Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 We turned and took the road to Bashan, and Og king of Bashan, with all his people, came out to fight us at Edrei. Awo ne tukyuka ne twambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi, Kabaka w’e Basani, n’afuluma n’eggye lye lyonna n’ajja okututabaala mu lutalo olwalwanirwa mu Ederei.
2 And our Father told me, "Don't fear him, for I've given him, all his people, and his land to you; do to him as you did to Sihon king of the Amorites, who lived at Heshbon." Naye Mukama n’aŋŋamba nti, “Tomutya, kubanga oyo mmugabudde mu mukono gwo ye n’eggye lye lyonna n’ensi ye. Kale, mukole nga bwe wakola Sikoni Kabaka w’Abamoli abaabeeranga mu Kesuboni.”
3 So our Father also gave us Og king of Bashan and all his people, and we struck them down, leaving no survivor. Bw’atyo Mukama Katonda waffe n’agabula ne Ogi Kabaka w’e Basani mu mukono gwaffe awamu n’eggye lye lyonna. Ne tubatta bonna obutalekaawo muntu n’omu.
4 At that time we captured all his cities—all sixty, none untaken—the whole region of Argob, Og's kingdom in Bashan. Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5 All these were cities fortified with high walls and barred gates, besides a great many unwalled villages. Ebibuga ebyo byonna byali bizimbiddwa mu bigo eby’ebisenge ebiwanvu, n’emizigo egy’emitayimbwa, ng’okwo kw’ogatta n’obubuga obw’omu byalo obutaaliko bisenge.
6 We devoted them to destruction, as with Sihon king of Heshbon, devoting to destruction every city—its men, women, and children. Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna.
7 But all the livestock and the plunder of the cities we took as spoil for ourselves. Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
8 So at that time we took the land from these two Amorite kings across the Jordan, from the Arnon Valley to Mount Hermon. Bwe tutyo mu kiseera ekyo ne tutwala ebitundu by’ensi byonna ebyali ebya bakabaka bombi ab’Abamoli ebyali ku luuyi lw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani; okuva ku Kiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Kerumooni.
9 (the Sidonians call Hermon Sirion, while the Amorites call it Senir), Abasidoni nga Kerumooni baluyita Siriyooni, ate bo Abamoli nga baluyita Seniri.
10 all plateau cities, all Gilead, all Bashan to Salecah and Edrei—Og's kingdom cities in Bashan. Twatwala ebibuga byonna ebyali mu kitundu ekya waggulu ekitereevu ne Gireyaadi yonna ne Basani yonna okutuuka ku Saleka ne Ederei, ng’ebyo byali bibuga eby’omu bwakabaka bwa Ogi mu Basani.
11 (Only Og king of Bashan was left of the Rephaim's remnant. His bed was an iron bed; isn't it in Rabbah of the Ammonites? It was about thirteen and a half feet long and six feet wide.). Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.
12 This land we took then: from Aroer on the Arnon Valley's edge, plus half the Gilead hill country and its cities, I gave to the Reubenites and Gadites. Bwe twamala okwetwalira ebitundu by’ensi ebyo bye twawangula mu kaseera ako, ne ngabira Abalewubeeni n’Abagaadi ekitundu ekyo ekiri ku bukiikakkono okuva ku Aloweri n’okugendera ku mukugiro gw’Ekiwonvu kya Alunoni, n’ekitundu ekyamakkati eky’ensi y’ensozi eya Gireyaadi, awamu n’ebibuga byamu.
13 I gave the rest of Gilead and all Bashan—Og's kingdom—to the half-tribe of Manasseh: the whole region of Argob. (All that part of Bashan was called the land of the Rephaim. Ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, n’obwakabaka bwa Ogi obwa Basani omugendera ne Alugabu, ne mbigabira ekitundu ky’ekika kya Manase. Ekitundu kya Alugabu kyonna mu Basani, wonna nga wayitibwa nsi ya Balefa.
14 Jair son of Manasseh took the whole region of Argob to the Geshurite and Maacathite border, and named Bashan after himself, Havvoth-jair, to this day.). Yayiri, ava mu Manase, yafuna ekitundu kyonna ekya Alugabu, era ye Basani, nga kyerambulula okutuukira ddala ku nsalo ey’Abagesuli n’Abamaakasi; n’akibbulamu erinnya lye, n’okutuusa leero ensi Basani eyitibwa Kavosu Yayiri.
15 And to Machir I gave Gilead. Gireyaadi nagigabira Makiri.
16 To the Reubenites and Gadites I gave from Gilead to the Arnon Valley—its middle the border—to the Jabbok River, the Ammonites' border. Abalewubeeni n’Abagaadi ne mbagabira ekitundu ky’ensi ekiva ku Gireyaadi okuserengeta mu Kiwonvu kya Alunoni, nga mu makkati gaakyo ye nsalo, n’okutuukira ddala ku mugga Yaboki ogw’ensalo n’Abamoni.
17 Also the Arabah, the Jordan its border, from Chinnereth to the Sea of the Arabah (the Dead Sea), below Pisgah's slopes, eastward. Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.
18 At that time I ordered you: "Your Father gave you this land to possess; all your fighting men must cross armed ahead of your brothers, the Israelites. Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani.
19 Only your wives, children, and livestock—I know you have much livestock—stay in the cities I gave you, Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi,
20 until our Father gives your brothers rest as he has you, and they too take the land your Father is giving them beyond the Jordan. Then each of you returns to the possession I gave you." okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
21 I commanded Joshua then: "Your own eyes saw all your Father did to these two kings. Your Father will do so to all the kingdoms you're crossing into. Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda.
22 Don't be afraid of them, for your Father himself fights for you." Temubatyanga; kubanga Mukama Katonda wammwe yennyini y’anaabalwaniriranga.”
23 And I pleaded with our Father at that time, saying, Mu kiseera ekyo ne neegayirira Mukama nga njogera nti,
24 "My Sovereign Father, you've begun showing your servant your greatness and strong hand. What god in heaven or earth can do deeds and mighty acts like yours? “Ayi Mukama Katonda, otandise okundaga nze omuddu wo, omukono gwo ogw’amaanyi n’obukulu bwo obw’ekitiibwa. Kubanga katonda ki ali mu ggulu oba ali ku nsi asobola okukola ebyekyewuunyo bino byonna by’okola, n’emirimu egy’amaanyi bwe gityo gy’okola?
25 Please let me cross over and see the good land beyond the Jordan, this good highland, and Lebanon." Nkusaba, nsomoke omugga Yoludaani, ŋŋende ndabe ku nsi ennungi bw’etyo eri emitala waagwo, ensi eyo ey’ensozi ezirabika obulungi, awamu ne Lebanooni.”
26 But our Father was angry with me because of you and would not listen to me; our Father said to me, "Enough! Don't speak to me about this again. Naye Mukama n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo.
27 Climb Pisgah's summit, raise your eyes west, north, south, and east, and see with your own eyes, for you won't cross this Jordan. Yambuka waggulu ku ntikko y’olusozi Pisuga, ositule amaaso go otunule ebugwanjuba, ne ku bukiikakkono, n’ebuvanjuba ne ku bukiikaddyo. Weerabireko ku nsi eyo n’amaaso go gennyini, kubanga togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.
28 But commission Joshua, encourage and strengthen him, for he will cross ahead of this people and give them the land you will see as their inheritance." Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.”
29 So we remained in the valley opposite Beth-peor. Bwe tutyo ne tubeera awo mu kiwonvu okumpi ne Besu Peoli.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]