Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses after the death of Aaron's two sons, who died approaching our Father. Awo Mukama n’ayogera ne Musa, abaana ba Alooni ababiri bwe baali bamaze okufa olwokubanga baasemberera Mukama.
2 Our Father told Moses: "Tell Aaron your brother not to enter the Holy Place behind the curtain, before the mercy seat on the ark, whenever he wants, or he'll die—for I appear in the cloud above the mercy seat." Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza muganda wo Alooni alemenga okujja buli w’anaayagaliranga, mu kifo Awatukuvu ekiri munda w’eggigi, okutunuulira entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano; bw’alikikola talirema kufa; kubanga nzijanga kulabikira mu kire nga kiri waggulu w’entebe ey’okusaasira.
3 "With this Aaron may enter the Holy Place: a young bull for a sin offering, a ram for a burnt offering. Naye Alooni bw’anaabanga ajja mu kifo Awatukuvu anaaleetanga ennyana ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa.
4 He must wear the holy linen tunic, linen undergarments next to his body, a linen sash tied around him, and a linen turban. These are holy garments; he is to bathe his body in water before putting them on. Anaayambalanga ekkooti entukuvu eya bafuta, ne munda ku mubiri gwe anaasookangako empale eya bafuta, nga yeesibye olukoba olwa bafuta, ne ku mutwe ng’asibyeko ekitambaala ekya bafuta. Ebyambalo ebyo bitukuvu, noolwekyo kimusaaniranga okusooka okunaaba omubiri gwe mu mazzi nga tannabyambala.
5 From Israel's community he must take two male goats for a sin offering and one ram for a burnt offering. Era anaggyanga mu baana ba Isirayiri embuzi ennume bbiri nga za kiweebwayo olw’ekibi, n’endiga emu nga ya kiweebwayo ekyokebwa.
6 Aaron will offer his own sin-offering bull, making atonement for himself and his household. “Alooni anaawangayo ennyana ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge.
7 He must take the two goats and stand them before me at the entrance to the tent of meeting. Era anaddiranga embuzi ebbiri n’azireeta eri Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
8 Aaron will cast lots over the two goats: one for me, one for Azazel. Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango.
9 Aaron is to bring the goat chosen for me by lot and offer it as a sin offering. Alooni anaddiranga embuzi akalulu ka Mukama kwe kanaagwanga, n’agiwaayo okubeera ekiweebwayo olw’okwonoona.
10 But the goat on which the lot fell for Azazel is presented alive before me, to atone over it by sending it into the wilderness to Azazel. Naye embuzi eneegwangako akalulu ak’okugissibyako omusango, eneeweebwangayo eri Mukama nga nnamu, n’eteebwa n’eddukira mu ddungu mu kifo Azazeri ng’esibiddwako omusango olw’okutangirira.
11 Aaron is to present his sin offering bull, to atone for himself and his household, then slaughter his sin offering bull. “Alooni anaawangayo ennyana eyo ennume nga ya kiweebwayo kye olw’ekibi, alyoke yeetangiririre awamu n’ab’omu maka ge; ennyana eyo ennume anaagittanga nga kye kiweebwayo kye olw’ekibi.
12 He is to take a censer full of burning coals from the altar before me, two handfuls of finely ground fragrant incense, and bring them inside the veil. Anaddiranga ekyoterezo ky’obubaane nga kijjudde amanda g’omuliro nga gavudde ku kyoto eri Mukama, n’embatu bbiri ez’obubaane obw’akaloosa obumerunguddwa obulungi, n’abireeta munda w’eggigi.
13 He must put the incense on the fire before me, so its cloud covers the mercy seat over the testimony, and he does not die. Anassanga obubaane ku muliro eri Mukama, n’omukka ogunaavanga mu bubaane gunaabikkanga entebe ey’okusaasira eri kungulu w’Essanduuko ey’Endagaano, alyoke aleme okufa.
14 He must take some of the bull's blood and sprinkle it with his finger on the front of the mercy seat, eastward, then sprinkle some of the blood with his finger seven times before the mercy seat. Anaddiranga ku musaayi ogw’ennyana eyo ennume n’agumansira n’olunwe lwe ku ludda olw’ebuvanjuba olw’entebe ey’okusaasira; era omusaayi ogumu anaagumansiranga n’olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso g’entebe ey’okusaasira.
15 Then he must slaughter the people's sin-offering goat, bring its blood inside the curtain, and do with it as with the bull's blood—sprinkling it on the mercy seat and before it. “Era anattanga embuzi ey’ekiweebwayo ky’abantu olw’ekibi, n’atwala omusaayi gwayo munda w’eggigi n’agukola nga bwe yakola omusaayi gw’ennyana ennume; anaagumansiranga ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso gaayo.
