Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He made a bronze altar thirty feet long, thirty feet wide, and fifteen feet high. Yazimba ekyoto eky’ekikomo, obuwanvu bwakyo mita mwenda, n’obugazi bwakyo mita mwenda, ng’obugulumivu bwakyo mita nnya n’ekitundu.
2 He made the cast-metal Sea, round: fifteen feet across, seven and a half high, forty-five around. N’akola Ennyanja ensaanuuse, nga neekulungirivu, nga ya mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ng’obugulumivu eri mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate ng’obwetooloovu eri mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
3 Below the rim, figures of oxen encircled it, about seven to every foot around the Sea, cast in two rows as one piece with it. Wansi waakyo waaliyo ebifaananyi by’ente ennume nga mumbe, nga buli emu eri kitundu kya mita obuwanvu, era nga zikyetoolodde. Ebifaananyi byasaanuusibwanga mu nnyiriri bbiri bbiri, ekidiba bwe kyasaanuusibwanga.
4 The Sea stood on twelve oxen, three facing north, three west, three south, three east, resting on them, their hindquarters all inward. Ennyanja yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n’essatu endala nga zitunuulira ebugwanjuba, n’essatu endala nga zitunuulira obukiikaddyo, n’essatu endala nga zitunuulira ebuvanjuba. Ennyanja yatuulanga ku zo waggulu, n’amagulu gaazo ag’emabega nga gatunudde munda, wakati waayo.
5 About three inches thick, its rim like a cup's, like a lily's flower, holding about 17,000 gallons. Obukwafu bwayo bwali nga luta, n’omugo gwayo ng’omugo gw’ekikopo, n’okufaanana ng’efaanana ng’ekimuli ky’amalanga. Yatekebwangamu lita emitwalo mukaaga.
6 He made ten washing basins, five south, five north, to rinse what was used for the burnt offerings; the Sea was for the priests to wash in. N’akolayo ne bensani kkumi ez’okwolezangamu, etaano n’azissa ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ettaano endala n’azissa ku luuyi olw’obukiikakkono. Omwo mwe mwanyumungulizibwanga ebintu ebyakozesebwanga mu kiseera eky’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, naye ng’Ennyanja ya bakabona okuginaabirangamu.
7 He made ten gold lampstands as specified, five for the temple's south side, five for the north. N’akola ebikondo eby’ettaala ez’omukono kkumi nga bya zaabu, ng’ekiragiro kyabyo bwe kyali, n’abiteeka mu yeekaalu, ebitaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono.
8 He made ten tables, placed them in the temple—five south, five north—and one hundred gold basins. N’akola n’emmeeza kkumi, n’aziteeka mu yeekaalu, etaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’etaano endala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola ne bbakuli ezikozesebwa okumansira kkumi nga za zaabu.
9 He made the priests' court, the great court, its doors, and plated their doors with bronze. N’akola oluggya lwa bakabona, n’oluggya olunene ddala, n’enzigi ez’oluggya, n’enzigi n’azisaaba n’ekikomo.
10 He placed the Sea on the south side, at the southeast corner. Ennyanja n’agiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba mu yeekaalu.
11 Huram made the pots, shovels, and basins. So Huram finished the work he did for King Solomon in the house of our Father: N’akola n’ensuwa, n’ebisena, ne bbakuli. Awo Kulamu n’amaliriza omulimu ogwali gumuwereddwa kabaka Sulemaani ku yeekaalu ya Katonda:
12 the two pillars; the two bowl-shaped capitals atop the pillars; the two networks covering those capitals; empagi bbiri, n’emitwe egifaanana ng’ebakuli ku mitwe gy’empagi, n’ebitimba bya mirundi ebiri nga bibeera ku mitwe egyali ku mpagi,
13 400 pomegranates for the two networks, two rows each, covering the two capital bowls on the pillars; n’amakomamawanga ebikumi bina obw’ebitimba biri ebibiri, buli kitimba nga kirina ennyiriri bbiri ez’amakomamawanga, nga zitimbye emitwe gy’empagi.
14 the stands and the basins on the stands; N’akola n’ebiyimirirwako, n’amabensani gaakwo,
15 the one Sea and the twelve oxen beneath it. n’Ennyanja n’ebifaananyi by’ente ennume emumbe,
16 Pots, shovels, meat forks, and all their utensils—Huram-abi made these for King Solomon, for our Father's house, of polished bronze. n’ensuwa, n’ebisena, n’ewuuma ez’ennyama, n’ebintu byonna ebigenderako. Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama yabizigula n’ekikomo.
17 The king had them cast in clay molds in the Jordan plain between Succoth and Zeredah. Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zereda.
18 Solomon made all these items in such quantity that the bronze weight could not be determined. Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo nnyini, n’obuzito bw’ekikomo mwe byakolebwa ne butamanyibwa.
19 Solomon made all the furnishings for our Father's house: the golden altar and tables with the bread of the Presence. Sulemaani n’akola ebintu byonna ebyole mu yeekaalu ya Katonda: ekyoto ekya zaabu, n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga,
20 The pure gold lampstands with their lamps, to burn before the inner sanctuary as prescribed; n’ebikondo eby’ettaala ez’omukono nga bya zaabu, wamu ne ttaala zaabyo, okwakiranga mu maaso g’awaayimirirwanga okwogera, ng’ekiragiro bwe kyali,
21 the gold flowers, lamps, and tongs (these were of the purest gold). n’ebimuli, ne ttaala, ne wuuma nga byonna zaabu ntuukirivu,
22 Pure gold: the wick trimmers, sprinkling bowls, dishes, censers, and the temple's doorways—inner doors to the Most Holy Place, and the main hall's doors. n’ebisalako ebisirinza, ne bensani, ne bbakuli ez’okumansira akaloosa, ne fulampeni nga bya zaabu ennongoose, n’enzigi za yeekaalu, n’enzigi ez’omunda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n’enzigi ez’ekisenge ekinene, nga byonna bya zaabu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]