Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 35 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Moses gathered the whole community of Israel's people and told them, "These are the things our Father commanded you to do. Awo Musa n’akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, n’abagamba nti, “Bino bye bintu Mukama by’abalagidde okukola.
2 Work six days; the seventh is holy to you, a Sabbath of complete rest to our Father. Anyone who works on it must be put to death. Munaakolanga emirimu mu nnaku omukaaga; naye olunaku olw’omusanvu lunaabanga Lwassabbiiti, lutukuvu, munaaluwummulanga awali Mukama. Buli anaakoleranga omulimu ku lunaku olwo anattibwanga.
3 You shall not light a fire in any of your homes on the Sabbath day." Temukumanga muliro mu nnyumba zammwe ku lunaku Lwassabbiiti.”
4 Moses told all Israel's assembly, "This is what our Father commanded: Musa n’agamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Kino Mukama ky’alagidde.
5 Take from among you a gift for our Father. Let each willing heart bring our Father's gift: gold, silver, and bronze. Mutoole ku bye mulina muweeyo eri Mukama. Buli omu aweeyo, nga bw’ayagala mu mutima gwe ebiweebwayo eri Mukama: “zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
6 Blue, purple, and scarlet yarns, fine linen, goats' hair, n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi; n’obwoya bw’embuzi,
7 tanned rams' skins, fine leather, and acacia wood, n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi; n’embaawo z’omuti gwa akasiya,
8 oil for the light, spices for the anointing oil and for the fragrant incense, n’amafuta g’ettaala, n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza,
9 and onyx stones and stones for setting, for the ephod and for the breastpiece. n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi era ne ku kyomukifuba.
10 "Let every skillful person among you come and make all that our Father has commanded: “Abo bonna mu mmwe abakugu mu kukola, muveeyo mujje mukole ebyo byonna Mukama by’atulagidde:
11 the tabernacle: its tent, cover, clasps, frames, bars, posts, and bases, “Eweema ya Mukama Omukuŋŋaanirwa n’olugoye lwayo n’ekibikkako, n’ebisiba, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;
12 the ark with its poles, the mercy seat, and the veil that screens it; essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo, n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, n’eggigi erigisiikiriza;
13 the table with its poles and all its utensils, and the bread of the Presence; emmeeza n’emisituliro gyayo ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya egy’Okulaga;
14 the lampstand for the light, with its utensils and its lamps, and the oil for the light; ekikondo ky’ettaala n’ebigenderako, ettaala n’amafuta gaazo;
15 the incense altar and its poles; anointing oil and fragrant incense; and the screen for the tabernacle entrance; ekyoto eky’okwoterezaamu obubaane n’emisituliro gyakyo; amafuta ag’okwawula, n’obubaane obw’akawoowo; olutimbe olw’omu mulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;
16 the burnt-offering altar with its bronze grate, poles, and all its utensils; the basin and its stand, ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo; emisituliro gyakyo ne byonna ebikozeserwako; ebbensani ey’ekikomo ne ky’etuulako;
17 the courtyard's curtains, its pillars and bases, and the screen for its gate, entimbe ez’oku bisenge eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula; n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya;
18 the pegs of the tabernacle and the pegs of the courtyard, with their cords; enkondo z’eweema n’ez’omu luggya n’emiguwa gyazo;
19 the finely woven garments for serving in the Holy Place, the holy garments for Aaron the priest, and the garments for his sons to serve as priests." ebyambalo ebiruke ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, bye byambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.”
20 Then all the congregation of the people of Israel left Moses. Awo abantu bonna ab’ekibiina ky’abaana ba Isirayiri ne bava awali Musa ne bagenda.
21 Everyone whose heart stirred him, everyone whose spirit moved him, brought our Father's contribution for the tent of meeting's work, all its service, and the holy garments. Buli eyayagala, era ng’omwoyo gwe bwe gwamukubiriza, n’awaayo eri Mukama eby’okukozesa Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebikozesebwamu byonna, n’eby’okukozesa ebyambalo ebitukuvu.
22 Men and women came together; all who were willing-hearted brought brooches, earrings, signet rings, and armlets—every kind of gold object—and everyone presented a wave offering of gold to our Father. Abasajja n’abakazi bonna abaayagala mu mitima gyabwe ne bajja; ne baleeta ebikwaso eby’omuwendo, empeta ez’omu matu, n’empeta ez’oku ngalo, n’ebikomo, n’ebirala ebya zaabu ebitali bimu; buli muntu n’awaayo ekirabo ekya zaabu eri Mukama.