16 This is how he atones for the Holy Place because of Israel's uncleanness, their rebellions, all their sins. He does the same for the tent of meeting, which stays among them in the midst of their uncleanness. Mu ngeri eyo anaatangiririranga Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’obutali bulongoofu n’obujeemu eby’abaana ba Isirayiri, n’olw’ebyonoono byabwe ebirala byonna nga bwe byali. Era anaakolanga bw’atyo ne ku Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu eri mu bo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
17 No one may be in the tent of meeting when he enters to make atonement in the Holy Place until he leaves, having atoned for himself, his household, and the whole assembly of Israel. Mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu temuubengamu muntu n’omu Alooni bw’anaayingirangamu okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, okutuusa lw’anaafulumanga ng’amaze okwetangiririra awamu n’ab’omu maka ge, n’ekibiina kyonna ekya Isirayiri.
18 He must go out to the altar before me, make atonement for it, take some of the bull's blood and some of the goat's blood, and put it on the altar's horns all around. Era anaafulumanga n’ajja ku kyoto ekiri awali Mukama n’akitangiririra. Anaddiranga ku musaayi gw’ennyana eya seddume ne ku musaayi gw’embuzi n’agusiiga ku mayembe gonna ag’ekyoto.
19 He is to sprinkle blood on it with his finger seven times, to cleanse and dedicate it from the impurity of Israel's people. Ku musaayi ogwo anaamansirangako ku kyoto n’olunwe lwe emirundi musanvu okukifuula ekirongoofu n’okukitukuza okukiggya mu butali bulongoofu obw’abaana ba Isirayiri.
20 When he finishes atoning for the Holy Place, tent of meeting, and altar, he is to present the live goat. “Awo Alooni bw’anaamalanga okutangiririra Ekifo eky’Awatukuvu Ennyo, n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto, anaaleetanga embuzi ennamu.
21 Aaron is to lay both hands on the live goat's head and confess over it all Israel's guilt, all their rebellions, all their sins, placing them on the goat's head, then send it into the wilderness by a man appointed for the task. Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eyo ennamu n’agikwatako, n’agyenenyerezaako ebyonoono by’abaana ba Isirayiri, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe byonna, ng’abitadde ku mutwe gw’embuzi eyo. Embuzi anaagisindikanga mu ddungu ng’etwalibwa omusajja anaalondebwanga okukola omulimu ogwo.
22 The goat will carry all their sins on itself into a cut-off land; the man will release it in the wilderness. Embuzi eyo eneetikkanga ebyonoono by’abaana ba Isirayiri byonna n’ebitwala mu kifo eteri bantu, eyo omusajja oyo gy’anaagiteeranga n’eraga mu ddungu.
23 Aaron will enter the tent of meeting, take off the linen garments he wore entering the Holy Place, and leave them there. “Alooni anaayingiranga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne yeeyambulamu ebyambalo ebya bafuta bye yayambadde nga tannayingira mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo, era naabirekanga awo.
24 He must bathe his body in water in a holy place and put on his clothes. Then he comes out, offers his burnt offering and the people's burnt offering, atoning for himself and the people. Anaanaabiranga omubiri gwe mu mazzi nga gali mu kifo ekitukuvu, n’alyoka ayambala ebyambalo bye ebya bulijjo. Anaafulumanga n’awaayo ekiweebwayo kye ekyokebwa ku lulwe, n’ekiweebwayo ekyokebwa olw’abantu bonna, alyoke yeetangiririre era n’abantu abatangiririre.
25 He is to burn the fat of the sin offering on the altar. Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 He who sent the goat to Azazel must wash his clothes, bathe his body in water, then he may enter the camp. “Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
27 The bull and goat of the sin offering, whose blood was brought to atone in the Holy Place, are to be taken outside the camp; their hides, flesh, and dung are to be burned in the fire. Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga.
28 Whoever burns them must wash his clothes and bathe his body in water, then he may come into the camp. Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.
29 This is a permanent law for you: on the tenth day of the seventh month, humble yourselves and do no work—neither the native nor the foreigner living among you. “Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe,
30 For on this day atonement is made for you, to cleanse you from all your sins; you will be clean before me. kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda.
31 It is a Sabbath of complete rest for you; humble yourselves—a lasting statute. Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna.
32 The priest anointed and ordained to serve in his father's place is to make atonement and put on the linen garments—the holy garments, Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu,
33 and make atonement for the Most Holy Place, the tent of meeting, the altar, the priests, and all the assembly's people. n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.
34 This is a permanent statute for you: atone for all the Israelites' sins once a year." And it was done, as our Father commanded Moses. “Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.” Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]