Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Solomon son of David strengthened his hold on his kingdom; our Father was with him, making him very great. Sulemaani mutabani wa Dawudi n’atebenkera ku bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali wamu naye, era n’amugulumiza nnyo.
2 Solomon spoke to all Israel—the commanders of thousands and hundreds, the judges, and every leader in Israel, the family heads. Awo Sulemaani n’ayita Isirayiri yonna, n’atumya abaduumizi b’enkumi n’ab’ebikumi, n’abalamuzi, n’abakadde bonna mu Isirayiri yonna, n’abakulembeze b’ennyumba za bajjajjaabwe.
3 Solomon and the whole assembly went to the high place at Gibeon, where our Father's tent of meeting stood, which Moses, our Father's servant, made in the wilderness. Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu.
4 But David had brought the ark of our Father up from Kiriath-jearim to the place he prepared for it, pitching a tent for it in Jerusalem. Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema.
5 The bronze altar Bezalel son of Uri, son of Hur, made was there before the tabernacle of our Father; so Solomon and the assembly sought our Father there. Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama.
6 Solomon went up to the bronze altar before our Father at the tent of meeting and offered 1,000 burnt offerings on it. Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7 That night our Father appeared to Solomon and said to him, "Ask what I should give you." Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti, “Saba kyonna ky’oyagala nkuwe.”
8 Solomon said to our Father, "You showed great covenant love to David my father, and made me king in his place. Sulemaani n’addamu Katonda nti, “Olazze kitange Dawudi ekisa n’okwagala kungi nnyo, n’onfuula omusika we.
9 Now, my Father, confirm your promise to my father David, for you made me king over a people as many as the earth's dust. Kaakano, Mukama Katonda, kye wasuubiza kitange Dawudi, nsaba kituukirizibwe, kubanga onfudde kabaka ow’eggwanga eryenkana ng’enfuufu ku nsi mu bungi bwayo.
10 Give me wisdom and knowledge now to lead this people, for who can govern this great people of yours?" Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?”
11 Our Father said to Solomon, "Because this was in your heart—you asked not for riches, wealth, or honor, nor your enemies' lives, nor long life, but for wisdom and knowledge to govern my people, over whom I made you king, Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe,
12 wisdom and knowledge are given you. I will also give you riches, wealth, and honor no king before you had, and none after you will." amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.”
13 So Solomon went from Gibeon's high place, from before the tent of meeting, to Jerusalem, and reigned over Israel. Awo Sulemaani n’ava mu maaso g’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu e Gibyoni n’addayo e Yerusaalemi. N’afuga Isirayiri.
14 Solomon gathered chariots and horsemen; he had 1,400 chariots and 12,000 horsemen, which he stationed in the chariot cities and with the king in Jerusalem. Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
15 In Jerusalem the king made silver and gold like stones, and cedar as plentiful as foothill sycamore-figs. Kabaka n’afuula effeeza ne zaabu okuba ebyabulijjo mu Yerusaalemi, nga bingi ng’amayinja; era n’afuula n’emivule okuba emingi ng’emisukamooli mu nsenyi.
16 Solomon's horses came from Egypt and Kue; the king's traders bought them from Kue at market price. Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo.
17 They imported a chariot from Egypt for about fifteen pounds of silver, a horse for about four; through them they exported these to all the kings of the Hittites and Aram. Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]