Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 "If anyone sins, unfaithful to your Father, by deceiving his neighbor about a deposit, a pledge, or stolen goods, or by cheating him, “Omuntu bw’anaayonoonanga n’amenya obwesigwa eri Mukama olw’okulimbalimba munne ku kye yamuteresa, oba kye yamukwasa, oba omuntu oyo kye yabba; oba bw’anabbiranga munne,
3 or if he finds lost property and lies about it, swearing falsely—any such act by which a person sins. oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona,
4 When he sins and is guilty, he must return what he stole, or extorted, or the deposit entrusted to him, or the lost item he found, bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula,
5 or whatever he swore falsely about, he must repay it in full, add a fifth to it, and give it to its owner on the day he admits his guilt. oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango.
6 He must bring his guilt offering to your Father: a ram without defect from the flock, at your valuation, as a guilt offering, to the priest. Era anaaleeteranga kabona ekiweebwayo eri Mukama olw’omusango, nga kya ndiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ogibaliriddemu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango.
7 The priest will atone for him before your Father, and he'll be forgiven for whatever he did that made him guilty." Awo kabona anaatangiririranga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, era anaasonyiyibwanga mu bintu ebyo byonna by’anaabanga akoze n’azza omusango.”
8 Then our Father spoke to Moses: Mukama n’agamba Musa nti,
9 "Command Aaron and his sons: This is the law for the burnt offering. It stays on the altar's hearth all night until morning, and the altar fire must keep burning on it. “Lagira Alooni ne batabani be nti: Lino lye tteeka ery’ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa kinaabeeranga ku kyoto ekiro kyonna okutuusa enkeera, era omuliro gw’omu kyoto gunaabanga gwaka ebbanga lyonna.
10 The priest is to wear his linen garment, with linen undergarments against his skin, then remove the ashes left after the fire consumes the burnt offering on the altar, and place them beside the altar. Awo kabona anaayambalanga ebyambalo bye ebya bafuta, ng’asooseemu eby’omunda ebya bafuta ku mubiri gwe, n’addira evvu eriri mu kyoto ery’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto, n’alissa wabbali w’ekyoto.
11 Then he removes his garments, puts on others, and carries the ashes outside the camp to a clean place. Aneeyambulangamu ebyambalo ebyo, n’ayambala ebyambalo ebirala, n’asitula evvu n’alitwala ebweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu eky’emikolo ng’egyo.
12 The altar fire must keep burning; it must not go out. Every morning the priest adds wood on it, arranges the burnt offering on it, and burns the fat of the peace offerings on it. Omuliro gunaasigalanga nga gwaka ebbanga lyonna, teguuzikirenga. Buli nkya kabona anaayongerangako enku ku kyoto; era anaatereezangako ekiweebwayo ekyokebwa ng’akitegese bulungi; era anaayokerangako amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe.
13 The fire must be kept burning on the altar continually; it must not go out. Omuliro gunaasigalanga gwaka ku kyoto ebbanga lyonna; teguuzikirenga.
14 "This is the law of the grain offering: Aaron's sons must bring it before your Father, in front of the altar. “Era lino ly’etteeka ery’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke. Batabani ba Alooni banaaleetanga ekiweebwayo ekyo awali Mukama mu maaso g’ekyoto.
15 The priest takes a handful of the grain offering's fine flour and oil, with all its frankincense, and burns this memorial portion on the altar as a pleasing aroma to your Father. Kabona anaayoolanga olubatu lw’obuwunga obulungi obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’amafuta gaako ag’omuzeeyituuni n’obubaane bwonna, ebiri ku kiweebwayo ekyo, n’akyokya ku kyoto nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
16 Aaron and his sons eat what remains; it must be eaten without yeast in a holy place, eaten in the courtyard of the tent of meeting. Batabani ba Alooni banaalyanga ekisigaddewo, naye nga tebaliiramu kizimbulukusa mu kifo ekyo ekitukuvu; banaakiriiranga mu luggya lw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
17 Do not bake it with yeast. I've given it as their share of my food offerings, like the sin and guilt offerings; it is most holy. Tekiiyokerwengamu kizimbulukusa. Nkibawadde nga kye kinaabanga omugabo gwabwe ogw’oku biweebwayo byange ebyokebwa, kye kintu ekitukuvu ennyo okufaanana ng’ekiweebwayo olw’ekibi n’ekiweebwayo olw’omusango.
18 Every male of Aaron's descendants may eat it—a lasting portion through your generations from your Father's food offerings. Whatever touches them becomes holy." Buli mwana mulenzi ava mu Alooni anaayinzanga okukiryako, ng’etteeka ery’emirembe gyonna bwe ligamba erifa ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Buli anaabikwatangako anaafuukanga mutukuvu.”
19 Our Father said to Moses: Mukama n’agamba Musa nti,
20 "This is Aaron and his sons' offering to your Father on the day he is anointed: about two quarts of fine flour as a regular grain offering, half in the morning, half in the evening. “Kino ky’ekiweebwayo Alooni ne batabani be kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lwe banaafukibwangako amafuta ag’omuzeeyituuni: ekitundu eky’ekkumi ekya liita bbiri, nga kilo emu ey’obuwunga obulungi, nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga kisalirwa wakati ekitundu ekimu, enkya, n’ekitundu ekirala, akawungeezi.
21 Prepare it with oil on a griddle, bring it well-kneaded, present the grain offering in broken pieces—a pleasing aroma to your Father. Bunaafumbibwanga n’amafuta ag’omuzeeyituuni ku fulampeni, ne butabulwa bulungi, ne buweebwayo eri Mukama nga kye kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
22 The anointed priest who succeeds him from among his sons must prepare it—a lasting decree before your Father: it must be burned completely. Kabona ow’omu baana ba Alooni anaabanga afukiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni okumusikira, y’anaakiwangayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira emirembe gyonna; ekiweebwayo kyonna kinaayokebwanga.
23 Every grain offering of a priest is to be burned completely; it must not be eaten." Buli kiweebwayo kyonna eky’emmere ey’empeke kabona ky’anaawangayo kinaayokebwanga bulambalamba; tekiiriibwenga.”
24 Again our Father spoke to Moses: Mukama n’agamba Musa nti,
25 "Tell Aaron and his sons: this is the law of the sin offering: slaughter it before your Father, where the burnt offering is slaughtered; it is most holy. “Tegeeza Alooni ne batabani be nti bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’ekibi. Ekiweebwayo olw’ekibi kinattirwanga mu maaso ga Mukama awo wennyini ebiweebwayo ebyokebwa we bittirwa; kiweebwayo kitukuvu nnyo.
26 The priest who offers it for sin must eat it; it must be eaten in a holy place, in the tent of meeting's courtyard. Kabona anaakiwangayo olw’ekibi y’anaakiryanga. Kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
27 Whatever touches its flesh becomes holy. If its blood spatters a garment, wash the spattered spot in a holy place. Buli ekinaakoonanga ku nnyama y’ekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu.
28 The clay pot it is boiled in must be broken; if boiled in a bronze pot, it must be scoured and rinsed with water. Ensaka ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka ey’ekyuma, eneekuutibwanga n’emunyunguzibwamu n’amazzi.
29 Every male among the priests may eat it; it is most holy. Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kiweebwayo kitukuvu nnyo.
30 No sin offering whose blood is brought into the tent of meeting to atone in the Holy Place may be eaten; it must be burned with fire." Naye ekiweebwayo olw’ekibi, omusaayi gwakyo nga guleeteddwako mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu olw’okwetangirira mu kifo ekyo ekitukuvu, tekiiriibwenga, kyonna kinaayokebwanga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]