Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

1 Thessalonians 3 OLCB

Side by side with the Father's Heart Bible™

1Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. 2Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, 3waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. 4Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. 5Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.

Lipoota ya Timoseewo Ezzaamu Amaanyi

6Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. 7Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. 8Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. 9Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.

11Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]