Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ezekiel 6 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Obubaka eri Ensozi za Isirayiri

1Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nti, 2“Omwana w’omuntu tunuulira ensozi za Isirayiri, 3oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu. 4Ebyoto byammwe birimenyebwamenyebwa, n’ebyoto kwe mwotereza obubaane birimenyebwamenyebwa; ndittira abantu bo mu maaso ga bakatonda bo abalala. 5Ndiddira emirambo gy’Abayisirayiri ne ngiteeka mu maaso ga bakatonda baabwe abalala, era ndisaasaanya amagumba go okwetooloola ebyoto byo. 6Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo. 7Abantu bo balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama.

8“ ‘Naye ndirekawo abamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga. 9Era eyo mu mawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjeemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala. Balikyama olw’obutali butuukirivu bwabwe, n’olwebikolwa byabwe byonna ebigwenyufu. 10Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.

11“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. 12Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange. 13Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono. 14Era ndigolola omukono gwange ku bo, ensi ne yonooneka ne tebalamu kintu okuva ku ddungu okutuuka e Dibula, ne buli gye babeera. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]