Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Rehoboam came to Jerusalem and assembled the house of Judah and Benjamin—180,000 chosen warriors—to fight against Israel and restore the kingdom to Rehoboam. Awo Lekobowaamu bwe yatuuka mu Yerusaalemi, n’akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini, bonna nga bawera abasajja abalwanyi emitwalo kkumi na munaana, bagende balwanyise Isirayiri, obwakabaka babuddize Lekobowaamu.
2 But the word of our Father came to Shemaiah, the man of our Father, saying: Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nti,
3 "Say to Rehoboam son of Solomon, king of Judah, and to all Israel in Judah and Benjamin: “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda, n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne Benyamini nti,
4 This is what our Father says: Don't go up or fight against your brothers. Go home, each of you—this came from me." So they obeyed the words of our Father and turned back from advancing against Jeroboam. Bw’ati bw’ayogera Mukama, ‘Temulumba baganda bammwe. Buli omu ku mmwe addeyo ewuwe, kubanga kino kivudde gye ndi.’ ” Awo ne bagondera ekigambo kya Mukama, ne baddayo, ne batagenda kulumba Yerobowaamu.
5 Rehoboam lived in Jerusalem and built up cities for defense in Judah. Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba ebibuga eby’okwerinda mu Yuda:
6 He built Bethlehem, Etam, and Tekoa, n’azimba Besirekemu, ne Etamu, ne Tekowa,
7 Beth-zur, Soco, Adullam, ne Besuzuli, ne Soko, ne Adulamu,
8 Gath, Mareshah, Ziph, ne Gaasi, ne Malesa, ne Zifu,
9 Adoraim, Lachish, Azekah, ne Adorayimu, ne Lakisi, ne Azeka,
10 Zorah, Aijalon, and Hebron, the fortified cities in Judah and Benjamin. ne Zola, ne Ayalooni, ne Kebbulooni nga bye bibuga ebiriko bbugwe ebyali mu Yuda ne Benyamini.
11 He strengthened the fortresses and put commanders in them, along with stores of food, oil, and wine. N’anyweza bbugwe waabyo, n’ateekayo abaduumizi, n’emmere ey’okwerinzisa n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini.
12 In every city he placed shields and spears, strengthening them greatly. So Judah and Benjamin remained his. N’ateekayo engabo n’amafumu mu bibuga byonna, n’abinywereza ddala, Yuda ne Benyamini ne biba bibye.
13 The priests and the Levites who were throughout all Israel came to him from all their territory, Bakabona n’Abaleevi okuva mu Isirayiri yonna ne bakkiriziganya naye.
14 for the Levites left their pasturelands and property, going to Judah and Jerusalem, since Jeroboam and his sons turned them away from serving as priests of our Father. Abaleevi ne bava mu butaka bwabwe ne baleka n’eby’obugagga bwabwe ne bajja mu Yuda ne Yerusaalemi, kubanga Yerobowaamu ne batabani be babagobaganya era ne babagaana okuweereza Mukama mu bwakabaka bwabwe,
15 He appointed his own priests for the high places, for the goat idols, and for the calf idols he had made. nga balonda bakabona abaabwe okuweerezanga ku bifo ebigulumivu, ne bakatonda baabwe ab’ebifaananyi eby’embuzi n’ente, bye yali abumbye.
16 From every tribe of Israel, those who set their heart on seeking our Father, the God of Israel, followed the Levites to Jerusalem to sacrifice to our Father, the God of their ancestors. N’abo bonna abaali beewaddeyo mu mitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isirayiri ne bagenda n’Abaleevi e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17 They strengthened Judah's kingdom, supporting Rehoboam son of Solomon three years, for they walked in the way of David and Solomon three years. Ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, era ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, nga batambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18 Rehoboam married Mahalath, the daughter of Jerimoth son of David and of Abihail the daughter of Eliab son of Jesse. Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, ne Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese,
19 She bore him sons: Jeush, Shemariah, and Zaham. Makalasi n’azaalira Lekobowaamu abaana aboobulenzi: Yewusi, ne Semaliya ne Zakamu.
20 After her, he married Maacah the daughter of Absalom, who bore him Abijah, Attai, Ziza, and Shelomith. Oluvannyuma Lekobowaamu n’awasa Maaka muwala wa Abusaalomu, n’amuzaalira Abiya, ne Attayi, ne Ziza ne Seromisi.
21 Rehoboam loved Maacah daughter of Absalom more than his other wives and concubines, since he had eighteen wives, sixty concubines, twenty-eight sons, and sixty daughters. Lekobowaamu n’ayagala nnyo Maaka muwala wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala. Bonna awamu n’awasa abakazi kkumi na munaana n’afunayo n’abalala nkaaga, abaamuzaalira abaana aboobulenzi amakumi abiri mu munaana n’abaana aboobuwala nkaaga.
22 Rehoboam made Abijah, son of Maacah, chief leader among his brothers, intending to make him king. Lekobowaamu n’alonda Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu wa baganda be, ng’agenderera okumufuula kabaka.
23 He acted wisely, spreading some of his sons through every district of Judah and Benjamin, to each fortified city, giving them abundant provisions and seeking many wives for them. N’akola eky’amagezi, n’asaasaanya batabani be abamu mu masaza ag’enjawulo aga Yuda ne Benyamini, ne mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe, n’abawa eby’obugagga bingi, n’abafunira n’abakazi bangi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]