Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jesus, full of the Holy Spirit, returned from the Jordan, led by the Spirit in the wilderness. Awo Yesu, ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, n’avaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo n’amutwala mu ddungu,
2 Forty days, tempted by the devil, eating nothing in those days; when they ended, he was hungry. n’akemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala n’emuluma.
3 The devil told him, "If you're the Son of God, tell this stone to become bread." Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4 And Jesus answered him, "It is written, 'Man shall not live by bread alone.'" Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”
5 Then the devil led him up and showed him all the kingdoms of the world in an instant. Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi.
6 He said to him, "I will give you all this authority and their glory, for it has been entrusted to me, and I give it to whomever I want. Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala.
7 If you, then, will worship me, it will all be yours." Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8 And Jesus answered him, "It is written, 'You will worship your Father, and serve only him.'" Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ”
9 Then he led him to Jerusalem, stood him on the temple's highest point, and said, "If you're the Son of God, throw yourself down from here, Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi.
10 for it is written, 'He will command his angels concerning you, to guard you,' Kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Katonda aliragira bamalayika be bakukuume.
11 and 'On their hands they will bear you up, so that you won't strike your foot against a stone.'" Era balikuwanirira mu mikono gyabwe, oleme okwerumya nga weekonye ekigere kyo ku jjinja.’ ”
12 And Jesus answered him, "It is said, 'You shall not put your Father to the test.'" Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13 And when the devil had ended every temptation, he departed from him until an opportune time. Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.
14 Jesus returned to Galilee in the Holy Spirit's power, and news of him spread through the whole region. Awo Yesu n’akomawo mu Ggaliraaya ng’ajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, n’ayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo.
15 And he taught in their synagogues, and everyone glorified him. N’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.
16 He came to Nazareth, where he was raised, and as usual entered the synagogue on the Sabbath, then stood to read. Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma.
17 He was handed the scroll of the prophet Isaiah, unrolled it, and found where it was written: Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
18 "The Spirit of our Father is upon me, because he has anointed me to proclaim good news to the poor. He has sent me to proclaim freedom for the captives and recovery of sight to the blind, to set free those who are oppressed, “Omwoyo wa Mukama ali ku nze. Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri. Antumye okubuulira abasibe okuteebwa, n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe, n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,
19 to proclaim the year of our Father's favor." n’okulangirira ekiseera kya Mukama eky’okulagiramu ekisa kye.”
20 He rolled up the scroll, gave it back to the attendant, and sat down. Every eye in the synagogue was fixed on him. N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso.
21 And he began to say to them, "Today this Scripture has been fulfilled in your hearing." N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 All spoke well of him, amazed at the gracious words from his mouth, and said, "Isn't this Joseph's son?" Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 He said to them, "Surely you'll quote this proverb to me: 'Doctor, heal yourself.' Do here in your hometown, too, what we heard happened in Capernaum." Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
24 And he said, "Truly, I say to you, no prophet is acceptable in his hometown. Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe!
25 But truly I tell you, many widows lived in Israel in Elijah's days, when the sky was shut three years and six months and a great famine struck the whole land, Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna.
26 and Elijah was sent to none of them but only to a widow in Zarephath of Sidon. Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni.
27 Many had leprosy in Israel in the days of the prophet Elisha, yet none was made clean except Naaman the Syrian." Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 When they heard these things, everyone in the synagogue was furious. Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo,
29 They got up, drove him out of town, and took him to the edge of the hill their town was built on, to throw him off the cliff. ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi.
30 But he walked through the crowd and went away. Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
31 He went down to Capernaum, a town in Galilee, and taught them on the Sabbath, Awo Yesu n’alaga e Kaperunawumu, ekibuga eky’e Ggaliraaya n’abayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti.
32 and they were astonished at his teaching, for his word possessed authority. Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.
33 In the synagogue was a man with the spirit of an unclean demon; he cried out in a loud voice, Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti,
34 Ha! What do you want with us, Jesus of Nazareth? Have you come to destroy us? I know who you are—God's Holy One. “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
35 Jesus rebuked him: "Be silent and come out of him!" The demon threw him down before them all, came out, and did him no harm. Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.
36 All were amazed and asked each other, "What word is this? With authority and power he orders unclean spirits, and they leave!" Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”
37 And reports about him went out into every place in the surrounding region. Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.
38 And he arose and left the synagogue and entered Simon's house. Now Simon's mother-in-law was ill with a high fever, and they asked him to help her. Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, n’alaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe.
39 He stood over her and rebuked the fever; it left her, and she rose at once and began serving them. Yesu n’ayimirira okumpi n’omulwadde we yali, n’alagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde n’awona, n’asituka n’abaweereza!
40 As the sun set, all who had someone sick with various diseases brought them to him; laying his hands on each one, he healed them. Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya.
41 Demons also came out of many, shouting, "You are the Son of God!" He silenced them, forbidding them to speak, since they knew he was the Christ. Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.
42 At daybreak he went out to a remote place. Crowds looked for him, came to him, and tried to keep him from leaving them. Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako.
43 But he told them, "I must announce the good news of our Father's kingdom to the other towns too—this is why I was sent." Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.”
44 And he was preaching in the synagogues of Judea. Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]