Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Leviticus 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father called to Moses and spoke to him from the tent of meeting, saying: Awo Mukama n’ayita Musa, n’ayogera naye ng’asinziira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. N’amulagira nti,
2 "Speak to the Israelites and say to them: When any of you brings me an offering, bring your offering of livestock from the herd or the flock. “Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’
3 "If his offering is a burnt offering from the herd, he is to offer a male without defect, offering it at the entrance of the tent of meeting, to be accepted before me. “Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama.
4 He is to lay his hand on the burnt offering's head, and it will be accepted for him, to atone for him. Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakwatanga omutwe gwakyo, era kinakkirizibwanga ku lulwe kiryoke kimutangiririre olw’ebibi bye.
5 He is to kill the young bull before me, and Aaron's sons the priests are to bring the blood and splash it around the altar at the entrance of the tent of meeting. Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
6 Then he is to skin the burnt offering and cut it into its pieces. Awo ekiweebwayo ekyo ekyokebwa anaakibaagangako eddiba, n’akitemaatemamu ebifi.
7 Aaron's sons the priests will lay a fire on the altar and arrange wood on it. Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo.
8 Aaron's sons, the priests, arrange the pieces, head, and fat on the wood over the fire on the altar. Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
9 He is to wash its inner organs and legs with water; the priest burns it all on the altar—a burnt offering, a food offering, a pleasing aroma to me. Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabyokyanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
10 "If his burnt offering is from the flock—sheep or goats—he must bring a male without defect. “Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo.
11 He is to slaughter it on the altar's north side before me; Aaron's sons the priests are to splash its blood around the altar. Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula.
12 He is to cut it into pieces—head and fat—and the priest is to arrange them on the wood, on the fire, on the altar. Anaagitemaatemangamu ebifi; era kabona anaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu abitaddeko, n’abissa ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
13 He must wash the inner organs and legs with water; the priest offers it all, burns it on the altar—a burnt offering, a food offering, a pleasing aroma to me. Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
14 "If his burnt offering to me is a bird, he must bring turtledoves or young pigeons as his offering. “Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento.
15 The priest brings it to the altar, wrings off its head, burns it there; its blood drains against the altar's side. Kabona anaaleetanga ennyonyi eyo ku kyoto n’aginyoola omutwe n’agukutulako, n’agwokya ku kyoto; omusaayi gwayo anaagukenenuliranga mu mbiriizi z’ekyoto.
16 He removes its crop with its contents, throwing it beside the altar eastward, at the ash heap. Anaagiggyangamu ekisakiro kyayo n’ebikirimu, n’akisuula ku ludda olw’ebuvanjuba olw’ekyoto mu kifo awayiyibwa evvu.
17 He is to tear it open by the wings, not fully apart; the priest will burn it on the altar's wood over the fire—a burnt offering, a food offering, a pleasing aroma to me." Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]