduuko ey’endagaano ya Mukama munda mu kifo kyayo mu watukuvu wa yeekaalu, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, ne bagiteeka wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.
8 For the cherubim spread their wings over the ark's place, covering it and its poles from above. Bakerubi baayanjalanga ebiwaawaatiro byabwe okubuna ekifo eky’essanduuko, ne babikkanga essanduuko n’emisituliro gyayo.
9 The poles were long enough that their ends showed from the ark before the inner sanctuary, but not outside; they remain there to this day. Era emisituliro gyali miwanvu nnyo nga n’okulengerebwa girengerebwa okuva mu watukuvu, naye nga tegirabika ng’omuntu asinzidde ebweru; era ekyali eyo ne leero.
10 The ark held nothing but the two tablets Moses placed there at Horeb, where our Father made a covenant with the Israelites when they left Egypt. Essanduuko yalimu ebipande Musa bye yateekamu nga ali ku Kolebu, Mukama gye yakolera endagaano n’Abayisirayiri, bwe baali bavudde mu Misiri.
11 Then the priests left the holy place. (All priests present had made themselves holy, regardless of their divisions, Awo bakabona bonna ne bava mu Kifo Ekitukuvu. Bonna abaaliwo baali beetukuzizza, obutayawula mu bibiina byabwe.
12 and all the Levite singers—Asaph, Heman, Jeduthun, their sons and relatives—stood east of the altar in fine linen, playing cymbals, harps, and lyres, with 120 priests blowing trumpets.). Abaleevi bonna abaali abayimbi, ng’omwo mwe muli Asafu, Kemani, Yedusuni ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe nga bambadde bafuta ennungi, nga bakutte ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, ne bayimirira ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’ekyoto, wamu ne bakabona kikumi mu abiri abaafuuwanga amakondeere.
13 The trumpeters and singers, united, praised and thanked our Father with one voice—raising their voices with the trumpets, cymbals, and instruments, they praised him: "He is good; his covenant love endures forever." Then a cloud filled our Father's house, Awo abaafuuwanga amakondeere n’abayimbi ne beegattira wamu mu ddoboozi ery’awamu ne batendereza era ne beebaza Mukama. Ne batendereza Mukama nga bafuuwa amakondeere, nga bakuba n’ebitaasa, n’ebivuga ebirala nga bayimba nti, “Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.” Awo yeekaalu ya Mukama n’ejjula ekire.
14 so the priests couldn't stand to serve because of the cloud, for the glory of our Father filled the house of our Father. Bakabona ne batasobola kukola mulimu gwabwe ogw’obuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula yeekaalu ya Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]