Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Abijah rested with his ancestors; they buried him in the City of David. His son Asa became king, and the land had peace ten years. Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, era ku mulembe gwe ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka kkumi.
2 Asa did what was good and right in the sight of our Father. Asa n’akola ebyali ebirungi nga bituufu mu maaso ga Mukama Katonda we.
3 He removed the foreign altars and high places, smashed the sacred pillars, and cut down the Asherah poles. N’aggyawo ebyoto eby’abannamawanga n’ebifo ebigulumivu, era n’amenyaamenya empagi, n’ebifaananyi bya Asera n’abitemaatema.
4 He commanded Judah to seek our Father, the God of their ancestors, and keep the law and commandment. N’alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabe, era n’okukuuma amateeka ge n’ebiragiro bye.
5 He also removed the high places and incense altars from all Judah's cities, and the kingdom was at peace under him. Era n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto eby’obubaane mu bibuga byonna ebya Yuda, n’obwakabaka ne buba n’emirembe mu bufuzi bwe.
6 He built fortified cities in Judah, for the land was at peace. He fought no war those years, because our Father gave him rest. N’azimba ebibuga ebiriko bbugwe mu Yuda, era ne wataba n’omu eyayaŋŋanga okulwana naye, kubanga Mukama yamuwa okuwummula ku njuyi zonna.
7 He told Judah, "Let us build these cities and surround them with walls, towers, gates, and bars. The land is still ours, because we sought our Father; we sought him, and he gave us rest all around." So they built and thrived. N’agamba Yuda nti, “Tuzimbe ebibuga bino, tubiteekeko bbugwe, ne wankaaki n’emitayimbwa. Ensi ekyali yaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, n’atuwa emirembe ku buli luuyi.” Ne bazimba era ne bagaggawala.
8 Asa had an army of 300,000 from Judah with large shields and spears, and 280,000 from Benjamin with shields and bows—all mighty warriors. Asa yalina eggye nga lya basajja emitwalo amakumi asatu okuva mu Yuda, nga balina engabo ennene n’amafumu, n’abalala emitwalo amakumi abiri mu munaana abaava mu Benyamini nga balina engabo entono n’obusaale, era bonna nga basajja bazira.
9 Zerah the Cushite marched against them with a million troops and 300 chariots, advancing to Mareshah. Olunaku lumu, Zeera Omwesiyopya n’abalumba ng’alina eggye lya basajja akakadde kamu, n’amagaali ebikumi bisatu, n’atuuka n’e Malesa.
10 Asa marched out against him, and they lined up for battle in the Valley of Zephathah at Mareshah. Asa n’agenda okumutabaala, buli omu ku bo n’asimba ennyiriri ez’entalo mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11 Then Asa cried to our Father his God: "Father, only you can help the powerless against the mighty. Help us, our God, for we rely on you, and in your name we face this vast horde. You are our God; let no mere man prevail against you." Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”
12 So our Father struck down the Cushites before Asa and before Judah, and the Cushites fled. Awo Mukama n’akubira Abaesiyopiya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda, Abaesiyopiya ne badduka.
13 Asa and his people pursued them to Gerar, and the Cushites fell until none survived, for they were shattered before our Father and his army. Judah's men carried off great plunder. Asa n’eggye lye ne babagoba okutuuka e Gerali, era bangi ku Baesiyopya ne bagwa, ne wataba n’omu ku bo alama, kubanga eggye lya Mukama lyabazikiriza. Abasajja aba Yuda ne beetikka omunyago mungi.
14 They struck down all the cities around Gerar, for the terror of our Father had fallen on them. They looted all the cities, since much plunder was in them. Ne bazikiriza ebibuga byonna ebyali byetoolodde Gerali, kubanga entiisa ya Mukama yabagwira. Ne banyaga ebyalo byonna, kubanga byalimu omunyago mungi.
15 They also attacked the herdsmen's tents, carried off many sheep and camels, and returned to Jerusalem. Ne balumba n’ebibinja by’abalaalo, ne batwala ente, n’endiga, n’embuzi, n’eŋŋamira nnyingi nnyo, ne balyoka baddayo e Yerusaalemi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]