Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then our Father said to Moses, Awo Mukama n’alagira Musa nti,
2 "Tell the Israelites to turn back, camp before Pi-hahiroth, between Migdol and the sea, before Baal-zephon—camp by the sea, opposite it. “Tegeeza abaana ba Isirayiri bawetemu nga boolekera Pikakirosi, bakube eweema zaabwe okumpi ne Pikakirosi, wakati wa Migudooli n’ennyanja. Musiisire ku lubalama lw’ennyanja nga mwolekedde Baali Zefoni.
3 For Pharaoh will say of the Israelites: 'They are lost in the land; the wilderness shuts them in.' Falaawo abaana ba Isirayiri ajja kuboogerako nti, ‘Babulubuutira mu nsi yaffe, n’eddungu libazingizza.’
4 I will harden Pharaoh's heart, and he will chase them; I will gain glory through Pharaoh and his whole army, and Egypt will know I am the Father." And they did so. Nzija kukakanyaza omutima gwa Falaawo, alyoke abawondere. Naye ndyefunira ekitiibwa okuva ku bye ndikola Falaawo n’eggye lye lyonna; n’Abamisiri balitegeera nga nze Mukama.” Abaana ba Isirayiri ne bakola bwe batyo.
5 Told Egypt's king the people had fled, Pharaoh and his officials turned against them: "What have we done, letting Israel go from serving us?" Kabaka w’e Misiri bwe yategeera ng’Abayisirayiri baddukidde ddala, Falaawo n’abakungu be ne bejjusa, ne bagamba nti, “Kiki kino kye tukoze, okuleka Abayisirayiri ababadde batukolera ne bagenda?”
6 So he harnessed his chariot and took his people with him. Bw’atyo n’ateekateeka eggaali lye erisikibwa embalaasi, n’eggye ly’anaagenda nalyo.
7 He took 600 chosen chariots, all the other chariots of Egypt, with officers over all of them. Yatwala amagaali lukaaga agasingira ddala obulungi, n’agattako n’amagaali amalala gonna agaali mu Misiri, n’abalwanyi abaduumizi nga be bagavuga.
8 Our Father hardened Pharaoh king of Egypt's heart, so he chased the Israelites marching out boldly. Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo Kabaka w’e Misiri, n’agoberera abaana ba Isirayiri. Abaana ba Isirayiri ne bakwata olugendo lwabwe nga tebaliiko gwe batya.
9 Egypt pursued and overtook them camped by the sea—all Pharaoh's horses, chariots, horsemen, and army—near Pi-hahiroth, facing Baal-zephon. Abamisiri ne babawondera: embalaasi zonna, n’amagaali gonna aga Falaawo agasikibwa embalaasi, n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lye, ne babasanga nga basiisidde ku lubalama lw’ennyanja okumpi ne Pikakirosi, nga boolekedde Baali Zefoni.
10 As Pharaoh neared, Israel looked up and saw Egyptians closing in behind them. Terrified, they cried to our Father. Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isirayiri ne balengera Abamisiri nga babagoberera, ne batya nnyo. Abaana ba Isirayiri ne balaajaanira Mukama.
11 They told Moses, "Had Egypt no graves, that you took us to die in the wilderness? What have you done to us, bringing us out of Egypt? Ne bagamba Musa nti, “Mu Misiri entaana tezaaliyo, kyewava otuleeta tufiire wano mu ddungu? Lwaki watuggya mu Misiri n’ojja otuyisa bw’oti?
12 Didn't we tell you in Egypt: 'Stop bothering us, let us serve the Egyptians'? Serving them beats dying in the wilderness." Bwe twali mu Misiri tetwakugamba nti, ‘Tuveeko, tuleke tukolere Abamisiri?’ Kubanga okukolera Abamisiri kyandibadde waddeko okusinga okufiira mu ddungu.”
13 Moses said to the people, "Don't be afraid. Stand firm and see our Father save you today; for the Egyptians you see today, you'll never see again, ever. Musa n’addamu abantu nti, “Temutya, munywere, mujja kulaba obulokozi Mukama bw’anaabaleetera olwa leero. Kubanga Abamisiri abo be mulaba kaakano, temuliddayo nate kubalaba emirembe gyonna.
14 Our Father will fight for you; you need only to be still." Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi.”
15 Then our Father said to Moses, "Why cry out to me? Tell the Israelites to move forward. Mukama n’agamba Musa nti, “Lwaki okaabirira nze? Lagira abaana ba Isirayiri bakwate olugendo lwabwe.
16 Lift your staff, stretch your hand over the sea and split it; let the Israelites cross the sea's midst on dry ground. Wanika omuggo gwo, ogolole n’omukono gwo ku nnyanja, amazzi ogaawulemu, abaana ba Isirayiri bayite wakati mu nnyanja kyokka nga batambulira ku ttaka kkalu.
