Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Job 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 There was a man in the land of Uz whose name was Job, and that man was blameless and upright, one who feared God and turned away from evil. Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi erinnya lye Yobu; yali muntu ataliiko kya kunenyezebwa, nga wa mazima, eyeewalanga ekibi, era ng’atya Katonda.
2 Seven sons and three daughters were born to him. Yalina abaana aboobulenzi musanvu n’aboobuwala basatu.
3 He owned 7,000 sheep, 3,000 camels, 500 teams of oxen, and 500 female donkeys, with a very large household of servants, so that this man was the greatest of all the people of the east. Mu byobugagga ebingi ennyo bye yalina; mwe mwali endiga kasanvu, eŋŋamira enkumi ssatu, emigogo gy’ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n’abaddu bangi nnyo nnyini; yali mwatiikirivu okusinga abantu abalala bonna mu nsi z’ebuvanjuba.
4 His sons would go and hold a feast in the house of each one on his day, and they would send for their three sisters and invite them to eat and drink with them. Batabani be baakwatanga embaga z’amazaalibwa gaabwe buli omu mu mpalo ng’ennaku zaabwe bwe zaali ziddiriŋŋananga mu maka ga buli omu; era baayitanga bannyinaabwe bonsatule okubajagulizaangako.
5 When the days of feasting had run their course, Job would send for them and consecrate them, rising early in the morning to offer burnt offerings for each of them. For Job thought, "It may be that my children have sinned and cursed God in their hearts." This is what Job always did. Ennaku z’embaga bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n’abatukuza; yakeeranga mu makya n’abaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng’omuwendo gwabwe bwe gwali ng’alowooza nti, “Oboolyawo ng’abaana bange bayonoonye ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Kino yakikolanga bulijjo.
6 Now there was a day when the members of the heavenly court came to present themselves before our Father, and Satan also came among them. Olunaku lumu, bamalayika ne bajja mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjiramu.
7 Our Father said to Satan, "Where have you come from?" Satan answered our Father, "From roaming the earth and walking back and forth across it." Mukama n’abuuza Setaani nti, “Ova wa?” Setaani n’addamu Mukama nti, “Nva kutalaaga nsi yonna okulaba ebintu nga bwe biri.”
8 Our Father said to Satan, "Have you considered my servant Job? There is no one like him on the earth—a blameless and upright man who fears God and turns away from evil." Mukama Katonda n’abuuza Setaani nti, “Weetegerezza omuddu wange Yobu, atalina amufaanana, anzisaamu ekitiibwa, ataliiko kyakunenyezebwa era eyeewala buli ngeri yonna eyinza okukozesa omuntu ebibi?”
9 Satan answered our Father, "Does Job fear God for nothing? Setaani n’addamu Mukama Katonda nti, “Ekitiibwa akussaamu kya bwereere?
10 Have you not put a hedge around him and his household and everything he has, on every side? You have blessed the work of his hands, and his possessions have spread out across the land. Tomukozeeko lukomera ye n’ennyumba ye, n’eby’obugagga by’alina? Buli ky’akola okiwadde omukisa; n’eby’obugagga bye byeyongedde nnyo obungi!
11 But stretch out your hand and strike everything he has, and surely he will curse you to your face." Kale geza okwate ku by’alina obimuggyeko olabe nga taakwegaane nga n’ensi yonna eraba!”
12 Our Father said to Satan, "Very well—everything he has is in your power. Only do not lay a hand on the man himself." So Satan went out from the presence of our Father. Mukama Katonda n’agamba Setaani nti, “Byonna by’alina biri mu mikono gyo, naye togeza n’okwata ku bulamu bwe.” Oluvannyuma lw’ebyo Setaani n’ava mu maaso ga Mukama.
13 Now there was a day when Job's sons and daughters were eating and drinking wine in the house of their oldest brother, Awo olunaku lumu, batabani ba Yobu ne bawala be bwe baali banywa omwenge era nga baliira ebyassava mu maka ga mukulu waabwe,
14 and a messenger came to Job and said, "The oxen were plowing and the donkeys were grazing beside them, omubaka n’ajja eri Yobu n’amugamba nti, “Ente zibadde zirima nga n’endogoyi ziri kumpi nazo,
15 when the Sabeans attacked and carried them off, and they struck down the servants with the edge of the sword. I am the only one who escaped to tell you." Abaseba ne bazigwako ne bazitwala era n’abaddu bonna ne babatta nze nsigaddewo nzekka okujja okukutegeeza bino.”
16 While he was still speaking, another came and said, "The fire of God fell from heaven and burned up the sheep and the servants and consumed them. I am the only one who escaped to tell you." Oyo aba akyayogera ebyo, laba, omubaka omulala n’atuuka naye n’amugamba nti, “Omuliro gubuubuuse nga guva mu ggulu ne gusaanyaawo endiga zonna n’abasumba baazo, nze nsigaddewo nzekka okukutegeeza bino.”
17 While he was still speaking, another came and said, "The Babylonians formed three raiding parties, swept down on the camels and carried them off, and they struck down the servants with the edge of the sword. I am the only one who escaped to tell you." N’oyo aba akyayogera, n’omubaka omulala n’atuuka, n’agamba nti, “Abakaludaaya bazze nga beetegese mu bibinja bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira ne bazitwala era ne batta n’abaddu ababadde bazirabirira, era nze nzekka nze nsigaddewo okujja okukumanyisa bino.”
18 While he was still speaking, another came and said, "Your sons and daughters were eating and drinking wine in the house of their oldest brother, Aba akyayogera, laba, n’omulala n’ajja n’amugamba nti, “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya mukulu waabwe,
19 when suddenly a great wind swept in from across the wilderness and struck the four corners of the house. It collapsed on the young people, and they are dead. I am the only one who escaped to tell you." laba, omuyaga ogw’amaanyi guvudde mu ddungu ne gugoyaagoya ennyumba yonna mwe babadde era bonna bafiiriddemu nze mponyeewo nzekka okujja okukubikira.”
20 Then Job arose, tore his robe, shaved his head, and fell to the ground and worshiped. Yobu olwawulira bino byonna, n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye n’amwa omutwe gwe, n’avuunama n’asinza:
21 He said, "Naked I came from my mother's womb, and naked I will return. Our Father gave, and he has taken away; blessed be his name." n’agamba nti, “Nazaalibwa sirina kantu era bwe ntyo bwe ndiddayo. Mukama ye yawa era Mukama y’aggyeewo, erinnya lya Mukama Katonda lyebazibwe.”
22 In all this Job did not sin or charge God with wrongdoing. Mu bino byonna Yobu teyayonoona kubanga teyeemulugunyiza Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]