Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Genesis 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the beginning, our Heavenly Father created the heavens and the earth. Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.
2 The earth was formless and empty; darkness lay over the deep's surface, and the Spirit of our Father was hovering over the waters' surface. Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
3 Then our Father said, "Let there be light," and there was light. Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeerewo obutangaavu,” ne waba obutangaavu.
4 He saw that the light was good, and he separated the light from the darkness. Katonda n’alaba obutangaavu nga bulungi; n’ayawula obutangaavu n’ekizikiza.
5 He called the light "day" and called the darkness "night." There was evening, and there was morning—the first day. Katonda obutangaavu n’abuyita emisana, n’ekizikiza n’akiyita ekiro. Ne wabaawo akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olw’olubereberye.
6 And our Father said, "Let there be an expanse between the waters to separate water from water." Era Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebbanga lyawule olufu n’amazzi.”
7 He made the expanse and separated the water under it from the water above it. And it was so. Bw’atyo Katonda n’akola ebbanga okwawula wansi n’amazzi agali waggulu. Ne kiba bwe kityo.
8 He called the expanse "sky." So there was evening, and there was morning—the second day. Katonda ebbanga n’aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwokubiri.
9 Then our Father said, "Let the water under the sky be gathered to one place, and let dry ground appear." And it was so. Awo Katonda n’ayogera nti, “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, wabeewo olukalu.” Ne kiba bwe kityo.
10 He named the dry ground "land," the gathered waters "seas." And he saw it was good. Katonda olukalu n’aluyita ensi, amazzi agakuŋŋaanye go n’agayita ennyanja. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
11 Then he said, "Let the land grow vegetation: seed-bearing plants, fruit trees bearing fruit with seed in it, after its kind." And it was so. Awo Katonda n’agamba nti, “Ensi ereete ebimera: emiti egizaala ensigo mu ngeri yaagyo, emiti egy’ebibala ebibaamu ensigo mu ngeri yaagyo, gibeere ku nsi.” Ne kiba bwe kityo.
12 The land produced vegetation—seed-bearing plants by kind, and trees bearing seed-bearing fruit by kind—and our Father saw that it was good. Ensi n’ereeta ebimera: ebimera eby’ensigo ebya buli ngeri, n’emiti egy’ebibala ebya buli ngeri n’ebijja ku nsi. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
13 And there was evening, and there was morning—the third day. Ne buba akawungeezi ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.
14 And our Father said, "Let there be lights in the sky's expanse to separate day from night, and serve as signs to mark seasons, days, and years, Awo Katonda n’agamba nti, “Wabeewo ebyaka mu bbanga ly’eggulu, okwawula emisana n’ekiro; bibeerenga obubonero okwawulanga ebiro, n’ennaku, n’emyaka.
15 and let them be lights in the sky's expanse, to give light on the earth." And it was so. Bibeere ebyaka ku ggulu, bireetere ensi obutangaavu.” Ne kiba bwe kityo.
16 Our Father made two great lights—the greater light to rule the day, the lesser light to rule the night. He also made the stars. Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri, ekyaka ekisinga obunene kifugenga emisana, n’ekitono kifugenga ekiro, n’akola n’emmunyeenye.
17 He set them in the expanse of the sky to give light on the earth, Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ly’eggulu byakenga ku nsi,
18 to rule the day and the night, and to separate light from darkness. He saw it was good. enjuba efugenga emisana, omwezi gufugenga ekiro, era byawulenga obutangaavu n’ekizikiza. Katonda n’alaba ng’ekyo kirungi.
19 So there was evening, and there was morning—the fourth day. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya. Olwo lwe lunaku olwokuna.
20 Then our Father said, "Let the water swarm with living creatures, and let birds fly above the earth, across the sky's expanse." Katonda n’ayogera nti, “Amazzi galeete ebibinja by’ebiramu, n’ebinyonyi bibuukenga waggulu mu bbanga.”
21 So he created the great sea creatures, every living creature that moves and swarms in the water by its kind, and every winged bird by its kind. And he saw it was good. Bw’atyo Katonda n’akola ebitonde eby’omu nnyanja ebinene ennyo, na buli kiramu ekya buli ngeri eky’omu nnyanja, na buli kinyonyi ekibuuka. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
22 Our Father blessed them and said, "Be fruitful, multiply, fill the waters in the seas, and let birds multiply on earth." Bw’atyo Katonda n’abiwa omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale, mujjuze amazzi g’ennyanja, n’ebinyonyi byale ku nsi.”
23 And there was evening, and there was morning—the fifth day. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya; olwo lwe lunaku olwokutaano.
24 And our Father said, "Let the land produce living creatures by kind: livestock, crawling creatures, and wild animals, each by kind." And it was so. Katonda n’ayogera nti, “Ensi ereete ebiramu ebya buli ngeri: ente, n’ebyewalula, n’ensolo ez’omu nsiko eza buli ngeri.” Bwe kityo bwe kyali.
25 He made wild animals by their kind, livestock by their kind, and every creature crawling the ground by its kind. And he saw that it was good. Katonda n’atonda ensolo ez’oku nsi eza buli ngeri, n’ente eza buli ngeri, na buli ekyewalula ku ttaka ekya buli ngeri. Katonda n’alaba nga ky’akoze kirungi.
26 Then our Father said, "Let us make humanity in our image, in our likeness, to rule the fish of the sea, the birds of the sky, the livestock, all the earth, and every creature crawling on the ground." Awo Katonda n’agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna.”
27 So our Father created humanity in his own image; in the image of God he created them; male and female he created them. Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera; n’abatonda omusajja n’omukazi.
28 Our Father blessed them and said to them, "Be fruitful, multiply, fill the earth and subdue it. Rule the fish of the sea, the birds of the sky, and every living creature that moves on the earth." Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, “Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi.”
29 Then he said, "I give you every seed-bearing plant across the whole earth, and every tree with seed-bearing fruit—they will be your food. Awo Katonda n’agamba nti, “Laba mbawadde buli kimera eky’ensigo ekiri ku nsi na buli muti ogw’ensigo mu kibala kyagwo. Munaabiryanga.
30 To every animal of the earth, every bird of the sky, everything crawling on the ground with breath of life, I give every green plant for food." And so it happened. Mbawadde na buli nsolo ey’oku nsi, na buli kinyonyi eky’omu bbanga na buli ekyewalula, na buli ekissa omukka mbiwa buli kimera, okuba emmere yaabyo.” Bwe kityo bwe kyali.
31 Our Father saw all he had made, and it was very good. So there was evening, and there was morning—the sixth day. Awo Katonda n’alaba byonna by’akoze nga birungi nnyo. Ne buba akawungeezi, ate ne buba enkya, olwo lwe lunaku olwomukaaga.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]