Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses and Aaron, saying: Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti,
2 "Speak to Israel's people and say: When any man has a discharge from his body, his discharge is unclean. “Mugambe abaana ba Isirayiri nti omusajja yenna bw’anaavangamu ebitonnya mu bitundu bye ebyekyama, ebimuvaamu ebyo binaabanga ebitali birongoofu.
3 This is his uncleanness from discharge: whether his body flows with it or is blocked, it is his uncleanness. Era lino ly’etteeka ery’obutali bulongoofu bwe obuleeteddwa ebyo ebimuvaamu: obanga bitonnya obutasalako, obanga birekeddaawo, bunaabanga obutali bulongoofu mu musajja oyo.
4 "Every bed the man with the discharge lies on is unclean; everything he sits on is unclean. “Buli kitanda omusajja oyo alina ebimuvaamu ky’anaasulangako kinaabanga si kirongoofu, ne buli kintu ky’anaatuulangako kyonna kinaabanga si kirongoofu.
5 Whoever touches his bed must wash his clothes, bathe in water, and remain unclean until evening. Omuntu yenna anaakwatanga ku kitanda ky’omusajja oyo naye anaafuukanga atali mulongoofu okutuusiza ddala akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
6 Whoever sits on anything the man with the discharge sat on must wash his clothes, bathe in water, and be unclean until evening. Omuntu yenna anaatuulanga ku kintu kyonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’anaabanga amaze okutuula, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
7 "Whoever touches the body of the man with the discharge must wash his clothes, bathe in water, and remain unclean until evening. Era omuntu yenna anaakwatanga ku musajja oyo alina ebimuvaamu, anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
8 If the man with the discharge spits on a clean person, that person must wash his clothes, bathe in water, and remain unclean until evening. Omusajja oyo alina ebimuvaamu bw’anaawandanga amalusu ku muntu omulongoofu, omuntu oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
9 "Any saddle on which the man with the discharge rides is unclean. Era n’amatandiiko gonna omusajja oyo alina ebimuvaamu kw’aneebagaliranga ganaabanga agatali malongoofu,
10 Anyone who touches what was under him is unclean until evening; anyone who carries them must wash his clothes, bathe in water, and remain unclean until evening. era n’omuntu anaakwatanga ku kintu ekirala kyonna ekinaabanga wansi w’omusajja oyo anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
11 "Anyone the man with the discharge touches, if the man hasn't rinsed his hands in water, must wash his clothes, bathe in water, and stay unclean until evening. Omuntu yenna, omusajja oyo alina ebimuvaamu gw’anaakwatangako nga tasoose kunaaba mu ngalo mu mazzi anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba mu mazzi.
12 Any clay pot the man with the discharge touches must be broken; every wooden utensil must be rinsed in water. Ekibumbe kyonna ekikozesebwa mu maka bwe kinaakwatibwangako omusajja oyo alina ebimuvaamu kinaayasibwanga, na buli ekikozesebwa mu maka eky’omuti kinaanaazibwanga mu mazzi.
13 "When the man with a discharge is cleansed of it, he must count seven days for his cleansing, wash his clothes, bathe his body in fresh flowing water, and be clean. “Omusajja anaabanga alina ebimuvaamu bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu ez’okufuulibwa omulongoofu; anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi amayonjo agakulukuta, bw’atyo anaafuukanga mulongoofu.
14 On the eighth day he must take two turtledoves or two young pigeons, come before our Father at the tent of meeting's entrance, and give them to the priest. Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama mu mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona.
15 The priest is to offer one as a sin offering, the other as a burnt offering, and the priest will make atonement for him before our Father for his discharge. Kabona anaabiwangayo, ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiririranga omusajja oyo olw’ebimuvaamu eri Mukama.
16 "If semen leaves a man, he must bathe his whole body in water and is unclean until evening. “Omusajja bw’anaavangamu amazzi g’obusajja anaateekwanga okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era anaasigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17 Any garment or leather with semen on it must be washed with water and stays unclean until evening. Buli lugoye olwambalwa oba eddiba nga kuliko amazzi g’obusajja, binaateekwanga okwozebwa mu mazzi, era binaabanga ebitali birongoofu okutuusa akawungeezi.
