Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He said to Moses, "Come up to me—you and Aaron, Nadab and Abihu, and seventy elders of Israel—and bow in worship from a distance. Awo Mukama n’alagira Musa nti, “Mwambuke eno gye ndi, ggwe ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri nsanvu. Musinze nga mwesuddeko akabanga,
2 Only Moses may approach me; the others must not approach, and the people must not go up with him." Musa yekka y’anaansemberera; abalala tebasembera. Era abantu tebasaana kujja naye.”
3 Moses came and told the people all our Father's words and all the rules. All the people answered as one, "Everything our Father has said, we will do." Musa n’ajja n’ategeeza abantu ebigambo byonna Mukama bye yamugamba awamu n’amateeka ge gonna. Abantu bonna ne baddiramu wamu ne bagamba nti, “Ebigambo ebyo byonna Mukama by’agambye tunaabikola.”
4 Moses wrote down all the words of our Father, then rose early in the morning and built an altar at the mountain's foot, with twelve pillars for the twelve tribes of Israel. Bw’atyo Musa n’awandiika ebigambo byonna Mukama bye yayogera. Awo Musa n’akeera mu makya n’azimba ekyoto awo wansi w’olusozi; n’asimbako n’empagi kkumi na bbiri ng’ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri bwe byali.
5 He sent young Israelite men who offered burnt offerings and sacrificed bulls as peace offerings to our Father. N’atuma abasajja abavubuka Abayisirayiri, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ne ssaddaaka ey’emirembe ey’ente.
6 Moses took half the blood, put it in basins; the other half he splashed on the altar. Musa n’addira ekitundu ky’omusaayi n’akissa mu mabeseni, n’ekitundu ekirala n’akimansira ku kyoto.
7 Then he took the Book of the Covenant and read it aloud to the people. They said, "Everything our Father has spoken, we will do and obey." N’asitula Ekitabo ky’Endagaano, n’akisomera abantu nga bonna bawulira. Ne bagamba nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye tujja kubikola; era tunaamugonderanga.”
8 Moses took the blood, sprinkled it on the people, and said, "Look, the blood of the covenant our Father made with you, based on all these words." Awo Musa n’addira omusaayi n’agumansira ku bantu, n’agamba nti, “Guno gwe musaayi gw’endagaano Mukama Katonda gye yabalagira okukwata.”
9 Then Moses and Aaron, Nadab and Abihu, and seventy of the elders of Israel went up. Awo Musa ne Alooni, ne Nadabu, ne Abiku, n’abakulembeze ba Isirayiri ensanvu, ne bambuka;
10 They saw the Father of Israel; under his feet, something like a pavement of sapphire, clear as the sky itself. ne balaba Katonda wa Isirayiri. Wansi w’ebigere bye nga waliwo ng’omwaliiro ogw’amayinja ga safiro, agalabika obulungi ng’eggulu eritaliiko bire.
11 He did not lay a hand on Israel's leaders; they saw our Father, ate, and drank. Naye Katonda teyakola kabi konna ku bakulembeze ba Isirayiri abo; Katonda baamulaba, ne balya era ne banywa.
12 Our Father told Moses, "Come up the mountain to me and stay there; I will give you stone tablets with the law and commandment I wrote to teach them." Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”
13 Moses set out with Joshua his assistant, and Moses went up the mountain of our Father. Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda.
14 He told the elders, "Wait here for us until we return to you. Aaron and Hur are with you—whoever has a dispute may go to them." N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”
15 When Moses went up on the mountain, the cloud covered it, Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka.
16 the glory of our Father settled on Mount Sinai, and the cloud covered it six days, and on the seventh day he called to Moses from within the cloud. Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire.
17 To the Israelites, our Father's glory looked like a consuming fire on the mountaintop. Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi.
18 Moses entered the cloud and climbed the mountain; Moses stayed on the mountain forty days and forty nights. Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]