Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Ruth 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When the judges ruled, a famine struck the land, and a man from Bethlehem in Judah went with his wife and two sons to stay a while in the fields of Moab. Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu.
2 The man was named Elimelech, his wife Naomi, and his two sons Mahlon and Chilion—Ephrathites from Bethlehem in Judah. They went to the territory of Moab and stayed there. Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.
3 Then Elimelech, Naomi's husband, died, and she was left with her two sons. Naye Erimereki bba wa Nawomi n’afa; nnamwandu Nawomi n’asigalawo ne batabani be bombi.
4 They married Moabite women—Orpah and Ruth—and lived there about ten years. Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
5 Both Mahlon and Chilion also died, and Naomi was left without her two children and husband. Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa, Nawomi n’asigala nga talina baana wadde bba.
6 In Moab's fields, Naomi heard that our Father had attended his people, giving them food, so she set out with her two daughters-in-law to return from there. Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri.
7 She left the place where she had been, with her two daughters-in-law, and they went on the road back to the land of Judah. Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
8 Naomi told her two daughters-in-law, "Return, each to your mother's home. May our Father deal kindly with you, as you dealt with the dead and with me. Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina, era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze.
9 May our Father give each of you rest in another husband's home." Then she kissed them, and they wept aloud. Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga,
10 And they said to her, "No—we will return with you to your people." nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo.”
11 Naomi said, "Go back, my daughters. Why go with me? Do I have more sons in my womb to become your husbands? Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe.
12 Return, my daughters, go, for I'm too old to marry. Even if I said there's still hope, even if I had a husband tonight and bore sons, Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi;
13 would you wait for them until grown? Would you stay unmarried for them? No, my daughters—it's far more bitter for me than you, since our Father's hand has turned against me." mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”
14 At this they wept aloud again. Then Orpah kissed her mother-in-law goodbye, but Ruth clung to her. Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
15 Naomi said, "Look, your sister-in-law went back to her people and her gods. Go back with her." Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.”
16 Ruth said, "Don't push me to leave you or turn back from following you. Where you go, I'll go; where you stay, I'll stay. Your people will be my people, and your God my God. Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange.
17 Where you die I will die, and there I will be buried. May our Father punish me ever so severely if anything but death separates you and me." Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.”
18 When Naomi saw that Ruth was determined to go with her, she said no more to her. Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, n’atayongerako kigambo kirala.
19 So both of them traveled until they reached Bethlehem. When they entered Bethlehem, the whole town stirred over them, and the women said, "Is this Naomi?" Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
20 "Don't call me Naomi," she said. "Call me Mara—the Almighty has dealt very bitterly with me. Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde.
21 I went away full, but our Father has brought me back empty. Why call me Naomi, when our Father has afflicted me and the Almighty has brought misfortune upon me?" Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Mukama ambonerezza. Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
22 So Naomi returned from the fields of Moab with Ruth the Moabite, her daughter-in-law, who came back with her. They reached Bethlehem as barley harvest began. Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri nga kyakatandika.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]