Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 36 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Bezalel, Oholiab, and every skilled person our Father gave skill and understanding to build the sanctuary must do all the work exactly as our Father commanded. “Bezaaleeri ne Okoliyaabu ne buli musajja mukugu yenna, Mukama gw’awadde obusobozi n’amagezi okumanya okukola omulimu gwonna ku kuzimba eweema ya Mukama, bajja kukola nga Mukama bw’alagidde.”
2 Then Moses called Bezalel, Oholiab, and every skilled person in whose heart our Father put skill, everyone whose heart moved them to come and do the work. Awo Musa n’ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, ne buli mukugu yenna Mukama gwe yali awadde amagezi n’obusobozi, era nga yeeyagalidde yekka okukola.
3 They took from Moses all the offering the Israelites had brought for building the sanctuary. Still the people kept bringing him voluntary offerings morning after morning. Musa n’abakwasa ebirabo byonna abaana ba Isirayiri bye baali batonedde Mukama nga bwe baali beeyagalidde eby’okukozesa eweema ya Mukama. Abantu ne bongera okuleeta ku byabwe ebya kyeyagalire buli nkya.
4 So all the skilled workers doing all the sanctuary's work came, each from the task he was doing. Awo abakozi bali abakugu abaali bakola eweema ya Mukama ne bava ku mirimu gyabwe,
5 They told Moses, "The people are bringing much more than enough for the work our Father commanded us to do." ne bajja eri Musa ne bamugamba nti, “Ebirabo abantu bye baleese bisukkiridde obungi ku ebyo ebyetaagibwa okumala omulimu Mukama gwe yalagira okukolebwa.”
6 So Moses gave an order, and they sent word throughout the camp: "No man or woman is to make any more contributions for the sanctuary." And the people stopped bringing, Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo;
7 for what they already had was enough to do all the work, and more than enough. kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era n’okufikkawo.
8 The skilled workers made the tabernacle: ten curtains of finely twisted linen, blue, purple, and scarlet yarn, with cherubim, the work of a skilled designer. Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola Eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi.
9 Each curtain was about forty-two feet long, six feet wide—one size for all curtains. Emitanda gyonna gyali gyenkanankana; ng’omutanda ogumu guweza obuwanvu mita kkumi na bbiri n’ekitundu, ate obugazi mita emu ne desimoolo munaana.
10 He joined five curtains to each other, and the other five to each other. Baagatta emitanda etaano nga bagisengese, gumu ku gunnaagwo, n’emitanda emirala etaano nagyo ne bagigatta bwe batyo.
11 He put blue loops on the edge of the outer curtain in the first set, and the same on the edge of the outer curtain in the second set. Ne batunga eŋŋango eza bbululu ku mukugiro gw’omutanda gw’entimbe ogukomererayo mu kitundu ekimu eky’entimbe etaano, era ne batunga n’eŋŋango endala mu ngeri y’emu ku ludda olulala.
12 He made fifty loops on the first curtain, and fifty on the edge of the curtain in the second set, loops opposite one another. Baatunga eŋŋango amakumi ataano ku mutanda ogumu, era ne batunga eŋŋango endala amakumi ataano ku mukugiro gw’omutanda ku ludda olulala, eŋŋango nga zoolekaganye.
13 He made fifty gold clasps and joined the curtains with them, so the tabernacle became one. Ne bakola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, ne bakwasa wamu enjuuyi zombi ez’emitanda n’ebikwaso; Eweema n’ebeera wamu nga nnamba.
14 He made curtains of goat hair for the tent over the dwelling—eleven curtains. Ne bakola entimbe kkumi na lumu nga zirukiddwa mu bwoya bw’embuzi ne bazibikka ku Weema.
15 Each curtain was about forty-five feet long, six feet wide; all eleven curtains matched in size. Entimbe zonna ekkumi n’olumu zaali zenkanankana: ng’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu, obugazi zaali mita emu n’obutundu munaana.
16 He joined five of the curtains together, and the other six together. Ne bagatta entimbe ttaano wamu ku bwazo, n’entimbe omukaaga nazo ne bazigatta ku bwazo.
17 He made fifty loops on the outermost curtain's edge in the first set, and fifty loops on the curtain's edge in the second set. Ne batunga eŋŋango amakumi ataano ku mukugiro gw’entimbe ekomererayo ku bwazo, n’eŋŋango amakumi ataano endala ku mukugiro gw’entimbe omulala ku bwazo.
18 He made fifty bronze clasps to join the tent as one. Ne bakola ebikwaso eby’ekikomo amakumi ataano, ne babiyisa mu ŋŋango okunyweza enjuuyi zombi ez’entimbe ezo ng’ekintu ekimu.
