Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Deuteronomy 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Do not sacrifice to your Father an ox or sheep with any defect or serious flaw; that is detestable to your Father. Toleetanga kiweebwayo eri Mukama Katonda wo eky’ente oba eky’endiga ng’eriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ng’ebyo Katonda wo abikyayira ddala.
2 If a man or woman is found among you, in any town your Father gives you, doing evil in your Father's eyes by breaking his covenant, Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ng’amenye endagaano ya Mukama,
3 and served other gods, bowing to them—the sun, moon, or any of heaven's host—which I did not command, era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga,
4 and you are told of it and hear it, investigate carefully. If it is true, the matter certain, that this detestable thing was done in Israel, ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri,
5 then bring out to your gates that man or woman who did this evil thing—that man or woman—and stone them to death. onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa.
6 On the word of two witnesses or three, the condemned must die; he must not die on one witness's word. Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka.
7 The witnesses' hand must be on him first to kill him, then the hand of all the people. So you remove the evil from among you. Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.
8 If a case is too hard for you to judge—between bloodshed and bloodshed, claim and claim, assault and assault, disputes in your towns—go up to the place your Father will choose. Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde.
9 Go to the Levitical priests and the judge serving then; ask, and they will tell you the verdict. Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe.
10 Act on what they tell you from the place our Father chooses; be careful to do all they teach you. Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde.
11 Follow the instruction they teach and the ruling they give you; don't turn from the word they declare, right or left. Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono.
12 Anyone who acts arrogantly, refusing to listen to the priest standing to serve there before your Father, or to the judge, must die. You must purge the evil from Israel. Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri.
13 And all the people will hear and be afraid, and act arrogantly no longer. Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo.
14 When you enter the land your Father is giving you, possess it, settle there, and say, "Let me set a king over me, like all the nations around me," Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;”
15 you may indeed set over you the king your Father chooses; set over you a king from among your brothers. You may not put a foreigner over you, who is not your brother. Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga.
16 He must not acquire many horses for himself, or send the people back to Egypt for more, since our Father told you, "Never go back that way." Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,”
17 He must not take many wives, or his heart will turn away; nor amass much silver and gold for himself. Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo.
18 When he sits on his royal throne, he must write himself a copy of this law on a scroll, before the levitical priests. Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi.
19 It must stay with him, and he must read from it all his life, so he learns to fear his Father, keeping all the words of this law and these decrees, doing them, Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro,
20 so his heart won't rise above his brothers, and he won't turn from the command right or left, so he and his children reign long over his kingdom in Israel. nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]