Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Rehoboam's reign was secure and strong, he abandoned our Father's law, and all Israel with him. Awo Lekobowaamu bwe yanywera ku bwakabaka, n’aba mugumu, ye ne Isirayiri yonna ne bava ku mateeka ga Mukama.
2 In Rehoboam's fifth year, because they were unfaithful to our Father, Shishak king of Egypt attacked Jerusalem. Mu mwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa kabaka Lekobowaamu, Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi kubanga tebaali beesigwa eri Mukama.
3 He came with 1,200 chariots, 60,000 horsemen, and countless troops from Egypt: Libyans, Sukkites, and Cushites. N’ajja n’amagaali lukumi mu bibiri, n’abeebagala embalaasi emitwalo mukaaga, ate n’abaserikale ab’ebigere bangi nnyo: Abalubimu, n’Abasukkiyimu, n’Abaesiyopiya okuva e Misiri.
4 He captured the fortified cities of Judah and came as far as Jerusalem. N’awamba ebibuga ebiriko bbugwe ebya Yuda n’atuuka n’e Yerusaalemi.
5 Shemaiah the prophet came to Rehoboam and Judah's leaders, gathered in Jerusalem because of Shishak: "So says our Father: You abandoned me, so I abandon you to Shishak." Awo Semaaya nnabbi n’agenda eri Lekobowaamu n’eri abakulembeze ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi olw’okutya Sisaki, n’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwanvaako, nange kyenvudde mbawaayo mu mukono gwa Sisaki.’ ”
6 Then the leaders of Israel and the king humbled themselves and said, "Our Father is righteous." Awo abakulembeze ba Isirayiri, nga bali wamu ne kabaka ne beetoowaza ne boogera nti, “Mukama asala bulungi emisango.”
7 When our Father saw they had humbled themselves, our Father's word came to Shemaiah: "They've humbled themselves; I won't destroy them, but grant them a little rescue, and my anger won't pour out on Jerusalem through Shishak. Awo Mukama bwe yalaba okwetoowaza kwabwe, ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya nti, “Beetoowazizza noolwekyo siribazikiriza. Ndibalokola, era n’obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi nga buyita mu mukono gwa Sisaki.
8 But they will be Shishak's servants, to know my service and the service of earthly kingdoms." Wabula baliba baddu be, balyoke bategeere enjawulo eriwo wakati w’okumpeereza n’okuweereza bakabaka baamawanga amalala.”
9 Shishak king of Egypt attacked Jerusalem and took everything—the treasures of our Father's house, the royal palace, including the gold shields Solomon made. Awo Sisaki kabaka w’e Misiri n’alumba Yerusaalemi n’atwala obugagga obw’omu yeekaalu ya Mukama, n’obugagga obw’omu lubiri lwa kabaka, n’atwala buli kintu kyonna, era n’atwala n’engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
10 Rehoboam replaced them with bronze shields, entrusted to the guard commanders watching the entrance to the king's house. Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ekikomo okudda mu kifo kyaziri eza zaabu, n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki ow’olubiri lwa kabaka.
11 Whenever the king entered our Father's house, the guards carried the shields, then returned them to the guard chamber. Buli kabaka bwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abakuumi baazeetikkanga nga bamuwerekera, n’oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abakuumi.
12 When Rehoboam humbled himself, our Father's anger turned from him, not destroying him completely; good things remained in Judah too. Lekobowaamu bwe yeetoowaza, Mukama n’alekeraawo okumusunguwalira n’atasaanyizibwawo ddala, ne mu Yuda ne mubaamu emirembe.
13 King Rehoboam strengthened himself in Jerusalem and reigned; forty-one when he became king, he reigned seventeen years in Jerusalem, the city our Father chose from all the tribes of Israel to place his name there. His mother was Naamah, an Ammonite. Kabaka Lekobowaamu ne yeenyweza mu Yerusaalemi, n’afuga nga ye kabaka. Yalina emyaka amakumi ana mu gumu we yafuukira kabaka, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri n’ateekamu Erinnya lye. Nnyina erinnya lye ye yali Naama Omwamoni.
14 He did evil, because he did not set his heart to seek our Father. Lekobowaamu n’akola ebibi, n’atamalirira kunoonya Mukama mu mutima gwe.
15 Rehoboam's deeds, first to last, appear in the records of Shemaiah the prophet and Iddo the seer, listing genealogies. Rehoboam and Jeroboam warred continually. Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Lekobowaamu okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya Semaaya nnabbi n’ebya Iddo omulabi? Ne wabangawo entalo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
16 Rehoboam rested with his ancestors, buried in the City of David; his son Abijah reigned instead. Awo Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, Abiya mutabani we n’amusikira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]