Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Judges 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After Joshua's death, the Israelites asked our Father, "Who will go up first for us against the Canaanites to fight them?" Oluvannyuma lw’okufa kwa Yoswa, Abayisirayiri ne babuuza Mukama Katonda nti, “Ani mu ffe alisooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa?”
2 Our Father said, "Judah will go up. I have given the land into his hands." Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.
3 Judah said to his brother Simeon, "Come up with me into my allotted territory, and let us fight the Canaanites; and I too will go with you into yours." So Simeon went with him. Abasajja ba Yuda ne bagamba baganda baabwe abasajja ba Simyoni nti, “Tugende ffenna mu kitundu kyaffe ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani, era naffe tuligenda nammwe mu kitundu ekyabaweebwa.” Awo ne bagenda bonna.
4 So Judah went up, and our Father gave the Canaanites and Perizzites into their hands, and they struck down 10,000 men at Bezek. Yuda n’alumba Abakanani n’Abaperezi e Bezeki era Mukama n’amuwa obuwanguzi n’abattamu abasajja omutwalo mulamba.
5 At Bezek they found Adoni-bezek, fought him, and struck down the Canaanites and Perizzites. Ne bagwikiriza Adonibezeki mu Bezeki; ne bamulwanyisa era ne batta abasajja be.
6 Adoni-bezek fled, but they pursued him, caught him, and cut off his thumbs and big toes. Naye Adonibezeki ne yeemulula, ne bamuwondera, ne bamukwata era ne bamusalako engalo ze ensajja n’ebigere ebisajja.
7 Adoni-bezek said, "Seventy kings with thumbs and big toes cut off used to gather scraps under my table. As I did, so God has repaid me." They brought him to Jerusalem, where he died. Adonibezeki ne yejjusa n’agamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n’ebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi w’emmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi n’afiira eyo.
8 Judah's men fought against Jerusalem, captured it, struck it with the sword, and burned the city. Abasajja ba Yuda ne balumba ekibuga Yerusaalemi ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala, oluvannyuma ne bakyokya.
9 Then Judah went down to fight the Canaanites living in the hill country, the Negev, and the western foothills. Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo.
10 Judah advanced against the Canaanites in Hebron (formerly Kiriath-arba) and struck down Sheshai, Ahiman, and Talmai. Ate Yuda n’alumba Abakanani abaabeeranga e Kebbulooni (edda ekyayitibwanga Kiriasualuba), mu lutalo olwali eyo mwe battira Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.
11 From there they marched against the inhabitants of Debir (the name of Debir was formerly Kiriath-sepher). Ate n’avaayo n’alumba abaabeeranga e Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi.
12 Caleb said, "Whoever attacks and captures Kiriath-sepher, I'll give him my daughter Achsah as wife." Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.”
13 Othniel son of Kenaz, Caleb's younger brother, captured it, so Caleb gave him his daughter Achsah in marriage. Osunieri, omwana wa Kenazi muto wa Kalebu n’akiwamba bw’atyo n’aweebwa Akusa okumuwasa.
14 When she came to Othniel, she urged him to ask her father for a field. As she got off her donkey, Caleb asked her, "What do you want?" Awo Osunieri bwe yamala okuwasa Akusa n’amufukuutirira asabe kitaawe ennimiro; Akusa n’addayo eri kitaawe, bwe yali ava ku ndogoyi, Kalebe n’amubuuza nti, “Oyagala ki?”
15 She said to him, "Give me a blessing. Since you've given me the land of the Negev, give me springs of water too." So Caleb gave her the upper and lower springs. N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga.
16 The Kenite's descendants, Moses' father-in-law's family, went up with Judah's people from the city of palms into Judah's wilderness in the Negev near Arad, and settled among the people. Abazzukulu b’Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga eky’enkindu ne bagendera wamu n’abasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu n’abantu baayo.
17 Judah went with his brother Simeon; they struck the Canaanites living in Zephath and completely destroyed it, so the city was named Hormah. Awo Yuda n’agenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma.
18 Judah also captured Gaza with its territory, Ashkelon with its territory, and Ekron with its territory. Era Yuda n’awamba Gaza, Asukulooni ne Ekuloni n’ebitundu ebyetoolodde ebibuga bino.
19 Our Father was with Judah, who took the hill country but could not drive out the valley's people, for they had iron chariots. Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali ag’ekyuma.
20 They gave Hebron to Caleb, as Moses had promised, and he drove out Anak's three sons from there. Kebbulooni n’ekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, n’akifuumulamu batabani ba Anaki abasatu.
21 But Benjamin did not drive out the Jebusites in Jerusalem; so the Jebusites live with Benjamin in Jerusalem to this day. Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.
22 The house of Joseph also went up against Bethel, and our Father was with them. N’abasajja ba Yusufu ne balumba Beseri era Mukama yali wamu nabo.
23 The house of Joseph sent men to scout out Bethel (the city was formerly named Luz). Abasajja ba Yusufu ne batuma abakessi okuketta ekibuga ky’e Beseri edda ekyayitibwanga Luzi.
24 The scouts saw a man leaving the city and told him, "Show us the way in, and we'll treat you kindly." Abakessi bwe baalaba omusajja ng’ava mu kibuga ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde tulage omulyango oguyingira mu kibuga naffe tunaakuyisa bulungi.”
25 So he showed them the way in, and they struck the city with the sword, but let the man and his whole family go. Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza n’ekitala abantu b’omu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna.
26 The man went to the Hittite land, built a city, and named it Luz—its name to this day. Omusajja oyo n’asengukira mu nsi y’Abakiiti, n’azimbayo n’ekibuga n’akituuma Luzi, n’okutuusa kaakano bwe kiyitibwa.
27 Manasseh did not drive out the people of Beth-shean, Taanach, Dor, Ibleam, and Megiddo, or their villages; so the Canaanites were determined to keep living in that land. Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo.
28 When Israel grew strong, they forced the Canaanites into labor, but never drove them out completely. Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo ky’okugobwa mu nsi eyo.
29 Ephraim did not drive out the Canaanites living in Gezer, so they went on living among them there. Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri.
30 Zebulun did not drive out the people of Kitron or the people of Nahalol, so the Canaanites lived among them but became forced labor. Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano n’abakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo.
31 Asher did not drive out those living in Acco, Sidon, Ahlab, Achzib, Helbah, Aphik, or Rehob; Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde ab’omu Sidoni n’ab’omu Alaba n’ab’omu Akuzibu n’ab’omu Keruba n’ab’omu Afiki yadde ab’omu Lekobu,
32 so the Asherites lived among the Canaanites of the land, because they did not drive them out. naye Abakanani ne bakkirizibwa okubeera awamu n’abantu ba Aseri.
33 Naphtali did not drive out the residents of Beth-shemesh or Beth-anath, so they lived among the Canaanites of the land; but those of Beth-shemesh and Beth-anath became their forced labor. Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye n’abakkirizanga okubeeranga awamu n’abantu be nga bwe bamusasula omusolo.
34 The Amorites forced the Danites into the hill country, not letting them come down to the plain. Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi y’Abamoli ey’omu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi.
35 The Amorites held on to living in Mount Heres, Aijalon, and Shaalbim, but the hand of the house of Joseph pressed on them, and they were put to forced labor. Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye ab’omu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo.
36 The border of the Amorites ran from the ascent of Akrabbim, from Sela on upward. Ensalo y’Abamoli yayitanga awo ng’oyambuka Akulabbimu n’okweyongerayo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]