19 He made a covering for the tent from red-dyed ram skins, and a fine-leather covering above it. Ne bakola ekibikka ku Weema mu maliba g’endiga ennume nga gannyikiddwa mu langi emyufu; okwo ne babikkako amaliba g’ente ey’omu nnyanja.
20 Then he made the upright frames for the tabernacle of acacia wood. Awo ne babajja embaawo mu muti gwa akasiya ne baziyimiriza ne zikola entobo ya Weema.
21 Each frame was about fifteen feet long and twenty-seven inches wide. Buli lubaawo lwali mita nnya n’ekitundu obuwanvu, ate ng’obugazi zaali sentimita nkaaga mu musanvu.
22 Each frame had two tenons, joined to one another; he made all the tabernacle's frames this way. Buli lubaawo baaluteekako obubaawo obuyiseemu bubiri, obw’okukozesa mu kugatta, nga bulekawo amabanga agenkanankana. Embaawo zonna ez’entobo ya Weema bwe baazikola bwe batyo.
23 He made the frames for the tabernacle: twenty frames for the south side. Baakola embaawo amakumi abiri ne bazissa ku ludda olw’obukiikaddyo obw’Eweema,
24 He made forty silver bases under the twenty frames: two bases under one frame for its two tenons, two bases under the next for its two tenons. era ne bakola obubya obutono obwa ffeeza amakumi ana, ne babussa wansi w’obubaawo obuyiseemu obubiri ku buli lubaawo.
25 For the second side of the tabernacle, the north side, he made twenty frames, Ate ku ludda olw’obukiikakkono olw’Eweema ne bakolerayo embaawo amakumi abiri,
26 and their forty silver bases, two bases under one frame and two bases under the next frame. n’entobo eza ffeeza amakumi ana, bbiri nga ziri wansi wa buli lubaawo.
27 For the rear of the tabernacle, on the west, he made six frames. Ne bakola embaawo mukaaga, ne baziteeka ku ludda olw’emabega wa Weema, lwe lw’ebugwanjuba;
28 He made two frames for the corners of the tabernacle at the rear. era ne bakola embaawo endala bbiri ne bazissa ku nsonda ez’oku ludda olwo olw’ebugwanjuba.
29 Both were doubled at the bottom and joined into a single ring at the top; he did this with both, at the two corners. Ku nsonda zino ebbiri, embaawo zombi baazisiba wamu nabansasaana okuviira ddala wansi okutuuka waggulu, ne bazinyweza n’empeta.
30 So there were eight frames with their silver bases—sixteen bases, two under each frame. Noolwekyo waaliwo embaawo munaana, n’entobo eza ffeeza kkumi na mukaaga, nga buli lubaawo wansi waalwo eriyo bbiri bbiri.
31 He made bars of acacia wood: five for the frames on one side of the tabernacle. Ne bakola emikiikiro mu muti gwa akasiya. Emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olumu,
32 Five bars for the frames on the tabernacle's second side, and five bars for the frames at the rear, westward. n’emikiikiro etaano ku mbaawo eziri ku lusebenju lwa Weema olulala, n’emikiikiro etaano ne bagikozesa ku mbaawo eziri ku ludda olw’emabega wa Weema olw’ebugwanjuba.
33 He made the middle bar to run through the frames from end to end. Ne bassaayo omulabba nga guyita wakati w’embaawo nga guva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala.
34 He overlaid the frames with gold, made gold rings to hold the bars, and overlaid the bars with gold. Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne bakola empeta eza zaabu ne bazisibisa emikiikiro; n’emikiikiro nagyo ne bagibikkako zaabu.
35 He wove the curtain of blue, purple, scarlet yarn, and finely twisted linen, cherubim skillfully worked in. Baakola eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi alangiddwa; era omukozi omukugu n’atungiramu bakerubi.
36 He made four acacia pillars for it, plated them with gold, gold hooks, and cast four silver bases for them. Ne baliwanika n’amalobo aga zaabu ku mpagi nnya ezaabajjibwa mu muti gwa akasiya, nga zibikkiddwako zaabu, era nga zisimbiddwa mu ntobo eza ffeeza.
37 He made a screen for the tent's entrance, embroidered in blue, purple, and scarlet yarn and finely twisted linen, Ne bakola olutimbe olw’omu mulyango gwa Weema mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu alangiddwa obulungi.
38 and its five pillars with hooks; he covered their tops and connecting rods with gold, but their five bases were bronze. Ne balukolera empagi ttaano nga bazibazze mu muti gwa akasiya, ne baziteekako n’amalobo gaazo. Ne babikka zaabu kungulu ku mpagi ne ku bisiba byazo. Entobo zaazo ettaano ne bazikola mu kikomo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]