23 Everyone who had blue, purple, or scarlet yarn, fine linen, goat hair, tanned ram skins, or fine leather brought them. Era buli muntu eyalina olugoye olwa bbululu, oba olwa kakobe, oba olumyufu, oba olwa linena ennungi, oba olw’obwoya bw’embuzi; oba amaliba amakunye ag’endiga ensajja oba ag’embuzi, byonna ne babireeta.
24 Everyone who could give a contribution of silver or bronze brought it as our Father's contribution; everyone with acacia wood for any task of the work brought it. Buli omu eyalina eky’okuwaayo ekya ffeeza oba eky’ekikomo, yakireeta n’akiwaayo eri Mukama; era na buli musajja eyalina olubaawo olwa akasiya nga luyinza okugasa mu mulimu ogwali gukolebwa, yaluleeta n’aluwaayo.
25 Every skilled woman spun with her hands and brought her spun thread: blue, purple, scarlet, and fine linen. Abakazi bonna abaali bamanyi ennyo okulanga ewuzi, ne balanga n’engalo zaabwe ewuzi eza bbululu, n’eza kakobe, n’emyufu n’eza linena omuyonde obulungi, ne bazireeta ne baziwaayo.
26 All the skilled women whose hearts were stirred spun the goat hair. Era n’abakazi bonna abaali abakugu era nga beeyagalidde, ne balanga ewuzi mu bwoya bw’embuzi.
27 The leaders brought onyx stones and gems for mounting, for the ephod and for the breastpiece, Awo abakulembeze ne baleeta amayinja aga onuku, n’amayinja amalala ag’omuwendo, gasalibwe galyoke gatonebwe ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne ku ky’omu kifuba.
28 and spices, and the oil for the light, for the anointing oil, and for the fragrant incense. Era ne baleeta n’ebyakaloosa, n’amafuta g’ettaala, n’amafuta ag’okwawula n’okukozesa ku bubaane.
29 Every Israelite man and woman whose heart willed it brought a voluntary offering to our Father for all the work our Father commanded through Moses. Abaana ba Isirayiri bonna, abasajja n’abakazi, abaalina omutima ogwagala okuleeta ekintu kyonna olw’omulimu Mukama gwe yali alagidde Musa okukolebwa, ne bakireeta ng’ekiweebwayo kyabwe kye baawaayo eri Mukama nga beesiimidde.
30 Then Moses told the Israelites, "See, our Father has called by name Bezalel son of Uri, son of Hur, of Judah's tribe, Awo Musa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Muwulire. Mukama alonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda.
31 and filled him with the Spirit of our Father—skill, understanding, knowledge, and every kind of craftsmanship, Mukama amujjuzza Omwoyo we, n’obusobozi, n’amagezi, n’okuteteenkanya, n’okutegeera, awamu n’obukozi obwa buli ngeri;
32 to devise artistic designs, to work in gold, silver, and bronze, ayiiye amajjolobera ag’okukolebwa mu zaabu ne ffeeza ne mu kikomo;
33 in cutting stones for setting and in carving wood, to work in every kind of skilled craft. era n’ag’okusalwa mu mayinja ag’okutona, era n’ag’okwolebwa mu miti, n’okukola buli ngeri yonna ey’amagezi.
34 Our Father has put in Bezalel's heart to teach—he and Oholiab son of Ahisamach, of the tribe of Dan. Era ye ne Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, Mukama abawadde obusobozi okuyigiriza abalala.
35 He filled them with skill for every kind of work—engraving, designing, embroidering in blue, purple, and scarlet yarn and fine linen, and weaving—skilled in every craft, full of ideas." Abajjuzza amagezi ag’obukugu mu mitima gyabwe okukola eby’emikono ebya buli ngeri ng’ebikolebwa abayiiya amajjolobera, oba abasala amayinja, oba abatunzi b’emidalizo n’ebimuli mu wuzi eza bbululu, n’eza kakobe n’emyufu mu bitambaala ebya linena omulungi, oba abalusi, oba abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri n’abatetenkanya amajjolobera.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]