Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Nehemiah 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the month of Nisan, in King Artaxerxes' twentieth year, wine was before him; I took it and gave it to the king—I had never been sad in his presence before. Awo mu mwezi gwa Nisani mu mwaka ogw’amakumi abiri ku mulembe gwa Kabaka Alutagizerugizi, nga bamuleetedde wayini, ne nzirira wayini ne muwa kabaka. Nnali sinakuwalirangako mu maaso ge.
2 The king asked, "Why is your face sad, though you aren't sick? This can only be a sad heart." Then I was very afraid. Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ekikunakuwazizza otyo ng’omulwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw’omu mutima.” Ne ntya nnyo,
3 I said to the king, "May the king live forever! Why shouldn't my face be sad, when the city, my ancestors' burial place, lies in ruins and its gates are burned by fire?" naye ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abeere omulamu emirembe gyonna. Lwaki sinakuwala ng’ekibuga bajjajjange gye baaziikibwa kizise, nga ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro?”
4 The king asked me, "What do you request?" Then I prayed to our Father in heaven, Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” Awo ne nsaba eri Katonda w’eggulu,
5 and said to the king, "If it pleases the king, and if your servant has your favor, send me to Judah, to the city of my ancestors' graves, to rebuild it." n’oluvannyuma ne nziramu kabaka nti, “Kabaka bw’anasiima, era omuddu wo bw’anaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize.”
6 The king, with the queen seated beside him, asked me, "How long will your journey take, and when will you return?" He was pleased to send me, so I gave him a time. Awo kabaka, ne mukyala we ng’amuli ku lusegere, n’ambuuza nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku meka, era olidda ddi?” Kabaka n’asiima okuntuma, ne neegerera ekiseera.
7 I also said to the king, "If it pleases the king, give me letters to the governors of the province Beyond the River, so they let me cross until I reach Judah. Ne nsaba kabaka nti, “Kabaka bw’anaasiima, awandiikire abaamasaza abali emitala w’omugga Fulaati ebbaluwa, ntambule mirembe okutuuka mu Yuda.
8 Also a letter to Asaph, keeper of the king's forest, to give me timber for beams for the fortress gates by the temple, the city wall, and the house I will live in." The king granted my requests, for my Father's good hand was on me. Ate era nsaba ebbaluwa gye nnaatwalira Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti gye ndikolamu embaawo ez’okubajjamu enzigi za yeekaalu, n’eza wankaaki wa bbugwe w’ekibuga, n’ekifo we nnaabeeranga.” Olw’omukono gwa Katonda wange ogwali nange, kabaka n’ampa bye namusaba.
9 I went to the governors of the province Beyond the River and gave them the king's letters. He had also sent army officers and horsemen with me. Awo ne ndaga eri abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati ne mbakwasa ebbaluwa eziva ewa kabaka. Kabaka yampa abakungu b’eggye n’abeebagala embalaasi okumperekerako.
10 Hearing this, Sanballat the Horonite and Tobiah the Ammonite official were greatly displeased that someone had come to seek the good of Israel's people. Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omukungu Omwamoni bwe baakiwulira, ne banyiiga nnyo bwe baamanya nga waliwo omuntu afuddeyo ku mbeera y’abaana ba Isirayiri.
11 So I arrived in Jerusalem and stayed there three days. Ne ntuuka e Yerusaalemi, ne mbeerayo ennaku ssatu,
12 I got up at night with a few men. I told no one what my Father had put in my heart to do for Jerusalem. No animal was with me except the one I rode. ne ngolokoka mu kiro ne ntambulatambula n’abamu ku basajja, naye ne sibuulira muntu n’omu ku ebyo Katonda wange bye yali atadde ku mutima gwange okukolera Yerusaalemi. Twagenda n’ensolo emu yokka gye nnali neebagadde.
13 By night I went out through the Valley Gate, toward the Jackal's Well, to the Dung Gate, examining Jerusalem's broken walls and its burned gates. Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu ne njolekera Oluzzi olw’Omusege, n’Omulyango ogw’Obusa, ne ŋŋenda nga neetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyeddwa, ne wankaaki waakyo eyayokebwa omuliro.
14 I passed to the Fountain Gate and the King's Pool, but there was no room for my mount to pass. N’oluvannyuma ne neyongerayo eri Omulyango ogw’Oluzzi n’eri Ekidiba kya Kabaka, naye ensolo yange n’eteyinza kuyitawo.
15 At night I went up the valley, examining the wall, turned back, entered the Valley Gate, and returned. Kyennava nserengeta mu kiwonvu ekiro nga ŋŋenda neetegereza bbugwe. Bwe namaliriza ne nkyuka ne nkomawo nga mpitira mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu.
16 The officials did not know where I went or what I was doing; I had not yet told the Jews, the priests, the nobles, the officials, or the rest who would do the work. Abakungu tebaamanya gye nnali ndaze newaakubadde kye nnali nkola; era nnali sinnabuulirako Bayudaaya newaakubadde bakabona, newaakubadde abakungu newaakubadde abakulu, n’abalala abaali bateekwa okukola omulimu.
17 Then I said, "You see our trouble: Jerusalem lies in ruins, its gates burned. Come, let's rebuild Jerusalem's wall so we're no longer a disgrace." Awo ne mbagamba nti, “Mulaba akabi ke tulimu; Yerusaalemi kizise, ne wankaaki waakyo ayokeddwa omuliro. Mujje tuddaabirize bbugwe wa Yerusaalemi tuve mu buswavu bwe tulimu.”
18 I told them how my Father's good hand was on me, and what the king had said. They said, "Let's rise and build." So they strengthened their hands for the good work. Ne mbategeeza omukono gwa Katonda ogw’ekisa bye gwali gunkoledde, ne kabaka bye yaŋŋamba. Ne baddamu nti, “Tugolokoke tutandike okuzimba.” Era ne batandika omulimu.
19 When Sanballat the Horonite, Tobiah the Ammonite official, and Geshem the Arab heard, they jeered and despised us, saying, "What is this you're doing? Are you rebelling against the king?" Naye Sanubalaati Omukoloni, ne Tobiya omukungu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batunyooma n’okutusekerera ne batusekerera. Ne batubuuza nti, “Kiki kye mukola? Mwagala kujeemera kabaka?”
20 I answered: "Our Father in heaven will give us success. We his servants will start rebuilding, but you have no share, right, or claim in Jerusalem." Ne mbaddamu nti, “Katonda w’eggulu alituyamba okukituukiriza, era ffe abaddu be tulitandika okuzimba, naye mmwe temulina mugabo newaakubadde obusika newaakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]