Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Exodus 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Our Father spoke to Moses: Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 "Dedicate to me every firstborn. The first to open every womb among the Israelites is mine, whether human or animal." “Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”
3 Moses told the people, "Remember this day you came out of Egypt, out of the house of slavery, for with a mighty hand our Father brought you out of this place. Eat no bread made with yeast. Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa.
4 Today, in the month of Abib, you are going out. Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri.
5 When our Father brings you into Canaanite, Hittite, Amorite, Hivite, and Jebusite country—the land he promised your ancestors to give you, flowing with milk and honey—keep this observance this month. Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.
6 Seven days you are to eat bread without yeast, and on the seventh day a feast to our Father. Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama.
7 Eat bread without yeast the seven days. No bread with yeast may be found among you, no yeast in all your borders. Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe.
8 That day tell your son, "This is because of what our Father did for me when I came out of Egypt." Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’
9 It will be a sign for you on your hand and a reminder on your forehead, so our Father's instruction is on your lips; for with a mighty hand our Father brought you out of Egypt. Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.
10 So you are to keep this statute at its appointed time, year after year. Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.
11 When our Father brings you into the land of the Canaanites and gives it to you, as he swore to you and to your ancestors, “Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa,
12 set apart for our Father every first to open the womb; every firstborn male of your livestock belongs to our Father. Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama.
13 Redeem every firstborn donkey with a lamb, but if you don't, break its neck. Redeem every firstborn among your sons. Buli kalogoyi akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.
14 When your son later asks, "What does this mean?" tell him, "With a mighty hand our Father brought us out of Egypt, out of the house of slavery. “Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi.
15 When Pharaoh stubbornly refused to let us go, our Father killed every firstborn in Egypt, from firstborn people to firstborn animals. So I sacrifice to our Father every male that first opens the womb, but redeem every firstborn son." Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’
16 It will be a sign on your hand and a band on your forehead, for with a mighty hand our Father brought us out of Egypt." Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”
17 When Pharaoh let the people go, our Father did not lead them along the road through Philistine land, though it was near; for our Father said, "If they face war, they may change their minds and return to Egypt." Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi. Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.”
18 So our Father led the people around by the desert road toward the Red Sea. The Israelites went up from Egypt dressed for battle. Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.
19 Moses took Joseph's bones, for Joseph had made Israel's sons swear, "Our Father will surely come for you, and you must carry my bones up from here with you." Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”
20 They set out from Succoth and camped at Etham, on the edge of the wilderness. Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira.
21 And our Father went ahead of them by day in a pillar of cloud to lead the way, and by night in a pillar of fire to give them light, so they could travel day and night. Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro.
22 The pillar of cloud by day and the pillar of fire by night never left its place before the people. Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]