Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ezekiel 29 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

Obunnabbi ku Misiri

1Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. 3Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,ogwogera nti, “Kiyira wange,era nze nnamwekolera.”

4Nditeeka amalobo mu mba zo,era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.Ndikusikayo mu migga gyong’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.

5Ndikutwala mu ddungu,ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.Oligwa ku ttale,so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.Ndikuwaayo okuba emmereeri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.

6Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda. “ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri.

7Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.

8“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. 9Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda. “ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,”

10kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 11Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

13“ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”

17Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.

21“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]