Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Rehoboam went to Shechem, for all Israel had come to Shechem to make him king. Lekobowaamu n’agenda e Sekemu, Abayisirayiri bonna gye baali bagenze okumufuula kabaka.
2 When Jeroboam son of Nebat heard of it—he was in Egypt, having fled from King Solomon—Jeroboam returned from Egypt. Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde mu buwaŋŋanguse, nga yeewala kabaka Sulemaani, n’akomawo.
3 So they sent for him, and Jeroboam and all Israel came and said to Rehoboam, Awo ne bamutumira, Yerobowaamu ne Isirayiri yenna ne bagenda eri Lekobowaamu ne bamugamba nti,
4 "Your father made our yoke heavy. Now lighten your father's hard service and the heavy yoke he put on us, and we will serve you." “Kitaawo yatuteekako ekikoligo ekinene, naye kaakano tukendeereze ku lyanyi n’ekikoligo kye yatuteekako, naffe tunaakuweereza.”
5 He said to them, "Come back to me in three days." So the people went away. N’abaddamu nti, “Mulikomawo gye ndi mu nnaku ssatu.” Abantu ne bagenda.
6 Then King Rehoboam consulted the elders who had served his father Solomon during his lifetime: "How do you advise me to answer these people?" Awo kabaka Lekobowaamu ne yeebuuza ku bakadde abaaweerezanga kitaawe Sulemaani ng’akyali mulamu. N’ababuuza nti, “Mumpa kya kuddamu ki eri abantu bano?”
7 They replied, "If you are good to these people, please them, and speak kindly, they will always be your servants." Ne bamugamba nti, “Bw’onooba ow’ekisa eri abantu bano, n’obasanyusa, n’obaddamu bulungi, banaabeeranga baddu bo ennaku zonna.”
8 But he rejected the elders' advice and consulted the young men who grew up with him and served him. Naye Lekobowaamu n’aggaya amagezi abakadde ge baali bamuwadde, n’agenda ne yeebuuza ku bavubuka be yali akuze nabo, ate nga be bamuweereza mu kiseera ekyo.
9 He asked them, "What do you advise? How should we answer these people asking me to lighten the yoke my father put on us?" N’ababuuza nti, “Mumpa magezi ki okuddamu abantu bano abaŋŋambye nti, ‘Tukendeereze ku kikoligo kitaawo kye yatuteekako?’ ”
10 The young men who grew up with him replied, "Tell the people who told you, 'Your father made our yoke heavy; lighten it for us'—tell them: 'My little finger is thicker than my father's waist.' Abavubuka be yali akuze nabo ne bamuddamu nti, “Gamba abantu abakugambye nti, ‘Ekikoligo kitaawo kye yatuteekako kyali kizito, naye kaakano kitukendeerezeko,’ nti, ‘Nasswi wange asinga ekiwato kya kitange obunene. Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kwongera ku kikoligo kyammwe obuzito.
11 My father put a heavy yoke on you; I'll add to it. My father disciplined you with whips; I will discipline you with scorpions.'" Kitange yabakangavvulanga na nkoba naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.’ ”
12 So Jeroboam and all the people came to Rehoboam on the third day, as the king had said, "Come back to me on the third day." Bwe waayitawo ennaku essatu Yerobowaamu n’abantu bonna ne bagenda eri Lekobowaamu, nga kabaka bwe yali ayogedde nti, “Mukomeewo oluvannyuma lw’ennaku ssatu.”
13 The king answered them harshly. King Rehoboam rejected the advice of the elders, Kabaka n’addamu n’ebboggo. N’agaana okuwuliriza amagezi g’abakadde,
14 and spoke to them as the young men advised: "My father made your yoke heavy; I will make it heavier. My father disciplined you with whips; I will discipline you with scorpions." n’agoberera amagezi ag’abavubuka, n’ayogera nti, “Kitange yababinika ekikoligo ekizito, naye nze nzija kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.”
15 So the king did not listen to the people, for this turn came from our Father, to fulfill the word our Father spoke through Ahijah the Shilonite to Jeroboam son of Nebat. Kabaka n’atawuliriza bantu kubanga bw’atyo Katonda bwe yasiima, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogera ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati ng’ayita mu Akiya Omusiiro.
16 When all Israel saw the king would not listen to them, the people answered him: "What share do we have in David? No inheritance in Jesse's son! To your tents, Israel! Look to your own house, David!" So all Israel went home to their tents. Awo Isirayiri yenna bwe baalaba nga kabaka agaanye okubawuliriza, ne bamuddamu nti, “Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi, era busika ki bwe tulina mu mutabani wa Yese? Buli omu ku mmwe, addeyo mu weema ye, ayi Isirayiri! Mmwe ennyumba ye Dawudi mwerabirire.” Awo Abayisirayiri bonna ne baddayo ewaabwe.
17 But Rehoboam still reigned over the Israelites who lived in the cities of Judah. Naye abo abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, Lekobowaamu n’asigala ng’abafuga.
18 Then King Rehoboam sent Hadoram, in charge of the forced labor, but the Israelites stoned him to death. King Rehoboam himself jumped into his chariot and fled to Jerusalem. Kabaka Lekobowaamu n’atuma Kadolaamu eyavunaanyizibwanga emirimu egy’ekipakasi, naye Abayisirayiri ne bamukuba amayinja ne bamutta. Kabaka Lekobowaamu ye n’ayanguwa okulinnya eggaali lye n’addukira e Yerusaalemi.
19 So Israel has been in rebellion against the house of David to this day. Awo Isirayiri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]