Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Chronicles 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Solomon resolved to build a house for our Father's name, and a royal palace for himself. Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka.
2 Solomon assigned 70,000 carriers, 80,000 stonecutters in the mountains, and 3,600 overseers over them. N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.
3 Solomon sent to Huram king of Tyre: "Deal with me as you did with my father David, sending him cedar to build his house to live in. Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu.
4 I am building a house for the name of my Father, to dedicate it to him—to burn fragrant incense before him, set out the bread of the Presence continually, offer burnt offerings morning and evening, on sabbaths, new moons, and appointed feasts of our Father. Israel must do this forever. Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.
5 The house I am building will be great, for our Father is greater than all gods. “Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.
6 But who can build him a house, when heaven and the highest heavens cannot contain him? And who am I to build him one, except to burn sacrifices before him? Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?
7 Now send me a craftsman skilled in gold, silver, bronze, iron, purple, crimson, and blue yarn, and in engraving, to work with my skilled workers in Judah and Jerusalem, whom my father David provided. “Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8 Send me also cedar, cypress, and red sandalwood from Lebanon, for I know your servants skillfully cut Lebanon's timber; my servants will join yours. “Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo
9 Prepare plenty of timber for me, for the house I am building will be great and wonderful. okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa.
10 For your servants who cut the timber I will give about 125,000 bushels of crushed wheat, 125,000 of barley, 115,000 gallons of wine, and 115,000 of oil." Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”
11 Huram king of Tyre wrote Solomon: "Because the LORD loves his people, he made you their king." Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”
12 Huram said: "Blessed be the LORD, God of Israel, maker of heaven and earth! He gave King David a wise son with insight and understanding, to build a house for the LORD and a royal palace for himself. N’ayongerako na kino nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.
13 Now I am sending you a skilled craftsman, gifted with understanding, Huram-abi, “Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi,
14 son of a woman of Dan's daughters, his father a man of Tyre—skilled in gold, silver, bronze, iron, stone, wood, purple, blue, and crimson yarn, and fine linen. He can do any engraving and carry out any design assigned to him, working with your craftsmen and those of my lord David, your father. ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.
15 So let my lord send his servants the wheat, barley, oil, and wine he promised, “Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza,
16 and we'll cut all the timber you need from Lebanon, float it to you as rafts by sea to Joppa, and you can haul it up to Jerusalem." tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”
17 Solomon counted all the foreigners residing in the land of Israel, as his father David had; they numbered 153,600. Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.
18 He assigned 70,000 as carriers, 80,000 as stonecutters in the mountains, and 3,600 as overseers to keep the people working. N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]