Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Judges 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The messenger of our Father went up from Gilgal to Bochim and said, "I brought you up out of Egypt into the land I swore to your fathers. I said, 'I will never break my covenant with you. Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna;
2 You will make no covenant with this land's people; tear down their altars.' But you have not obeyed my voice. What have you done? nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo?
3 So now I say: I won't drive them out before you; they'll be thorns in your sides, their gods a trap to you." Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”
4 When the messenger of our Father spoke these words to all the Israelites, the people wept aloud. Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga.
5 And they named that place Bochim, and there they sacrificed to our Father. Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.
6 When Joshua dismissed the people, the Israelites each went to claim their own land inheritance. Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa.
7 The people served our Father throughout the days of Joshua and the elders who outlived him, having seen all the great work our Father did for Israel. Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.
8 Joshua son of Nun, servant of our Father, died at 110 years old. Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi.
9 They buried him in his inheritance land at Timnath-heres, in Ephraim's hill country, north of Mount Gaash. Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.
10 That whole generation was also gathered to their ancestors, and another generation rose after them who did not know our Father or the work he did for Israel. Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri.
11 Israel's people did evil in our Father's sight and served the Baals. Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali.
12 They abandoned our Father, the God of their fathers, who brought them out of the land of Egypt. They followed other gods of the surrounding peoples, bowed to them, and provoked our Father to anger. Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri.
13 They abandoned our Father and served Baal and the Ashtaroth. Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi.
14 So our Father's anger flared against Israel, and he handed them to raiders who plundered them, selling them to surrounding enemies, so they could no longer stand against them. Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo.
15 Everywhere they marched out, our Father's hand was against them for harm, as he had said and sworn to them. They were in dire distress. Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.
16 Then our Father raised up judges who saved them from the hand of their raiders. Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi.
17 But they would not listen even to their judges. They prostituted themselves to other gods and bowed to them, quickly turning from the way their fathers walked, who had obeyed our Father's commands; they would not do the same. Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama.
18 When our Father raised up judges, he was with each judge and rescued them from their enemies all that judge's days; for our Father was moved to compassion by their groaning under their oppressors. Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.
19 But when the judge died, they turned back and grew more corrupt than their fathers, following other gods to serve and bow down to them. They abandoned none of their practices or stubborn ways. Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.
20 So our Father's anger flared against Israel, and he said, "Because this nation has broken my covenant that I commanded their fathers, and has not obeyed my voice, Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange,
21 I will no longer drive out any nation Joshua left when he died, siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde.
22 to test Israel by them: whether they'd keep our Father's way, walking in it as their fathers did, or not." Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.”
23 So our Father left those nations, not driving them out quickly, and did not give them into Joshua's hand. Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]