Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then we turned and traveled toward the wilderness by way of the Red Sea, as our Father told me, and circled Mount Seir for many days. Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga Mukama bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi ey’ensozi ey’e Seyiri.
2 Then our Father said to me, Mukama n’aŋŋamba nti,
3 "You have gone around this hill country long enough. Turn northward. “Mu nsi eno ey’ensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono.
4 Command the people: You are crossing the territory of your brothers, Esau's descendants, who live in Seir. They will fear you—be very careful. Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo.
5 Do not provoke them; I will not give you any of their land, not even a footstep's width, since I have given Mount Seir to Esau as his possession. Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira.
6 Buy food from them for silver to eat, and also buy water from them for silver to drink. Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”
7 "For your Father has blessed you in all the work of your hands. He has known your journey through this great wilderness. These forty years your Father has been with you; you have lacked nothing." Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.
8 So we passed by our brothers, the descendants of Esau who live in Seir, away from the Arabah road that comes up from Elath and Ezion-geber. Then we turned and went on toward the wilderness of Moab. Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo ly’Alaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu.
9 And our Father said to me, "Do not harass Moab or provoke them to battle, for I will not give you any of their land as a possession, since I have given Ar to Lot's descendants as a possession." Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.”
10 (The Emim formerly lived there, a large and powerful people, as tall as the Anakim. Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki.
11 Like the Anakim, they too are counted as Rephaim, but the Moabites call them Emim. Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi.
12 Horites once lived in Seir, but Esau's descendants drove out and destroyed them, settling in their place—just as Israel did in the land our Father gave them.). Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.
13 Now get moving and cross the Wadi Zered." So we crossed the Wadi Zered. Mukama n’agamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka.
14 From Kadesh-barnea to crossing the Wadi Zered took thirty-eight years, until the whole generation of fighting men had died out of the camp, as our Father had sworn to them. Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira.
15 Indeed, the hand of our Father was against them, rooting them out from the camp until they perished. Kubanga Mukama Katonda yamalirira okubazikiriza n’omukono gwe okutuusa ng’abamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe.
16 So when all the fighting men had finally perished and died from among the people, Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu,
17 our Father said to me, Mukama Katonda n’aŋŋamba nti,
18 "Today you are to cross the boundary of Moab at Ar. “Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali.
19 When you come near the Ammonites, do not attack or provoke them, for I will not give you any of their land as a possession—I gave it to Lot's descendants as their possession." Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”
20 (That too counts as Rephaim land—Rephaim lived there before, though Ammonites call them Zamzummim, Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu.
21 a large and powerful people, tall as the Anakim. But our Father destroyed them before the Ammonites, who drove them out and settled in their place, Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye Mukama Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu.
22 as he did for Esau's descendants living in Seir, when he destroyed the Horites before them; they drove them out and settled in their place, remaining to this day. Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero.
23 The Avvim lived in villages as far as Gaza; Caphtorim, who came from Caphtor, destroyed them and settled in their place.). Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.
24 "Set out and cross the Wadi Arnon. Look, I have given Sihon the Amorite, king of Heshbon, and his land into your hand. Begin to take possession—engage him in battle. “Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo.
25 Today I will begin putting dread and fear of you on every people under heaven. They will hear the report of you, tremble, and writhe in anguish because of you." Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”
26 I sent messengers from the wilderness of Kedemoth to Sihon king of Heshbon with words of peace, saying, Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti,
27 "Let me pass through your land. I will stay only on the road, turning aside neither right nor left. “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono.
28 Sell me food for money to eat, give me water for money to drink—only let me pass through on foot, Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, n’amazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula n’ebigere,
29 as Esau's descendants who live in Seir and the Moabites who live in Ar did for me, until I cross the Jordan into the land our Father is giving us." nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.”
30 But Sihon king of Heshbon refused to let us pass, for our Father hardened his spirit and stiffened his heart, to hand him over to you, as he has done this day. Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.
31 And our Father said to me, "Look, I've begun giving you Sihon and his land. Begin now taking possession—possess his land." Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
32 Then Sihon came out against us, he and all his people, to fight at Jahaz. Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi.
33 And our Father gave him to us, and we struck him down, his sons, and all his people. Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula.
34 At that time we captured all his cities and completely destroyed every city—men, women, children—leaving no survivor. Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala.
35 We plundered only the livestock for ourselves, plus the spoil of the cities we captured. Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
36 From Aroer on the Wadi Arnon's edge, and from the town in the valley, to Gilead, no town was too strong for us; Our Father gave them all to us. Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe.
37 But you did not go near the Ammonites' land, all along the banks of the Wadi Jabbok and the hill country's towns, just as our Father commanded us. Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]