Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Nehemiah 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After the wall was rebuilt and I set up the doors, the gatekeepers, singers, and Levites were appointed. Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa,
2 I put my brother Hanani in charge of Jerusalem, with Hananiah commander of the fortress, since he was faithful and feared our Father more than many. ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi.
3 I told them, "Don't open Jerusalem's gates until the sun is hot; and while the guards are on watch, let them shut and bar the doors. Appoint watchmen from Jerusalem's residents, each at his post, each opposite his own house." Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”
4 The city was large, but the people in it were few, with no houses yet rebuilt. Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa.
5 Then my Father put it in my heart to gather the nobles, the officials, and the people to register by genealogy. I found the genealogy record of the first returnees, and found written in it: Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:
6 These are the province's people who returned from exile, whom Nebuchadnezzar king of Babylon had carried away, back to Jerusalem and Judah, each to his own town, Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
7 coming with Zerubbabel, Jeshua, Nehemiah, Azariah, Raamiah, Nahamani, Mordecai, Bilshan, Mispereth, Bigvai, Nehum, and Baanah—the count of the men of Israel's people: Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana. Gano ge mannya g’Abasajja ba Isirayiri:
8 The descendants of Parosh, 2,172; bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
9 the descendants of Shephatiah, 372; bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri (372),
10 the descendants of Arah, 652; bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri (652),
11 the descendants of Pahath-moab (through the line of Jeshua and Joab), 2,818; bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana (2,818),
12 the descendants of Elam, 1,254; bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
13 the descendants of Zattu, 845; bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano (845),
14 the descendants of Zaccai, 760; bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga (760),
15 the descendants of Binnui, 648; bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana (648),
16 the descendants of Bebai, 628; bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana (628),
17 the descendants of Azgad, 2,322; bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri (2,322),
18 the descendants of Adonikam, 667; bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu (667),
19 the descendants of Bigvai, 2,067; bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu (2,067),
20 the descendants of Adin, 655; bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano (655),
21 the descendants of Ater (through Hezekiah), 98; bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana (98),
22 the descendants of Hashum, 328; bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana (328),
23 the descendants of Bezai, 324; bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana (324),
24 the descendants of Hariph, 112; bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri (112),
25 the descendants of Gibeon, 95. bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano (95).
26 The men of Bethlehem and Netophah, 188; Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana (188),
27 the men of Anathoth, 128; ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana (128),
28 the men of Beth-azmaveth, 42; ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri (42),
29 the men of Kiriath-jearim, Chephirah, and Beeroth, 743; ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu (743),
30 the men of Ramah and Geba, 621; ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
31 the men of Michmas, 122; ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
32 the men of Bethel and Ai, 123; ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu (123),
33 the men of the other Nebo, 52. ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri (52),
34 The descendants of the other Elam, 1,254; ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
35 the descendants of Harim, 320; ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri (320),
36 the descendants of Jericho, 345; ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano (345),
37 the descendants of Lod, Hadid, and Ono, 721; ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu (721),
38 the descendants of Senaah, 3,930. n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu (3,930).
39 The priests: the descendants of Jedaiah (through the house of Jeshua), 973. Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu (973),
40 The descendants of Immer, 1,052; bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
41 the descendants of Pashhur, 1,247; bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247),
42 the descendants of Harim, 1,017. ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu (1,017).
43 The Levites: the descendants of Jeshua (through Kadmiel and the line of Hodevah), 74. Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana (74).
44 The singers: the descendants of Asaph, 148. Abayimbi: bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana (148).
45 The gatekeepers: the descendants of Shallum, Ater, Talmon, Akkub, Hatita, and Shobai, 138. Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana (138).
46 The temple servants: the descendants of Ziha, Hasupha, Tabbaoth, Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
47 Keros, Sia, Padon, bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,
48 Lebana, Hagaba, Shalmai, bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi,
49 Hanan, Giddel, Gahar, bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali,
50 Reaiah, Rezin, Nekoda, bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda,
51 Gazzam, Uzza, Paseah, bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya,
52 Besai, Meunim, Nephushesim, bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
53 Bakbuk, Hakupha, Harhur, bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
54 Bazlith, Mehida, Harsha, bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
55 Barkos, Sisera, Temah, bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
56 Neziah, and Hatipha. bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
57 The descendants of Solomon's servants: the descendants of Sotai, Sophereth, Perida, Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Soferesi, bazzukulu ba Perida,
58 Jaala, Darkon, Giddel, bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
59 Shephatiah, Hattil, Pochereth-hazzebaim, and Amon. bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Amoni.
60 All the temple servants and the descendants of Solomon's servants numbered 392. Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
61 These came up from Tel-melah, Tel-harsha, Cherub, Addon, and Immer, unable to show their father's house or lineage, whether from Israel: Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:
62 The descendants of Delaiah, Tobiah, and Nekoda, 642. bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri (642).
63 From the priests: descendants of Hobaiah, Hakkoz, and Barzillai—who married one of Barzillai the Gileadite's daughters and took that family's name. Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo.
64 These looked for their genealogical records, but found none, so were excluded from the priesthood as unclean. Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu.
65 The governor told them not to eat the most holy food until a priest could consult Urim and Thummim. Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.
66 The whole assembly together numbered 42,360, Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),
67 besides their 7,337 male and female servants; and they had 245 male and female singers. obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337); ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano (245).
68 They had 736 horses, 245 mules, Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano (245),
69 435 camels, and 6,720 donkeys. n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
70 Some family heads gave to the work. The governor gave to the treasury 1,000 gold coins, 50 bowls, and 530 priestly garments. Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano (50), n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu (530) mu ggwanika.
71 Some family heads gave the work's treasury 20,000 gold coins and about 2,750 pounds of silver. Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa.
72 The rest of the people gave 20,000 gold coins, about 2,500 pounds of silver, and 67 priestly garments. Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
73 The priests, Levites, gatekeepers, singers, some of the people, temple servants, and all Israel settled in their towns. By the seventh month, Israel's people were in their towns. Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe. Awo mu mwezi ogw’omusanvu,
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]