Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Nehemiah 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When Sanballat heard that we were rebuilding the wall, he was furious and seething with rage, and he ridiculed the Jews. Awo Sanubalaati olwawulira nga tuddaabiriza bbugwe, n’anyiiga nnyo era n’ajjula obuswandi. N’aduulira Abayudaaya
2 He said in front of his brothers and the army of Samaria, "What are these feeble Jews doing? Will they restore the wall for themselves? Will they offer sacrifices? Will they finish in a single day? Can they bring stones back to life out of the heaps of rubble, charred as they are?" mu maaso ga mikwano gye ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya n’ayogera nti, “Bano Abayudaaya abanafu bali ku ki? Balizzaawo bbugwe waabwe? Baliwaayo ssaddaaka? Balimalira mu lunaku lumu? Bayinza okulamusa amayinja okuva mu ntuumu z’ebisaaniiko, ate ebyayokebwa?”
3 Tobiah the Ammonite was beside him, and he said, "That stone wall they are building—even if a fox climbed up on it, he would break it down!" Tobiya Omwamoni yali amuyimiridde kumpi, n’ayogera nti, “Ebyo bye bazimba, singa ekibe kinaalinnyako kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja!”
4 Hear us, our Father, for we are despised. Turn their taunts back on their own heads, and hand them over as plunder to a land of exile. Ne nsaba Katonda nti, “Otuwulire Ayi Katonda waffe kubanga tunyoomebwa. Ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe bo, era baweeyo eri okunyagibwa mu nsi eribafuula abasibe.
5 Do not overlook their guilt, and do not let their sin be wiped from your sight, for they have hurled insults in the face of the builders. Oleme okubikka ku musango gwabwe newaakubadde ekibi kyabwe okukisangula mu maaso go kubanga bakusunguwazizza mu maaso g’abazimbi.”
6 So we rebuilt the wall until all of it was joined together to half its height, for the people worked with all their heart. Awo ne tweyongerayo n’okuzimba bbugwe okutuuka wakati w’obugulumivu bwayo, kubanga abantu baakolanga n’obumalirivu.
7 But when Sanballat, Tobiah, the Arabs, the Ammonites, and the Ashdodites heard that the repairs to Jerusalem's walls were making progress and the gaps were beginning to close, they were filled with rage. Naye Sanubalaati, ne Tobiya, n’Abawalabu, n’Abamoni, n’Abasudodi bwe baawulira ng’omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda mu maaso, nga tutandise n’okuziba ebituli, ne banyiiga nnyo.
8 They all plotted together to come and fight against Jerusalem and to throw it into confusion. Bonna ne beegatta wamu ne basala olukwe okulwanyisa Yerusaalemi n’okugitabulatabula.
9 But we prayed to our Father and posted a guard against them day and night. Ne tusaba eri Katonda waffe, ne tuteekawo n’abakuumi abaakuumanga emisana n’ekiro.
10 Meanwhile the people of Judah said, "The workers are losing their strength, and there is so much rubble that we cannot rebuild the wall." Mu kiseera kyekimu abantu b’e Yuda ne boogera nti, “Abakozi bagenda baggwaamu amaanyi, ate nga wakyaliwo ebifunfugu bingi nnyo, tetuyinza kuddaabiriza bbugwe.”
11 And our enemies said, "Before they know it or see us, we will be right among them; we will kill them and put an end to the work." N’abalabe baffe ne boogera nti, “Baliba tebanamanya newaakubadde okukiraba, tulibagwako kiyiifuyiifu, era tulibatta ne tukomya omulimu.”
12 Then the Jews who lived near them came and told us ten times over, "Wherever you turn, they will come against us." Awo Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo ne bajja ne batulabula emirundi kkumi, nga boogera nti, “Balitulumba enjuuyi zonna.”
13 So I stationed people behind the lowest sections of the wall, in the exposed places, positioning them by families with their swords, spears, and bows. Kyennava nteeka abamu ku bantu mu njuyi eza wansi eza bbugwe awali amabanga, nga balina ebitala, n’amafumu n’emitego n’obusaale.
14 After I looked things over, I stood up and said to the nobles, the officials, and the rest of the people, "Do not be afraid of them. Remember the Sovereign Father, great and awesome, and fight for your brothers, your sons and daughters, your wives and your homes." Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, “Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe.”
15 When our enemies heard that we knew of their plot and that our Father had frustrated it, we all returned to the wall, each to his own work. Awo abalabe baffe bwe baawulira nga tutegedde olukwe lwabwe, nga Katonda alemesezza enteekateeka yaabwe, ffenna ne tuddayo ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
16 From that day on, half of my men did the work while the other half were equipped with spears, shields, bows, and armor. The officers stationed themselves behind all the people of Judah, Okuva ku lunaku olwo, ekitundu ku basajja bange bazimbanga n’ekitundu ekirala nga bakutte amafumu, n’engabo, n’obusaale n’ebyokulwanyisa ebirala. Abakulembeze bonna ne bawagira abantu bonna aba Yuda abaali bazimba bbugwe.
17 who were building the wall. Those who carried materials did their work with one hand and held a weapon with the other, Abeetikkanga, baasitulanga n’omukono gumu eby’okuzimbisa n’omulala ne gukwata ekyokulwanyisa,
18 and each of the builders wore his sword strapped to his side as he worked. But the man who sounded the trumpet stayed beside me. na buli muzimbi yalina ekitala mu kiwato kye ng’akola. Naye omusajja eyafuwanga ekkondeere yambeeranga kumpi.
19 Then I said to the nobles, the officials, and the rest of the people, "The work is vast and spread out, and we are separated from one another along the wall. Ne ŋŋamba abakungu n’abakulu n’abantu abalala nti, “Omulimu munene ate mugazi, ate twesudde amabanga ku bbugwe, buli muntu ali wala ne munne.
20 Wherever you hear the trumpet sound, rally to us there. Our Father will fight for us!" Buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly’ekkondeere nga mujja okutudduukirira. Katonda waffe alitulwanirira.”
21 So we kept working, with half the men holding spears, from the break of dawn until the stars came out. Ne tweyongerayo n’omulimu, ekitundu ekimu ne kikwatanga amafumu obudde we bwakereranga okutuusa emmunyeenye lwe zaalabikanga.
22 At that time I also told the people, "Let everyone and his helper stay inside Jerusalem at night, so they can serve as guards by night and laborers by day." Mu biro ebyo, ne nnyongera okutegeeza abantu nti, “Buli muntu n’oyo amubeera, basigalenga mu Yerusaalemi ekiro, bakuumenga ekiro, naye emisana babe nga bakola.”
23 So neither I, nor my brothers, nor my men, nor the guards who followed me ever took off our clothes; each kept his weapon at hand, even when going for water. Tewaali n’omu ku ffe newaakubadde nze newaakubadde baganda bange newaakubadde abasajja bange wadde abakuumi, eyayambulangamu engoye; buli omu yalina ekyokulwanyisa kye, ne bwe yagendanga ku luzzi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]