Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The Spirit of our Father came upon Azariah son of Oded. Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Azaliya mutabani wa Obedi,
2 He went out to meet Asa and said to him, "Hear me, Asa and all Judah and Benjamin: our Father is with you while you're with him. If you seek him, you will find him; if you abandon him, he will abandon you. n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, “Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.
3 For a long time Israel was without our Father, without a teaching priest, and without law. Isirayiri yamala ebbanga ddene nga tegondera Katonda ow’amazima, nga tebalina kabona abayigiriza, wadde okuba n’amateeka.
4 In their distress they turned to our Father, the God of Israel, sought him, and they found him. Naye wakati mu nnaku yaabwe ne bakyukira Mukama Katonda wa Isirayiri, ne bamunoonya, era ne bamulaba.
5 In those times no one going out or coming in was safe, for great turmoil struck all living in the lands. Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo.
6 Nation crushed nation and city crushed city, for our Father troubled them with every kind of distress. Amawanga n’amawanga gaalwanagananga, n’ebibuga ne birumbagananga kubanga Katonda yabaleetako ebizibu bingi nnyo.
7 But you, be strong; do not lose heart, for your work will be rewarded." Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera.”
8 When Asa heard these words, the prophecy of Oded the prophet, he took courage and removed the detestable idols from all the land of Judah and Benjamin, and from the cities he had captured in the Ephraim hill country. He restored the altar of our Father in front of his temple entrance. Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, n’aguma omwoyo, n’aggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, n’okuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi ekya yeekaalu ya Mukama.
9 He gathered all Judah and Benjamin, plus those from Ephraim, Manasseh, and Simeon living among them, since many in Israel had crossed over to him when they saw our Father was with him. N’akuŋŋaanya aba Yuda n’aba Benyamini bonna, n’abantu b’e Efulayimu, n’e Manase, n’e Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye.
10 They assembled at Jerusalem in the third month of the fifteenth year of Asa's reign. Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Asa.
11 That day they sacrificed to our Father from the plunder—700 oxen and 7,000 sheep. Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku by’omunyago: ente lusanvu, n’endiga n’embuzi zonna kasanvu.
12 They covenanted to seek our Father, God of their ancestors, with all their heart and with all their soul. Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna.
13 Whoever would not seek our Father, the God of Israel, was to be put to death, whether small or great, whether man or woman. Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja.
14 They swore to our Father with a loud voice, with shouting, and with trumpets and horns. Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery’omwanguka, wamu n’okufuuwa amakondeere n’eŋŋombe.
15 All Judah rejoiced over the oath, for they swore with their whole heart, sought him with their whole desire, and found him. And our Father gave them rest on every side. Yuda yonna ne basanyukira ekirayiro ekyo, kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna, era nga bamunoonyezza n’okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba. Era Mukama n’abawa emirembe enjuuyi zonna.
16 King Asa also removed his mother Maacah from being queen mother, because she had made a detestable image for Asherah; he cut it down, ground it to dust, and burned it in the Kidron Valley. Kabaka Asa n’agoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa n’akitemaatema n’akimenyaamenya, n’akyokera mu kagga Kidulooni.
17 Though the high places were not removed from Israel, Asa's heart remained wholly devoted throughout his life. Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna.
18 He brought into our Father's house his father's dedicated gifts and his own dedicated gifts—silver, gold, and utensils. Mu yeekaalu ya Mukama n’aleetamu effeeza ne zaabu, n’ebintu ye ne kitaawe bye baawonga.
19 And there was no war until the thirty-fifth year of Asa's reign. Ne wataba ntalo nate okumala emyaka amakumi asatu mu etaano egy’obufuzi bwa Asa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]