Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

2 Timothy 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Paul, apostle of Christ Jesus by the will of our Father, by the promise of life in Christ Jesus, Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu,
2 to Timothy, my beloved child: Grace, mercy, and peace from our Father and Christ Jesus our Lord. nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.
3 I thank our Father, whom I serve with a clear conscience as my ancestors did, remembering you constantly in my prayers, night and day. Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro.
4 Remembering your tears, I long to see you, so that I may be filled with joy. Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu.
5 I recall your sincere faith—alive first in your grandmother Lois and mother Eunice, and now, I'm convinced, in you too. Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina.
6 So I remind you to fan into flame the gift of our Father in you, through the laying on of my hands. Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange.
7 For our Father gave us no spirit of fear, but the Spirit of power, love, and self-control. Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
8 So don't be ashamed of our Lord's testimony, nor of me his prisoner, but share in suffering for the gospel by our Father's power. Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda,
9 He saved and called us with a holy calling, not by our works but by his own purpose and grace, given us in Christ Jesus before time began, eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna.
10 and now made known through the appearing of our Savior Christ Jesus, who ended death and illuminated life and immortality through the gospel. Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri,
11 For this gospel I was appointed a preacher and an apostle and a teacher. gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza,
12 That's why I suffer this way. But I'm not ashamed, for I know whom I've believed, and am convinced he can guard what's entrusted to me until the day he returns. era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.
13 Hold the pattern of sound words you heard from me, in faith and love in Christ Jesus. Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu.
14 Guard the good deposit entrusted to you, through the Holy Spirit who lives within us. Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.
15 You know this: everyone in the province of Asia turned away from me, including Phygelus and Hermogenes. Kino okimanyi, ng’ab’omu Asiya bonna banjabulira, mu abo mwe muli Fugero ne Kerumogene.
16 May our Lord Jesus grant mercy to Onesiphorus's household, for he often refreshed me and wasn't ashamed of my chains. Mukama akwatirwe ekisa ab’omu nnyumba ya Onesifolo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi era teyankwatirwa nsonyi kubanga ndi musibe;
17 On the contrary, when he arrived in Rome he searched eagerly for me until he found me. bwe yatuuka e Ruumi, yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula.
18 May our Lord Jesus grant that he finds mercy from the Lord on that day. You know very well how much he served in Ephesus. Mukama amukwatirwe ekisa ku lunaku luli. Era gw’omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]