Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Nahum 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Woe to the city of bloodshed, all full of lies and plunder—the prey never departs! Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi! Kyonna ekijjudde eby’obulimba n’obunyazi, ekitaggwaamu banyagiddwa.
2 The crack of the whip, the rumble of wheels, galloping horses, and bounding chariots! Muwulire okuvuga kw’embooko, n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
3 Charging horsemen, flashing swords, glittering spears—a multitude of slain, a heap of corpses, bodies without end; they stumble over the dead. Laba eggye ery’embalaasi erirumba, n’ebitala ebitemagana, n’amafumu agamyansa. Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu, ne ntuumu ennene ez’emirambo egitamanyiddwa muwendo; abantu bagirinnyirira.
4 All because of the rampant prostitution of this seductive prostitute, the mistress of sorceries, who sells nations through her prostitution and peoples through her sorceries. Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu, kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu, ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo, n’olw’obulogo bwakyo.
5 "Look, I am against you,' declares the Father of heaven's armies, 'and I will lift your skirts over your face; I will show the nations your nakedness and the kingdoms your shame. “Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo. Ensi zonna ziriraba obwereere bwo n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
6 I will pelt you with filth, treat you with contempt, and make you a spectacle.' Ndikukanyugira kazambi, era ndikufuula ekyenyinyalwa ne nkufuula eky’okwelolera.
7 And all who see you will flee from you and say, 'Nineveh is laid waste; who will grieve for her?' Where can I find comforters for you?'" Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti, ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’ Abalikikubagiza baliva wa?”
8 Are you better than Thebes, that sat by the Nile with water all around her, whose rampart was the sea, whose wall was the waters? Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna? Olukomera lwakyo gwali mugga era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9 Cush was her strength, and Egypt without limit; Put and the Libyans were among her allies. Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga. Ate nga Abapuuti n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 Yet she became an exile; she went into captivity. Her infants were dashed to pieces at every street corner. They cast lots for her honored men, and all her great men were bound in chains. Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo. Abakungu baakyo baakubirwa obululu, n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11 You too will be drunk; you will go into hiding; you too will seek refuge from the enemy. Nineeve naawe olitamiira, olyekweka ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.
12 All your fortresses are like fig trees with the first-ripe figs—when shaken, they fall into the mouth of the eater. Ebigo byo byonna biri ng’emitiini egiriko ebibala ebisooka okwengera; bwe ginyeenyezebwa ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13 Look, your troops are women in your midst. The gates of your land are flung wide open to your enemies; fire has devoured your bars. Laba abalwanyi bammwe balinafuwa ne batiitiira ng’abakazi. Enzigi z’ensi yo nzigule eri abalabe bo. Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
14 Draw water for the siege; strengthen your fortresses; go into the clay and tread the mortar; take hold of the brick mold! Weenyweze bajja kukulumba! Weeterekere ku mazzi g’onoonywako. Nyweza ebisenge byo. Noonya ettaka olisambe oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15 There the fire will devour you; the sword will cut you down; it will consume you like the young locust. Multiply yourselves like the young locust; multiply like the swarming locust! Omuliro gulikulya, ekitala kirikuzikiriza. Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime. Mweyongere obungi ng’enseenene, mwale ng’enzige.
16 You multiplied your merchants more than the stars of the heavens. The young locust strips the land and flies away. Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu. Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi ne ziryoka zibuuka.
17 Your guards are like locusts, and your officials like clouds of locusts that settle on the walls on a cold day—when the sun rises, they fly off, and no one knows where they are. Abakuumi bammwe bali ng’enzige, n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti. Enjuba bw’evaayo zibuuka ne ziraga etamanyiddwa.
18 Your shepherds are asleep, king of Assyria; your nobles lie down. Your people are scattered across the mountains, with no one to gather them. Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli, n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko. Abantu bo basaasaanira ku nsozi nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19 There is no relief for your injury; your wound is fatal. All who hear the news of you clap their hands over you—for who has not felt your endless cruelty pass over them again and again? Tewali kisobola kuwonya kiwundu kyo ekinene bwe kityo. Bonna abawulira ebikuguddeko bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo. Ani ataakosebwa olw’ettima lyo eringi? Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]