Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the eighteenth year of King Jeroboam, Abijah became king of Judah. Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu, Abiya n’afuuka kabaka wa Yuda,
2 He reigned three years in Jerusalem; his mother was Micaiah, Uriel of Gibeah's daughter. Abijah and Jeroboam went to war. era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Erinnya lya nnyina yali Mikaaya muwala wa Uliyeri ow’e Gibea. Ne waba olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.
3 Abijah joined battle with an army of 400,000 chosen warriors, mighty in war; Jeroboam lined up against him with 800,000 chosen, mighty warriors. Abiya n’agenda mu lutalo ng’alina eggye lya basajja emitwalo amakumi ana, ate Yerobowaamu ng’alina abasajja emitwalo kinaana.
4 Abijah stood on Mount Zemaraim in Ephraim's hill country and said, "Hear me, Jeroboam and all Israel! Awo Abiya n’ayimirira ku Lusozi Zemalayimu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, n’ayogera nti, “Yerobowaamu ne Isirayiri yenna, mumpulirize!
5 Don't you know our Father, the God of Israel, gave David and his sons Israel's throne forever, by a covenant of salt? Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isirayiri, yagabula obwakabaka bwa Isirayiri eri Dawudi ne zadde lye emirembe gyonna olw’endagaano ey’omunnyo?
6 But Jeroboam son of Nebat—a servant of Solomon son of David—rose and rebelled against his master. Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n’amugolokokerako n’amujeemera.
7 Worthless men gathered around him, defying Solomon's son Rehoboam, young and timid, unable to resist them. Era waaliwo abasajja abalalulalu abamu abeegatta ku Yerobowaamu ne bajeemera Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani bwe yali omuto, nga talina kyayinza kusalawo, nga n’amaanyi ag’okubaziyiza tagalina.
8 Now you think you can resist our Father's kingdom in David's sons' hands, since you're a huge crowd with the golden calves Jeroboam made as your gods. “Kaakano mulowooza nti muyinza okwaŋŋanga obwakabaka bwa Mukama obuli mu mikono gy’abazzukulu ba Dawudi, kubanga muli ekibiina kinene, abalina n’ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe abalala?
9 Haven't you driven out our Father's priests, Aaron's sons and the Levites, and made your own priests like other nations? Anyone who comes with a young bull and seven rams can become a priest of things that aren't gods. Mwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni, n’Abaleevi, ne mussaawo bakabona abammwe ng’amawanga ag’omu nsi endala bwe gakola. Buli aleeta ente ennume ento n’endiga ennume musanvu ayinza okwewaayo okufuuka kabona wa bakatonda abalala.
10 But our Father is ours, and we haven't abandoned him. The priests serving him are Aaron's sons, and the Levites are at their work. “Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, era tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni, era bayambibwako Abaleevi.
11 Every morning and evening they burn to our Father burnt offerings and fragrant incense; they set rows of bread on the pure gold table and tend the gold lampstand, lit every evening. We keep our Father's charge, but you have abandoned him. Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako.
12 Look, our Father is with us at our head, and his priests have trumpets to sound alarm against you. Israelites, do not fight our Father, the God of your ancestors, for you will not prevail." Laba, Katonda ali naffe, era ye mukulembeze waffe, era ne bakabona be banaafuuwa amakondeere mu maloboozi ag’olutalo, okuggulawo okulwana nammwe. Abasajja Abayisirayiri temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, temujja kuwangula.”
13 Jeroboam had sent an ambush around, to come from behind them; his forces faced Judah, the ambush behind them. Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abaserikale be okutaayiza emabega ne mu maaso ga Yuda.
14 Judah turned, saw battle facing them front and back, cried to our Father; the priests blew the trumpets. Laba Yuda bwe baakyuka ne balaba nga balumbiddwa okuva mu maaso n’emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakondeere.
15 Judah's men shouted the war cry, and as they shouted, our Father struck Jeroboam and all Israel before Abijah and Judah. Awo abasajja ba Yuda olwa wowogganira waggulu n’eddoboozi ery’olutalo, Katonda n’awangula Yerobowaamu ne Isirayiri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16 The people of Israel fled before Judah, and our Father handed them over to Judah. Abayisirayiri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Mukama n’abawaayo mu mukono gwa Yuda.
17 Abijah and his army struck them a heavy blow; 500,000 chosen men of Israel fell dead. Abiya n’abasajja be ne batta bangi nnyo ku Bayisirayiri, ne waba emitwalo amakumi ataano ku abo abaafa.
18 So Israel was humbled then, and Judah prevailed because they relied on our Father, God of their ancestors. Mu kiseera ekyo abasajja Abayisirayiri ne bawangulwa; abasajja ba Yuda ne baba bawanguzi kubanga beesiga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
19 Abijah chased Jeroboam, capturing cities from him—Bethel and its villages, Jeshanah and its villages, Ephron and its villages. Abiya n’agoba Yerobowaamu, n’amutwalako Beseri, ne Yesana, ne Efulooni wamu n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo.
20 Jeroboam never regained his strength during Abijah's lifetime, and our Father struck him down, and he died. Yerobowaamu n’ataddamu nate kuba na buyinza mu mirembe gya Abiya, Mukama n’alwaza Yerobowaamu n’afa.
21 But Abijah grew strong. He married fourteen wives and had twenty-two sons and sixteen daughters. Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga.
22 The rest of Abijah's acts, his ways and sayings, are written in the prophet Iddo's commentary. Ebyafaayo ebirala ebyomumirembe gya Abiya, ne bye yakola ne bye yayogera, byawandiikibwa mu ngero za nnabbi Iddo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]