18 If a man sleeps with a woman and semen is released, both must bathe in water and stay unclean until evening. Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi, ne wabaawo amazzi g’obusajja agafulumizibbwa, bombi banaanaabanga mu mazzi agatukula, era banaabeeranga abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
19 "When a woman has a blood discharge from her body, she remains in her menstrual impurity seven days; whoever touches her is unclean until evening. “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi ng’empisa ye eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu, ne buli anaamukwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20 Everything she lies on during her impurity is unclean, and everything she sits on is unclean. Mu bbanga eryo ng’omukazi oyo si mulongoofu buli kintu kyonna ky’anaagalamirangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ne buli kintu kyonna ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
21 Whoever touches her bed must wash his clothes, bathe in water, and be unclean until evening. Era buli anaakwatanga ku kitanda kye kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Whoever touches what she sits on must wash their clothes, bathe in water, and stay unclean until evening. Buli anaakwatanga ku kintu kyonna omukazi oyo ky’atuulako, anaateekwanga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23 Whether the bed or what she sits on, touching it makes one unclean until evening. Bwe kinaabanga ekitanda oba ekintu ekirala kyonna omukazi oyo ky’anaabanga atuddeko, omuntu bw’anaakikwatangako anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24 "If a man lies with her and her menstrual impurity touches him, he is unclean seven days; every bed he lies on is unclean. Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi oyo, omusaayi gw’omukazi ogumuvaamu ogwa buli mwezi ne gumutonnyako, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu; n’ekitanda kw’anaagalamiranga nakyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
25 "If a woman's blood flows many days outside her monthly impurity, or beyond it, she stays unclean the whole time of the flow, as in the days of her impurity. “Omukazi bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku nnyingi mu biseera ebitali ebyo ebya buli mwezi nga bwe kiba bulijjo, oba bw’anaavangamu omusaayi okumala ennaku ezisukka ku za bulijjo eza buli mwezi, anaabeeranga atali mulongoofu mu bbanga ly’anaamalanga ng’avaamu omusaayi, nga mu biseera bye ebya buli mwezi.
26 Every bed she lies on during her discharge is like her menstrual bed; every object she sits on is unclean, like her menstrual impurity. Buli kitanda ky’anaagalamirangako ng’omusaayi gukyamuvaamu kinaabeeranga ekitali kirongoofu, ng’ekitanda kye bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi eby’okuvaamu omusaayi, era ne buli kintu ky’anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu nga bwe kiba mu biseera bye ebya buli mwezi.
27 Whoever touches them becomes unclean; he must wash his clothes, bathe in water, and remain unclean until evening. Buli muntu anaakwatanga ku bintu ebyo anaabeeranga atali mulongoofu; kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 "Once she is made clean from her flow, she must count seven days, and after that she is clean. Naye omukazi oyo avaamu omusaayi bw’anaafuulibwanga omulongoofu, aneebaliranga ennaku musanvu, N’oluvannyuma lwazo anaabeeranga mulongoofu.
29 On the eighth day she must take two turtledoves or two young pigeons and bring them to the priest, at the meeting tent's entrance. Ku lunaku olw’omunaana kinaamusaaniranga okuddira amayiba abiri, oba enjiibwa ento bbiri n’ajja awali Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’abikwasa kabona.
30 The priest will offer one as a sin offering, the other as a burnt offering, and make atonement for her before our Father for her impure discharge. Kabona anaawangayo ekimu nga kye kiweebwayo olw’ekibi, n’ekirala nga kye kiweebwayo ekyokebwa. Mu ngeri eyo kabona anaatangiriranga omukazi oyo eri Mukama olw’ekitali kirongoofu ekimuvaamu.
31 "Keep the Israelites separate from their impurity, so they don't die in their impurity by making my dwelling place among them unclean. “Bwe mutyo bwe munaakugiranga abaana ba Isirayiri balemenga okusemberera ebintu ebibafuula abatali balongoofu, balemenga okufa olw’obutali bulongoofu bwabwe okuboonoonyesa Eweema ya Mukama eri wakati mu bo.
32 "This is the law for one with a discharge, and for one whose emission of semen makes him unclean, “Ago ge mateeka ku musajja alina ebimuvaamu mu bitundu bye eby’ekyama, n’oyo avaamu amazzi g’obusajja;
33 for a woman in her monthly impurity, for anyone, male or female, with a discharge, and for a man who lies with an unclean woman." ne ku mukazi anaavangamu omusaayi ng’empisa y’abakazi eya bulijjo eya buli mwezi bw’eba. Amateeka ago ganaakwatanga ku musajja oba ku mukazi alina ebimuvaamu, ne ku musajja aneebakanga n’omukazi atali mulongoofu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]