17 I am hardening Egypt's heart, so they follow them in; I will gain glory through Pharaoh, his whole army, his chariots and his horsemen. Nange nzija kukakanyaza emitima gy’Abamisiri, bayingirire ennyanja nga babagoberera. Ndyoke nefunire ekitiibwa okusinziira ku bye nnaakola Falaawo, n’amaggye ge, n’amagaali ge, n’abeebagadde embalaasi.
18 Egyptians will know I am the Father when I gain glory over Pharaoh, his chariots, and horsemen." Abamisiri nabo banaategeera nga nze Mukama, nga nefunidde ekitiibwa: okusinziira ku bye nnaakola Falaawo n’amagaali ge, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.”
19 The messenger of our Father, who went ahead of Israel's camp, moved behind them; the pillar of cloud moved from before them and stood behind them. Awo malayika wa Katonda eyali akulembera abaana ba Isirayiri n’akyuka n’abadda emabega; n’empagi ey’ekire ne yejjulula okuva mu maaso gaabwe, n’eyimirira emabega waabwe:
20 It came between Egypt's camp and Israel's camp—cloud and darkness, yet it lit the night—and neither came near the other all night. Bw’etyo n’ebeera wakati w’abaana ba Isirayiri n’eggye ly’Abamisiri. Ekiro, ekire ne kireeta ekizikiza ku ludda lw’Abamisiri, naye ne kireeta omuliro okumulisa oludda lw’Abayisirayiri; ekiro kyonna ne wataba ggye lisemberera linnaalyo.
21 Moses stretched his hand over the sea. All night our Father drove it back with a strong east wind, making it dry land. The waters split. Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n’asindika ku nnyanja embuyaga ez’amaanyi ezaava ebuvanjuba, ne zigobawo amazzi ekiro kyonna, ne lufuuka lukalu, ng’amazzi gayawuddwamu.
22 The Israelites walked through the middle of the sea on dry ground, the waters a wall to them, right and left. Abaana ba Isirayiri ne bayita wakati mu nnyanja nga batambulira ku ttaka ekkalu, ng’amazzi gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo n’olwa kkono.
23 The Egyptians chased them into the middle of the sea—all Pharaoh's horses, his chariots, and his horsemen. Abamisiri ne babawondera ne bayingira wakati mu nnyanja n’amagaali ga Falaawo gonna, n’embalaasi ze, n’abasajja be abeebagadde embalaasi.
24 Just before dawn, our Father looked down on the Egyptian army through the pillar of fire and cloud, throwing the Egyptian army into panic. Awo mu makya ennyo nga tebunnalaba, Mukama n’atunuulira eggye ly’Abamisiri ng’ali mu mpagi ey’ekire n’omuliro, n’atandika okulibonyaabonya.
25 He clogged their chariot wheels so they drove with difficulty. The Egyptians said, "Let's flee Israel—God fights for them against Egypt!" Amagaali gaabwe yagamaamulako zinnamuziga, ne gabakaluubirira okuvuga. Abamisiri n’okugamba ne bagamba nti, “Leka Abayisirayiri tubadduke! Kubanga Mukama alwanyisa Misiri ng’abalwanirira.”
26 Then our Father said to Moses, "Stretch your hand over the sea so the waters return over the Egyptians, over their chariots, over their horsemen." Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gakomewo gaggweere ku Bamisiri, ne ku magaali gaabwe, ne ku basajja baabwe abeebagadde embalaasi.”
27 Moses stretched his hand over the sea; by daybreak it returned to full depth. The Egyptians fled toward it, and our Father flung the Egyptians into the sea's midst. Bw’atyo Musa n’agololera ennyanja omukono gwe, obudde bwe bwakya n’ekomawo n’amaanyi, Abamisiri ne bagidduka nga balaba ejja; Mukama, Abamisiri n’abasaanyaawo wakati mu nnyanja.
28 The water returned and covered chariots and horsemen, all Pharaoh's army that chased them into the sea. None survived. Amazzi ne gakomawo ne gasaanikira amagaali n’abeebagadde embalaasi, n’eggye lya Falaawo lyonna eryali ligoberedde Abayisirayiri mu nnyanja. Tewaali n’omu ku bo eyawona.
29 The Israelites walked through the sea's middle on dry ground, waters a wall on their right and left. Naye abaana ba Isirayiri bo nga batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja, amazzi nga gakoze ekisenge ku ludda lwabwe olwa ddyo ne ku lwa kkono.
30 That day our Father saved Israel from Egypt's hand, and Israel saw Egyptians dead on the seashore. Bwe kityo ku lunaku olwo Abayisirayiri Mukama n’abawonya Abamisiri. Abayisirayiri ne balaba Abamisiri ku lubalama lw’ennyanja nga bafudde.
31 Israel saw the great power our Father used against Egypt; they feared him, and trusted him and his servant Moses. Abayisirayiri ne balaba obuyinza obunene ennyo Mukama bwe yalaga ng’akola ku Bamisiri: abantu ne batya Mukama, ne bakkiriza Mukama n’omuweereza we Musa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]