Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So the heavens and the earth were completed in all their vast array. Bwe bityo eggulu n’ensi awamu ne byonna ebigirimu ne biggwa okukolwa.
2 By the seventh day our Father had completed his work, and he rested on the seventh day from everything he had made. Ku lunaku olw’omusanvu Katonda yali amaze ebyo byonna bye yali akola; n’awummulira ku lunaku olwo ng’ava ku mirimu gye gyonna gye yakola.
3 And our Father blessed the seventh day, making it holy, because on it he rested from all the work of creation he had done. Bw’atyo Katonda olunaku olw’omusanvu n’aluwa omukisa n’alutukuza; kubanga ku olwo Katonda kwe yawummulira emirimu gye yakola mu kutonda.
4 This is the history of the heavens and the earth when they were created, when our Father made earth and heavens. Ebyo bye bifa ku ggulu n’ensi nga bwe byatondebwa, Mukama Katonda we yamalira okutonda eggulu n’ensi.
5 No shrub of the field yet existed on the earth, no plant of the field had yet sprouted, for our Father had not sent rain on the earth, and there was no man to work the ground, Tewaaliwo muddo gwonna ku nsi wadde ekimera kyonna, kubanga Mukama Katonda yali tannatonnyesa nkuba ku nsi era nga tewali muntu ow’okulima ettaka.
6 but springs came up from the earth and watered the whole surface of the ground. Naye ensulo n’eva mu ttaka n’efukirira ensi yonna.
7 Then our Father formed the man from dust of the ground, breathed into his nostrils the breath of life, and the man became a living person. Mukama Katonda n’akola omuntu okuva mu nfuufu ey’oku nsi n’amufuuwa mu nnyindo omukka ogw’obulamu. Omuntu n’aba omulamu.
8 Then our Father planted a garden in Eden, in the east, and put there the man he had formed. Mukama Katonda yali asimbye ennimiro Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba, omuntu gwe yabumba n’amuteeka omwo.
9 From the ground our Father grew every tree lovely to see and good to eat, with the tree of life in the garden's center and the tree of knowing good and evil. Mukama Katonda n’ameza mu ttaka buli muti ogusanyusa amaaso era omulungi okulya. N’ateeka omuti ogw’obulamu, n’omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi wakati mu nnimiro.
10 A river flowed from Eden to water the garden; from there it divided into four rivers. Omugga ne gusibuka mu nnimiro Adeni ne gukulukuta okulufukirira, ne gwanjaalira omwo ne guvaamu emigga ena.
11 The first is named Pishon; it flows around all the land of Havilah, where gold is found. Erinnya ly’ogusooka Pisoni, gwe gwo ogukulukuta okwetooloola ensi ya Kavira, awali zaabu;
12 The gold of that land is good; aromatic resin and onyx are also there. ne zaabu y’ensi eyo nnungi; mulimu bideriamu n’amayinja onuku.
13 The name of the second river is the Gihon; it winds through the entire land of Cush. Omugga ogwokubiri ye Gikoni, gwe gukulukuta okwetooloola ensi ya Kuusi.
14 The third river's name is Tigris, flowing east of Assyria. The fourth river is the Euphrates. N’erinnya ly’ogwokusatu ye Tigiriisi ogukulukutira ku buvanjuba bwa Bwasuli. Ogwokuna ye Fulaati.
15 Our Father took the man and set him in the garden of Eden to work it and guard it. Mukama Katonda n’ateeka omuntu mu nnimiro Adeni agirimenga era agikuumenga.
16 And our Father commanded the man, "You are free to eat from any tree in the garden; Mukama Katonda n’alagira omuntu nti, “Emiti gyonna egy’omu nnimiro olyangako,
17 but you must not eat from the tree of knowledge of good and evil, for you will surely die the day you eat from it." naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa.”
18 Then our Father said, "It is not good for the man to be alone. I will make a helper matching him." Mukama Katonda n’ayogera nti, “Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
19 From the ground our Father formed every field animal and every sky bird, then brought each to the man to see what he'd name it. Whatever the man named each living creature, that was its name. Naye olwo Mukama Katonda yali amaze okukola ensolo zonna ez’omu nsiko n’ebinyonyi eby’omu bbanga. N’abireeta eri omuntu abituume amannya. Buli kiramu omuntu nga bwe yakiyita, lye lyabeera erinnya lyakyo.
20 The man named all livestock, birds of the sky, and all wild animals, but for Adam no helper matching him was found. Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya. Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi.
21 So our Father made the man fall into a deep sleep, and while he slept, took one of his ribs and closed the flesh over it. Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama.
22 Then our Father built a woman from the rib he took from the man, and brought her to the man. Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.
23 The man said, "At last! This is bone of my bones and flesh of my flesh; she will be called 'woman,' for she was taken out of man." Omusajja n’agamba nti, “Lino lye ggumba ery’omu magumba gange, ye nnyama ey’omu nnyama yange, anaayitibwanga mukazi; kubanga aggyibbwa mu musajja.”
24 So a man leaves his father and mother, joins his wife, and they become one flesh. Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.
25 The man and his wife were both naked, and they were not ashamed. Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]