Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Isaiah 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 For our Father's heart will feel compassion for Jacob; he will again choose Israel and settle them in their own land. The foreigner will join them and attach himself to the house of Jacob. Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, addemu alonde Isirayiri abazze ku ttaka lyabwe. Ne bannamawanga balibeegattako era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
2 Peoples will take them and bring them to their place, and the house of Israel will possess them as male and female servants in the land of our Father. They will capture their captors and rule over their oppressors. N’amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi. Baliwamba abaali babawambye, bafuge abo abaabakijjanyanga.
3 On the day our Father gives you rest from your pain, turmoil, and the hard labor forced on you, Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,
4 you will take up this taunt against the king of Babylon: How the oppressor has stopped! How his rage has stopped! oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti: Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
5 Our Father has broken the staff of the wicked, the scepter of rulers, Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi, omuggo gw’obwakabaka ogw’abo abafuga.
6 that struck the peoples in wrath with endless blows, that ruled the nations in anger with relentless persecution. Ogwakubanga olutata amawanga n’obusungu, ogwafugisanga amawanga ekiruyi, ne gubayigganyanga nga tewali aguziyiza.
7 The whole earth is at rest and quiet; people burst into song. Ensi yonna ewummudde eri mu mirembe, era batandise okuyimba.
8 Even the cypresses rejoice over you, and the cedars of Lebanon: "Since you were laid low, no woodcutter comes up against us." Si ekyo kyokka n’enfugo n’emivule gya Lebanooni, nagyo gikuyeeyeereza nti, “Kasookanga ogwa tebangayo ajja kututema.”
9 The grave beneath is stirred up to meet you at your coming; it rouses the spirits to greet you, all who were leaders of the earth; it raises from their thrones all who were kings of the nations. Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng’ojja, gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze b’ensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga.
10 All of them will answer and say to you: "You too have become as weak as we are! You have become like us! Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!”
11 Your pomp is brought down to the grave, along with the music of your harps; maggots are spread out as your bed beneath you, and worms are your covering." Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu n’amaloboozi g’ennanga zo; bakwalidde envunyu, n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko.
12 How you have fallen from heaven, Day Star, son of the dawn! How you are cut down to the ground, you who laid the nations low! Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya! Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
13 You said in your heart, "I will ascend to heaven; I will raise my throne above the stars of God; I will sit on the mount of assembly, in the far reaches of the north. Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 I will ascend above the heights of the clouds; I will make myself like the Most High." ndyambuka okusinga ebire we bikoma, ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 But you are brought down to the grave, to the far reaches of the pit. Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo y’obunnya.
16 Those who see you will stare at you and wonder: "Is this the man who made the earth tremble, who shook kingdoms, Abo abanaakulabanga banaakwekalirizanga bakwewuunye nga bagamba nti, “Ono si ye musajja eyayugumyanga ensi, ng’anyeenyanyeenya obwakabaka!
17 who made the world like a wilderness and tore down its cities, who would not let his captives go home?" Eyafuula ensi okuba eddungu n’asuula ebibuga byayo, atakkirizanga bawambe kudda waabwe!”
18 All the kings of the nations lie in glory, each in his own tomb; Bakabaka bonna ab’ensi bagalamidde mu kitiibwa, buli omu mu ntaana ye,
19 but you are cast out, away from your grave, like a loathed branch, covered with the slain, those pierced by the sword, who go down to the stones of the pit, like a trampled corpse. naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa, ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala, abakka eri amayinja g’obunnya; ng’omulambo ogulinyiriddwa.
20 You will not be joined with them in burial, because you destroyed your own land, you killed your own people. May the offspring of evildoers never be named again! Toligattibwa n’abo mu kuziikibwa kubanga wazikiriza ensi yo n’otta abantu bo; ezzadde ly’abo abaakola ebibi teriryongerwako n’akatono.
21 Prepare slaughter for his sons because of the guilt of their fathers, so they cannot rise and take over the earth and fill the whole world with cities. Mutegeke ekifo batabani be we banattirwa olw’obutali butuukirivu bwa bakitaabwe, baleme okugolokoka ne balya ensi, ne bajjuza ensi yonna ebibuga byabwe.
22 "I will rise up against them, declares the Father of heaven's armies, and I will cut off from Babylon name and remnant, offspring and descendant, declares our Father. “Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
23 I will make it a haunt of the hedgehog and pools of water, and I will sweep it with the broom of destruction, declares the Father of heaven's armies." “Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu, n’entobazzi era mwere n’olweyo oluzikiriza,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
24 The Father of heaven's armies has sworn: "Surely as I planned, so it will be; as I decided, so it will stand. Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti, “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo era nga bwe nateesa, bwe kirinywera bwe kityo.
25 I will break the Assyrian in my land, and on my mountains I will trample him underfoot; his yoke will be lifted from them, and his burden removed from their shoulder. Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinnyirira ku nsozi zange. Ekikoligo kye kiribavaako, n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”
26 This is the purpose determined against the whole earth, and this is the hand stretched out over all the nations. Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna: era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 For the Father of heaven's armies has decided, and who can undo it? His hand is stretched out, and who can turn it back?" Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula? Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
28 In the year that King Ahaz died, this oracle came: Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.
29 Do not rejoice, all you Philistia, that the rod that struck you is broken; for from the serpent's root will come an adder, and its fruit will be a darting, fiery serpent. Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera, n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 The poorest of the poor will graze in safety, and the needy will lie down secure; but I will kill your root with famine, and it will destroy your remnant. Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo naye ekikolo kyo ndikittisa enjala ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
31 Wail, gate; cry out, city; melt with fear, all you Philistia! For smoke comes out of the north, and not one soldier falls behind in its ranks. Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga, osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna! Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 What answer will be given to the messengers of the nation? "Our Father has founded Zion, and in her the afflicted of his people find refuge." Kale kiki kye banaddamu ababaka b’eggwanga eryo? “Mukama yassaawo Sayuuni, ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]