Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Hosea 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Ephraim spoke, there was trembling; he was exalted in Israel. But he became guilty through Baal, and he died. Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga. Yagulumizibwanga mu Isirayiri. Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
2 And now they sin more and more, making molded idols for themselves—silver images shaped by their own skill, all of them the work of craftsmen. To these they say, "Let those who sacrifice kiss the calves!" Ne kaakano bongera okwonoona; ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe, ng’okutegeera kwabwe bwe kuli, nga byonna mulimu gw’abaweesi. Kigambibwa nti, “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu, ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
3 Therefore they will be like the morning mist, like the dew that fades early away, like chaff swirling from the threshing floor, and like smoke from a window. Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya, oba ng’omusulo oguvaawo amangu, ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro, oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
4 But I am your Father, who brought you from the land of Egypt; you acknowledge no Father but me, and besides me there is no savior. “Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri; so tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wabula nze.
5 It was I who knew you in the wilderness, in the land of burning drought. Nakulabirira mu ddungu, mu nsi ey’ekyeya ekingi.
6 When I fed them they were satisfied; they were satisfied, and their heart grew proud; therefore they forgot me. Bwe nabaliisa, bakkuta; bwe bakkuta ne beegulumiza, bwe batyo ne banneerabira.
7 So I have become like a lion to them; like a leopard I lurk beside the road. Kyendiva mbalumba ng’empologoma, era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
8 I will fall upon them like a bear robbed of her cubs; I will tear open the covering of their heart. There I will devour them like a lion, as a wild beast would rip them apart. Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo, ndibalumba ne mbataagulataagula. Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo, ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
9 Israel, you bring destruction on yourself by being against me—against your helper. Ndibazikiriza mmwe Isirayiri, kubanga munnwanyisa.
10 Where now is your king, that he may save you in all your cities? Where are your rulers, of whom you said, "Give me a king and princes"? Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 I gave you a king in my anger, and in my wrath I took him away. Nabawa kabaka nga nsunguwadde, ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 The guilt of Ephraim is sealed away; his sin is stored up. Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa, era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 The pangs of childbirth come for him, but he is an unwise son; for when the time arrives, he does not come out at the opening of the womb. Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira, naye omwana olw’obutaba n’amagezi, ekiseera bwe kituuka, tavaayo mu lubuto.
14 From the power of the grave I will ransom them; from death I will redeem them. Where, O Death, are your plagues? Where, O the grave, is your destruction? Relenting is hidden from my eyes. “Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? “Sirimusaasira,
15 Though he flourishes among the reeds, an east wind will come—a wind of our Father rising from the wilderness. His spring will fail and his fountain run dry; the east wind will plunder his treasury of every precious thing. ne bw’anaakulaakulana mu baganda be. Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama, ng’eva mu ddungu, n’ensulo ze ne zikalira, n’oluzzi lwe ne lukalira. Eggwanika lye lirinyagibwa, eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 Samaria will bear her guilt, because she has rebelled against her Father. They will fall by the sword; their little ones will be dashed to pieces, and their pregnant women ripped open. Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe kubanga bajeemedde Katonda waabwe. Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa, n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]