Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Jeremiah 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 The words of Jeremiah son of Hilkiah, one of the priests at Anathoth in Benjamin's land. Ebigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Kirukiya, ow’oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini.
2 The word of our Father came to him in the days of Josiah son of Amon, king of Judah, in the thirteenth year of his reign. Mukama Katonda yayogera naye mu mirembe gya Yosiya, kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni, nga yakafugira emyaka kkumi n’esatu,
3 It also came in the days of Jehoiakim son of Josiah, king of Judah, through the eleventh year of Zedekiah son of Josiah, king of Judah, until Jerusalem's exile in the fifth month. ne mu biro bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa mu mwezi ogwokutaano, ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, abantu b’e Yerusaalemi lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
4 The word of our Father came to me, saying: Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, ng’agamba nti,
5 "Before I formed you in the womb I knew you, and before you were born I set you apart; I appointed you a prophet to the nations." “Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo; nga tonnava mu lubuto n’akutukuza. Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”
6 I said, "Ah, Sovereign Father! I don't know how to speak, for I'm only a boy." Ne ndyoka ŋŋamba nti, “Laba nno, Mukama Katonda! Simanyi kwogera mu bantu, ndi mwana muto.”
7 But our Father said to me, "Don't say, 'I'm only a youth,' for you'll go wherever I send you and speak whatever I command. Naye Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Toyogera nti, ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga.
8 Do not be afraid of them, for I am with you to deliver you, declares the Father." Tobatyanga, kubanga nze ndi naawe okukuwonya,” bw’ayogera Mukama Katonda.
9 Then our Father reached out his hand, touched my mouth, and our Father told me, "Look, I've put my words in your mouth. Awo Mukama Katonda n’agolola omukono gwe, n’akwata ku mimwa gyange, n’aŋŋamba, nti, “Wuliriza. Nkuwa ebigambo by’onooyogeranga.
10 See, I have set you this day over the nations and over the kingdoms, to uproot and to tear down, to destroy and to overthrow, to build and to plant." Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.”
11 The word of our Father came to me: "What do you see, Jeremiah?" I said, "I see an almond branch." Ekigambo kya Mukama Katonda ate ne kinzijira nga kigamba nti, “Yeremiya kiki ekyo ky’olaba?” Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ettabi ly’omuti ogw’omulozi.”
12 Then our Father said to me, "You have seen rightly, for I watch over my word to fulfill it." Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Olabye bulungi, kubanga neetegereza ndabe ng’ekigambo kyange kituukirira.”
13 The word of our Father reached me a second time: "What do you see?" I said, "A boiling pot, facing away from north." Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijjira nate nti, “Kiki ky’olaba, kaakano?” Ne ŋŋamba nti, “Ndaba ensuwa ey’amazzi ageesera, ng’etunudde waggulu mu bukiikakkono.”
14 And our Father said to me, "Out of the north, disaster will break loose on all who live in the land. Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Okuzikirira kujja kubaawo nga kutandikira mu bukiikakkono kutuuke ku bantu bonna abali mu ggwanga.
15 I'm about to summon all the northern kingdoms' clans, declares the Father; they'll come, each setting his throne at the entrance to Jerusalem's gates, against all her surrounding walls and all Judah's cities. Kubanga laba nnaatera okuyita abantu bonna ab’omu bwakabaka obuli mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama Katonda. Bakabaka baabwe balyoke bajje bateeke entebe zaabwe ez’obwakabaka mu miryango egiyingira ekibuga Yerusaalemi, balizinda bbugwe waakyo yenna era bazinde n’ebibuga byonna ebya Yuda.
16 And I will pronounce my judgments against them for all their evil in forsaking me, in burning offerings to other gods and bowing down to idols they made with their own hands." Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna, kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala, era ne basinza ebibajje bye beekolera n’emikono gyabwe.
17 "Now get ready, stand and tell them all I command you. Don't break down before them, or I will break you before them. “Naye ggwe weetegeke! Yimirira obabuulire byonna bye nkulagira. Tobatya kubanga bw’onoobatya nzija kubakutiisa.
18 Look, today I make you a fortified city, iron pillar, bronze walls against the whole land: Judah's kings, officials, priests, and its people. Kubanga leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakungu baayo, ne bakabona n’abantu ab’omu nsi.
19 They will fight you but not overcome you; I am with you to rescue you, declares the Father." Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze ndi wamu naawe okukununula,” bw’ayogera Mukama Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]